Amawulire

Emikwano gyegituwa ssente-NRM

Emikwano gyegituwa ssente-NRM

Ali Mivule

January 28th, 2016

No comments

File Photo: Abawagizi ba NRM

File Photo: Abawagizi ba NRM

Ekibiina kya NRM kivuddeyo nekitegeeza nga ensimbi zonna zekizze kikozesa bweziva mu bagabirizi b’obuyamba  nabakyagaliza ebirungi .

Bano okuvaayo kiddiridde ekibiina kya transparency international okutegeeza  nga bano bwebaakozesa ensimbi  obuwumbi 27 mu ssabiiti 8 zokka , nga bano baddirirwa Amama Mbabazi n’akawumbi kamu ate Dr Kiiza Besigye n’addako nga tannaba kuweza kawumbi.

Hajati Janat Mukwaya nga y’akulira olukiiko olunonyeza pulezidenti Museveni obululu ategeezezza nti ekibiina kirudde nga kirambulukufu ku gyekijja ensimbi, kale nga mpaawo ayinza kubaako ky’ababuuza ku nkozesa y’ensinmbi zaabwe

Bano mu ngeri yeemu batutegeezezza nga bwebeekozeemu akabinja akagenda okuva nju-kunju nga kawenja obululu bwa pulezidenti Museveni