Amawulire

Besigye ali kalangala, Mbabazi Gomba, Museveni Hoima , Barya ali mu kibuga

Besigye ali kalangala, Mbabazi Gomba, Museveni Hoima , Barya ali mu kibuga

Ali Mivule

January 27th, 2016

No comments

File Photo:Besigye nga mubawagizi be

File Photo:Besigye nga mubawagizi be

Akwatidde ekibiina kya FDC bendera  Dr. Kizza Besigye asimbudde okwolekera ebiznga bye Kalangala okwongera okusaggula akalulu akanamutuusa ku bukulembeze bw’eggwanga.

Besigye awerekeddwako ssenkaggale w’ekibiina kya FDC  Maj Gen Mugisha Muntu, loodi meeya wa Kampala  Erias Lukwago ssaako n’abakungu b’ekibiina abalala.

Besigye wakuyitako e  Bubeke oluvanyuma agende e Kifumbira  mga era wakukuba enkungaana ku mwalo gwe Mwema e Bujumba, wamu n’olukungaana lwe olunasembayo mu tawuni ye Kalangala ku ssaawa 10 ez’olweggulo.

 

Ye omukulembeze w’eggwanga era akwatidde ekibiina kya NRM bendera  Yoweri Museveni agenze Kibaale ne Hoima.

Museveni wakukuba olukungana lwe olusooka ku ssomero lya St Albert Senior School mu gombolola ye  Bugangaizi olwo agende e Kiziranfumbi secondary.

Oluvanyuma wakukuba olukungaana olusembayo ku kisaawe kye Boma mu municipaali ye Hoima.

 

Eyesimbyewo ku bwanamunigina Prof Venasius Baryamureeba ye akyatalaaga Kampala olunaku lwe olwokubiri.

Olunaku olweggulo yakubye enkungaana e Gaba, Buziga Makindye n’ebitundu bye Nsambya nga era y’asuubizza bannakampala empeereza y’emirimu ennungi singa banamulonda ku bukulembeze bw’eggwanga.