Amawulire

Mulindwa tadda mu mupiira

Ali Mivule

June 24th, 2013

No comments

FUFA prezo

Amawulire agava ku FUFA e Mengo galaga nti akulira ekibiina ky’omupiira kino Lawrence Mulindwa tagenda kwesimbawo mu kulonda okw’okukyuusa obukulembeze okusuubirwa okubaawo nga 31 omwezi gw’omunaana.

Mulindwa eyajja mu bukulembeze w’omupiira mu mwaka gwa 2004 ategeezezza bino eri olukiiko olufuzi mu kafubo akatudde ku FUfa house e Mengo.

Bino webigyidde nga gavumenti eri mu nteekateeka za kulongoosa mupiira gwa Uganda ga n’ekimu ku bintu ebitunuuliddwa bwebukulembeze bwa FUFA oba buli mu mateeka wamu n’okugonjoola endoolito ezili mu liigi y’eggwanga