Amawulire
Mulindwa tadda mu mupiira
Amawulire agava ku FUFA e Mengo galaga nti akulira ekibiina ky’omupiira kino Lawrence Mulindwa tagenda kwesimbawo mu kulonda okw’okukyuusa obukulembeze okusuubirwa okubaawo nga 31 omwezi gw’omunaana. Mulindwa eyajja mu bukulembeze w’omupiira mu mwaka gwa 2004 ategeezezza bino eri olukiiko olufuzi mu kafubo akatudde ku FUfa […]
Walusimbi ssi wakusamba
Omutendesi wa tiimu y’eggwanga Micho Mulitin akakasizza nga omuzannyi Godfrey Walusimbi bw’atagenda kukomawo waka kwetaba mu mupiira gw’olwomukaaga. Walusimbi ono alemereddwa okukwatagana ne tiimu gy’asambira mu Congo Kati Alex Kakuba ne Joseph Ochaya bebasigaddewo okuzannya mu namba ye mu mupiira wakati wa Uganda cranes […]
Tiketi za Cranes
Tickets zomupiira gwa Uganda Cranes ne Liberia zakutandika okutundibwa olunaku lwenkya kumakya. Tickets zino zakutundibwa nusu 12,000 wamu ne 33,000. Tickets zino zakutundibwa kumasundiro gamafuta aga Shell,Total,Kobil,City Oil ne Gapco. Awalala kwekuli Hardware world e Ntinda,City shoppers e Mukono ne Basebuguzi and sons e Masaka. […]
Abayizi beekyaye
Abayizi ku ttendekero lya Busoga College Mwiri beesuddemu kambayaaya nebeekalakaasa, Abayizi bano bagamba nti bakooye mbeera embi wmebasomera era nga bagaala abakulembeze b’ettendkero lino bagobwe. Abayizi bano bakedde bukeezi nebaggala essomero era nga baliko n’ensisinkano gyebabaddeu n’abakulembeze ba municipaali ye Jinja ne RDC. Bbo abakulembeze […]
Okubaka
Empaka z’okubaka ez’eggwanga zitandika ssabiiti eno n’enzannya ez’enjawulo. Emipiira mukaaga gyegigenda okubeera mu kisaawe e Nakivubo. Empaka zino ku luno zeetabiddwaamu abe Mbarara era nga buli omu b’ataddekoa maaso. Ekibiina ekitwala omuzannyo gw’okubaka kigamba nti empaka zino mwebagenda okujja abazannyi abanakola tiimu egenda […]
Manchester ekyetisse
Manchester United esitukidde mu kikopo kya pulemiya bw’ewnagudde omupiira gwaayo ye ne Aston Villa. Robin Van Persie y’ateebye goolo emaze eggobe mu kibya nga kati yadde liigi ekyagenda mu maaso, omuwnaguzi yategerekese dda. Guno mulundi gwa 20 nga United ewangula ekikopo kino. […]
Hamis Kiiza e sserunkuuma ssibakuzannya
Nga Tiimu y’eggwang eya Uganda cranes ekyagenda mu maaso n’okutendeka, muyizi tasubwa Hamis Kiiza ne Daniel Sserunkuuma ssibakukoona ku kapiira Bano tebagenda kwegatta ku tiimu kwolekera eggwanga lya Liberia oluvanyuma lw akooki okubasuula ebbali SSerunkuuma yegasse ku Brian Umony nate atagenda kusamba
Emisinde
Abaddusi abamannya nga Moses Kipsiro, Dorcus Inzikuru,Annet Negesa,n’abalala beebamu ku bagenda okwetaba mu mpaka z’eggwanga ezomwetoololo olunaku lw’enkya e jjinja. Ekibiina ekiddukanmya omuzannyo gw’emisinde mu ggwanga kigenda kweyambisa empaka zino okulonda tiimu y’eggwanga enetaba mu z’ensi yonna mu Poland. Empaka zino zigenda kwetabwaamu abantua basoba […]