Amawulire

Abasuubuzi bavudde mu mbeera lwa munaabwe eyattibwa

Ali Mivule

April 2nd, 2015

No comments

Abasuubuzi mu katale ke Nakasero banyiivu olwakkooti okuyimbula abakulembeze b’akatale kano abatta munaabwe olw’empooza. Kino kiddiridde omulamuzi Lillian Buchana mukifo ky’okubasomera ekibonerezo oluvanyuma lw’okubasingisa omusango gw’okutta mu butanwa ate okubayimbula  balye butaala. Omulamuzi Buchana agamba  abavunaanwa bakkiriziganyizza n’abenganda z’omugenzi nebabaliyirira obukadde 10. John Seruyinda eyali […]

Lukwago bamugobye ku ttofaali lya KCCA

Ali Mivule

April 2nd, 2015

No comments

Wabaddewo okusika omugwa ku kitebe kya KCCA ku city hall oluvanyuma lw’omuloodi wa Kampala Erias Lukwago okugaanibwa okuyingira.   Lukwago abadde agenze kwegatta kwabo abaanirizza Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu kusonda ettoffaali ku kitebe kino.   Lukwago abadde awerekeddwako omubaka wa Rubaga North […]

Abatujju balumbye Kenya nate

Ali Mivule

April 2nd, 2015

No comments

Abantu 8 bafudde sso nga abalala 4 batuusiddwako ebisago  ebyamanyi oluvanyuma lwabamukwata mundu okulumba yunivasite emu mu ggwanga lya Kenya.   Wabaddewo okuwanyisiganya amasasi ku yunivasite ya Garissa e Kenya nga amagye g’eggwanga gagezaako okulwanagana n’abakambwe abagambibwa okuwamba abamu ku bayizi.   Ssabapoliisi w’eggwanga lya […]

Akabenje katuze musanvu e Jjinja

Ali Mivule

April 2nd, 2015

No comments

Abantu 7 bafiiridde mu kabenje akagudde ku kyalo Namasoga ku luguudo lwe Jinja.   Akabenje kano kavudde ku Taxi namba UAN 119F  eyingiridde ekimotoka ki lukululana. Abafudde kuliko n’omwana ow’emyezi 3 nga bbo 10 babuuse n’ebisago ebyamanyi.

Bbaale Francis afudde

Ali Mivule

April 2nd, 2015

No comments

Munnamawulire  Bbaale Francis afudde. Bbaale Francis abadde musomi w’amawulire ku UBC nga era y’omu ku baludde ku Tv eno. Omugenzi afiiridde mu ddwaliro ekkulu e Mulago ekirwadde kya kookolo wa kawago aludde nga amubala embiriizi. Bbaale w’afiiridde nga atendeka abasomo b’amawulire omulimu gw’akoledde ebbanga okuviira […]

Afiiridde mu mpaka za Waragi

Ali Mivule

April 1st, 2015

No comments

Omuntu omulala afiiridde mu mpaka z’okunywa  waragi e Lwengo. Gerald Kamulegeya akanuse oluvanyuma lw’okuwakanira eccupa za waragi 6 ku kyalo Kanoni.   Kigambibwa nti Kamulegeya abadde awunzika eccupa y’omukaaga n’atondoka n’afa. Kitegerekese nti Kamulegeya ono okwetaba mu mpaka z’okwekamirira waragi alina ebbaala gyeyasoose n’ayiwamu obuccupa […]

Ekisakaate kitongozeddwa

Ali Mivule

April 1st, 2015

No comments

Maama wa Buganda Nabagereka Sylvia Nagginda ayongedde okuggumiza obukulu bw’ekisaakaate ekitegekebwa mu Buganda naddala ku mutendera ogw’amasaza ng’essira erisooka kwekunnyikiza empisa ez’omuganda ennono n’obuwangwa bw’abaganda. Bino bibadde mu bubaka bwe bw’atisse omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek  Nelson Kawalya bw’abadde aggulawo ekisakaate ky’amasaza ekyomulundi ogw’ekkumi wali […]

Abasuubuzi e Wandegeya mu katale beekalakaasizza

Ali Mivule

April 1st, 2015

No comments

Abasuubuzi mu Katale ke Wandegeya batanudde okwekalakaasa lwa kumala nnaku nga tebarina masanyalaze. Bano bagamba baakamala ennaku 3 nga tebarina mazzi kati ate baabasazeko n’amasanyalaze embeera gyebagaanye okugumikiriza. Bano balumbye ofiisi ya ssentebe w’akatale kano  Jonathan Gitta nga baagala alekulire okujjako nga babadizzaako amasanyalaze. kino […]

Omulambo gwa Kagezi gutuuse mu maka ge- teri bannamawulire bakkiriziddwa munda

Ali Mivule

April 1st, 2015

No comments

Poliisi ekyayiiriddwa mu maka g’omuwaabi wa gavumenti Joan Kagezi eyatemuddwa wali e Kiwatule. Abaserikale ba poliisi bebakuuma geeti nga era tebakkiriza munnamawulire yenna kuyingira munda.   Abamu ku baserikale abatayagadde kwatulwa manya bategezezza nga ab’enyumba bwebasabye baleme kukkiriza munnamawulire yenna munda bafune akaseera okukungubaga.   […]

Enteekateeka y’okulonda efulumya- kampeyini zitandika October

Ali Mivule

April 1st, 2015

No comments

Akakiiko k’ebyokulonda  kafulumizza enteekateeka yonna ey’okulonda kw’omwaka 2016 Okuwandiisa abagenda okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga kwakubaawo nga 5th October era nga kwakumala ennaku bbiri Abanesimbawo ku bifo by’okukiika mu palamenti bbo bakuwandiisibwa nga 9th ne 10th November 2015. Okuwandiisa abanesimbawo ku bifo bya gavumenti ez’ebitundu kwakubaawo […]