Ebyemizannyo

Empaka z’ebika -ebyokwerinda binywezeddwa

Ali Mivule

July 3rd, 2013

No comments

Kabak and soccer

Akakiiko akateesi-teesi k’emipiira gyebika kategezezza nga bwebongedde  okunyweza ebyokwerinda kulwomukaaga nga emipiira gino giggulwawo.

Ekika abe’Ffumbe bebagenda okuggulawo nekika kye’Mbogo mukisaawe e’Nakivubo.
Wabula olunaku olwenkya akakiiko kano kakutuula mukafubo nomuduumizi wa Police mu Kampala nemirirwano Andrew Ferix Kaweesi.
Nyinimu Ssabassajja Kabaka wa Buganda ne Katikiro be bokka abatagenda kwazibwa kulunako olwo.
Omwogezi wakakiiko kano,Lwanga Kamere asabye abantu bonna abagenda okubeera e’Nakivubo okukuuma obuntu bulamu nokugondera enteeka-teeka eno nga emipiira gino giggulawo.