Ebyemizannyo

Alekulidde

Ali Mivule

July 10th, 2013

No comments

Okuvaako mu Fufa,abadde akulira ebyensimbi Anthony Kimuli alekulidde ekifookye olwensonga ezitebereka. Kino wekigidde nga Fufa yakafulumya embalirira yemipiira okuli ogwa  Zambia,Liberia ne Angola week eno. Kimuli abadde mukifo kino okumala emyaka enna (4years) era mukiseera kino yagenze mugwanga lya Scotland kumirimu gye emirara. Kimuli tayatudde […]

Egy’ebika giddamu

Ali Mivule

July 8th, 2013

No comments

Emipiira gyebika gyiddamu olunaku lwa’leero ,e’Ngabi eNnyunga bakukwataganako ne Njovu kussaawa munaana (2pm) ate bazzukulu ba mugema  abe’Nkima bakwatagane ne Nkusu kussaawa kumi (4pm) Emupiira gyombi gyakubeera mukisaawe e’Nakivubo era okuyingira kwa nusu shs 3,000=. Empaka zino zaggulwawo kulwomukaaga era e’Mbogo yeyawangula oluvanyuma lwokukuba ekika […]

Empaka z’emmotoka zissiddwamue nsimbi

Ali Mivule

July 4th, 2013

No comments

Company ya shell etadde millions shs100m mumpaka za Pearl of Afric a Rally ezomwaka guno. Empaka zino zitongozedwa olunaku lwaleero ku Shell Lugogo era zakubaayo nga enaku zomwezi 16thne 17th August omwezi ogujja.   Abavuzi amakumi 21 bamaze okwewandiisa era nga abategesi basuubira emotoka amakumi 40 […]

Ryan Giggs alidde

Ali Mivule

July 4th, 2013

No comments

Ryan Giggs alondeddwa okutendeka banne Aba Manchester United beebalonze Giggs ng’omutendesi ow’omu tiimu asooka ate Phil Neville yye agenda kwegatta ku David Moyes ng’omuyambi Giggs ow’emyaka 39 abadde atendekebw aokufuuka koki era nga wakufuna licence akadde konna

Abaddusi batuuse

Ali Mivule

July 4th, 2013

No comments

Ekibinja ekisooka ekyabana’Uganda  abagenda okwetaba mu mpaka zensi yonna ezamatendekero ga Universities ezigenda okutandika kulwomukaaga lwa week eno nga 6th okutuuka nga 17th July omwezi guno kituuse mu gwanga lya Russia. Abasoose okutuuka kuliko omutendesi Kiwa Faustino,Sebuliba Patrick kwosa nabaddusi Njia Benjamin ne Nanyondo Winnie. Okusinziira kusentebe wekibiina […]

Uganda esenvudde

Ali Mivule

July 4th, 2013

No comments

Uganda erinye ebifo 13 munsengeka yamawanga agasinga okucanga akapiira munsi yonna kulukalala olufulumizidwa ekibiina ekikulembera omupiira munsi yonna ekya Fifa. Uganda esenvudde okuva mukifo ekye 93th okudda mukye 80th nga kino kidiridde Uganda Cranes okuwangula emipiira omuli Liberia ne Angola mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mu za World […]

Empaka z’ebika -ebyokwerinda binywezeddwa

Ali Mivule

July 3rd, 2013

No comments

Akakiiko akateesi-teesi k’emipiira gyebika kategezezza nga bwebongedde  okunyweza ebyokwerinda kulwomukaaga nga emipiira gino giggulwawo. Ekika abe’Ffumbe bebagenda okuggulawo nekika kye’Mbogo mukisaawe e’Nakivubo. Wabula olunaku olwenkya akakiiko kano kakutuula mukafubo nomuduumizi wa Police mu Kampala nemirirwano Andrew Ferix Kaweesi. Nyinimu Ssabassajja Kabaka wa Buganda ne Katikiro be bokka […]

Abavuga ez’empaka bawummuzibbwa

Ali Mivule

July 3rd, 2013

No comments

Ekibiina ekikulembera omuzannyo gwemotoka zempaka ekya Federation of Motorsport Uganda (FMU) ,olunaku lwa’leero kiyimiriza abavuzi bana (4) okuli Nasser Mutebi,Duncan Mubiru –Kikankane,Geofrey Nsamba ne John Barrows okumala emyaka mukaaga (6yrs) nga tebetaba mumpaka zonna olwobusiwuufu bwempisa. Okusinziira ku sentebe wa FMU ,George Kagimu ategezezza nti […]

Cranes yesunga

Ali Mivule

July 3rd, 2013

No comments

Coach wa tiimu yomupiira eya Uganda cranes , Mulitin ‘Micho’ Sredojevic ayagala tiimu ezanyemu omupiira gwomukwaano nga tebanazanya ggwanga lya tanania mumpaka zokusunsulamu abaneetaba mu za Africa ezabazanyira awaka,   Micho agamba tiimu gyeyalonze yeetaaga omupiira guno okufuna obumanyirivu nga beeetegekera omupiira gwa Tanzania.   […]

Teri nguuli

Ali Mivule

July 2nd, 2013

No comments

Akakiiko kategezezza nti munkola eyokunyeza effujjo nebyokwerinda,tekagenda kukiriza muwagizi yenna kuyingiza obakutundira mwenge mukisaawe e’Nakivubo e’Ffume bwelinaaba liggulawo ne Mbogo mumipiila gyebika ebyomulundi agwe 69th.   Empaka zomulundi guno zetabidwamu ebika 43 era omutanda yasiimye okuggulawo empaka zino kulwomukaaga nga 6th omwezi guno.