Amawulire

Amasomero gassizza obubonero

Amasomero gassizza obubonero

Ali Mivule

January 28th, 2016

No comments

File Photo: Abayizi nga bakoola ebigeezo

File Photo: Abayizi nga bakoola ebigeezo

Wetwogerera ng’okusunsulamu abayizi abagenda okwegatta ku masomero ga siniya  kugenda mu maaso, wabula agamu ku masomero naddala agamanya, era amakadde bwe gasazeewo okukkakkanya ku bubonero abaana kwebayingirira.

Agamu ku masomero gabadde geewanise kubunonero 5 ku balenzi, kko n’omukaaga ku bawala , wabula nga kati gakakanye okutuka ku kububonero 8.

Agamu kugano kuliko erya St. Henry Kitovu nga lino lyakakanye ku bubonero mukaaga , era litutte abaana 100 bokka

Amyuka akulira essomero lino Joseph Kabuye ategeezezza nti kino bakikoze kuyamba baana abataayita bulungi, naddala bwebaakimanya nti abaana bangi baagwa nadala mukubala.

Agamu ku malala agasizza obubonero kuliko Ndejje siniya school nga lino libadde ku bubonero 6  abalenzi , ate abawala obubonero 7

Busoga College ekomye ku bubonero 6 ku balenzi, ssonga ku bawala betaaga 8

Mengo senior school  etutte bali ku bubonero 6, songa Mbarara High ne Nyakashura high school  battute  8 abalenzi ate 9 abawala.