Amawulire

aba Jobless Brotherhood bawawabidde ssabworerza wa gavumenti

Ivan Ssenabulya

October 10th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Kooti enkulu e Mukono etandise okuwulira omusango gw’abavubuka abeyita aba The Alternative Movement  abejulula okuva mu kiwendo ekya Jobless Brother Hood gwebatwalayo nga bawabira abantu abenjawulo ku misango omuli ogw’okubasiba okusukka esaawa eziri mu mateeka ku poliisi e Naggalama. Banno nga bakulebeddwamu […]

Omusomo gwabataka gutuuse

Ivan Ssenabulya

October 10th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Ba Jjajja Abataka Abakulu b’obusolya banjudde enteekateeka y’omusomo gwa-Bazzukulu baabwe ogukwata ku nnono n’obuwangwa. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku Bulange e Mengo, omukubiriza w’olukiiko lw’abataka Omutaka Kayiira Gajuule ategeezezza nti bagenda kusomesa ku bintu bingi omuli; okwejjukanya ku bikwata ku buwangwa bw’aBaganda, […]

Aba NRM e Mukono Beyawuddemu ku Byokujikwatako

Ivan Ssenabulya

October 10th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Aba NRM e Mukono batabukidde banabwe ku kyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga. Obutakanya buli wakati wa NRM abeyita aba Tugikwatako Central Region Forum , nga bano babadde bayitiddwa Sam Fredrick Bemba akuliramu kawefubwe ono wabula  balemeddwa abamu nebafuluma, abamu bwebabiwakanyizza. […]

Omujaasi asangidwa nga atembeeya masasi.

Ivan Ssenabulya

October 10th, 2017

No comments

Bya samuel ssebuliba Police mu district ye Kapchorwa ekutte omusajja  nga  ono asangiddwa nga atembeeya amasasi. Akwatidwa ye Charles Cherotich owe myaka 26 nga ono asangidwa mu Kapchorwa municipality nga alina amasasi mwenda mu nsawo. Ayogerera police mu kitundu kino ekye Sebei Rogers Tayitika agamba […]

Omulalu okubye omwana n’amutta.

Ivan Ssenabulya

October 10th, 2017

No comments

Bya Malik Fahad. E kalungu entiisa ebuutikidde abatuuze, nga kino kidiridde omulalu okukwata omuggo naakuba omwana ku mutwe okukakana nga amuse. Omwana atiddwa ye Shanitah Navuga  abadde asoma ekibiina ekya nursery. Omulalu amukubye ye Deo Lwanga nga ono amusanze amakya ga leero nga agenda ku […]

Eyalaama okuziikibwa ewala atuuyanzizza abatuuze.

Ivan Ssenabulya

October 10th, 2017

No comments

Bya Eriya Lugenda. E Kayunga waliwo  abatuuze ku kyaalo Kaazi abakyasiitaana okutuukiriza eddaame ly’omusajja eyalaama okuzikibwa mu ntaana ya fuuti  50. Omugenzi John Naalabilaawo yaffa ku lw’akutaano ssabbiiti ewedde yaatadde abantu kubunkenke,bweyalaama nti yye alina kuziikibwa mu ntaana mpanvu okwewala abasezi okumulya. Okusinziira ku batuuze,bano […]

Abasawo bakwekalakaasa okutandika mu November.

Ivan Ssenabulya

October 10th, 2017

No comments

Bya Emma Ainebyona.   Ate bbo abasawo wansi w’ekibina kyabwe ekya Uganda Medical Association basazeewo  nti okutandika nga November 6 bagenda kuteeka wansi ebikola okutuusa nga government etukiriza by’ebasaba. Bano bakaanya nti balina okwongezebwa ku musaala, kko n’obusiimo, kale nga singa kino tekikolebwa eby’okudda ku […]

Bbapuliida ba govument beekalakaasizza.

Ivan Ssenabulya

October 10th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah ne Ben Jumbe .   Olunaku olwaleero ba- Puliida ba government nate bazeemu okuteeka wansi ebikola, nga kino kidiridde government okulemwa okutuukiriza byeyeeyama mu naku 90 zebakaanyako. Kinajukirwa nti bono  mu july  w’omwaka guno oluvanyuma lw’okwekalakaasa okumala akabanga, Minister akola  ku by’amateeka  […]

Omukazi nomwana we omuwere batiddwa e Nsangi

Ivan Ssenabulya

October 9th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Police ye Nsangi etandise okunonyereza kungeri omukazi ategerekese nga Nakitende fatuma nomwana we omwemyezi 3 gyeyatiddwamu emirambo nejisulibwa mu lusaalu. Okusinziira ku poliisi emirambo gisangiddwa mu lusaalu lutobazi lwe Kazinga mu ggombolola ye Nsangi mu distrct ye Wakiso. Lucas owoyesigire amyuka omwogezi […]

President alabudde banabyabufuzi ab’efujjo.

Ivan Ssenabulya

October 9th, 2017

No comments

Bya samuel ssebuliba. Omukulembeze we gwanga akaladde n’awera okukuuma obwetwaze bwe gwanga, kko n’emirembe uganda byeyatuukako mu mwaka 1962,  kko ne mu 1986 nga NRM ewambye. President Yoweri Kaguta Museveni  okwogera bino abadde ku mikolo gy’amefuga ge gwanga egy’omulundi ogwa 55 egibadde  e Bushenyi. Ono […]