Amawulire

Naggagga Kirumira wakukunyizibwa

Ali Mivule

September 12th, 2013

No comments

Kooti eyise bukubirire naggagga Godfrey Kirumira okuginyonyola lwaki azimba ekizimbe mu kibuga nga talina lukusa Ekizimbe ekyogerwaako kili ku luguudo lwa Nasser Mu kampala Omuwaabi wa gavumenti Kakie atugonza agambye nti, Kirumira ono akianyi bulungi nti okuzimba mu kibuga, omuntu amala kufuna lukusa nga kino […]

Teri South Sudan kwegatta ku mukago

Ali Mivule

September 12th, 2013

No comments

Eky’okuyingiza eggwanga lya south sudan mu mukago gwa East Africa kisimbiddwa ekkuuli. Ababaka abamu mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bagamba nti aba sudan bayitirizza okutulugunya abasuubuzi okuva mu mawanga amalala nga betaaga kubonerezebwa Omubaka we Bukoto mu bugwanjuba, Mathius Nsubuga n’owe Bugweri, Abu Kauntu bagamba nti […]

Mwewale ebyobufuzi-Katikkiro

Ali Mivule

September 12th, 2013

No comments

Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga akubirizza abavubuka okwewala ebyobufuzi ebyawula mu mbeera z’abantu. Katikiro bwabadde asisinkanye abakulembeze ba NRM okuva mu district za Buganda, abasabye okwewala okulwanagana wamu n’okwelangira kubanga bona bantu ba ssabasajja. Mayiga agambye nti ebyobufuzi ebibi byebyavirako obwakabaka okuwerebwa mu mwaka […]

Ettaka limubisse

Ali Mivule

September 12th, 2013

No comments

Omuntu omu abikiddwa ettaka n’afa mu bitundu bye Kabalagala. Ono atategerekese manya yoomu ku basajja ababadde basima ettaka okussaayo pipo z’amazzi OC we Kabalagala, Bernard Mugerwa agamba nti omugenzi afudde kiziyiro oluvanyuma lw’okumala essaawa esoba mu emu ng’abikkiddwa ettaka lino. Bbo abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti […]

Emyaka ena bukyanga kwekalakaasa kubuutikira Obuganda

Ali Mivule

September 11th, 2013

No comments

Olwaleero lwegiweze emyaka ena bukynaga kwekalakaasa okwabuutukira ebitundu bya Buganda kubeerawo. Okwekalakaasa kuno kwava ku gavumenti okukugira omutanda okukyala mu ssaza lye erye Bugerere. Abantu 27 beebafiira mu kwekalakaasa kuno. Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bbo omulanga gwaabwe guli gumu nti alipoota eyakolebwa ku kwekalakaasa […]

Ekisaawe ky’enyonyi mu Buganda kijja

Ali Mivule

September 11th, 2013

No comments

Gavumenti ya ssabasajja Kabaka netegefu Okwaniriza  by’okuzimba ekisaawe ky’enyonyi mu Buganda Katikkiro Charles Peter Mayiga agamba nti bagaala kusooka kumaliriza masiro batandike okukola ku nteekateeka ez’omuggundu ng’eno. Amyuka akulira ekitongole ky’enyonyi, David MPango anyonyola ategeezezza ng’enteekateeka eno bw’ejja okusitula Uganda ne Buganda era nga yetaaga […]

Temutiisatiisa Basomesa

Ali Mivule

September 11th, 2013

No comments

Ensonga z’abasomesa zisitudde buto mu lukiiko olukulu olw’eggwanga. Ababaka bagaala akakiiko akalwanirira eddembe ly’abantu okukola ku ky’abasomesa abatiisibwatiisbwa buli lweboogera ku nosnga zaabwe Kino kiddiridde minister akola ku nsonga z’ebyenjigiriza, Jessica Alupo okulagira abakulira ebyenjigiriza okufuba okulaba ntu abasomesa bakola. Akulira kakiiko akalwanirira eddembe ly’abanti […]

Ababaka baluyiseeko

Ali Mivule

September 11th, 2013

No comments

Ababaka abagobwa mu kibiina kya NRM bafunye ku buweeerero. Abalamuzi musanvu abatuula mu kooti y’okuntikko mu ggwanga nga bakulembeddwamu omulamuzi Bart Katureebe basazizamu ekya kkooti etaputa semateeka okugoba ababaka bano. Kiddiridde kooti eno okulagira sipiika Rebecca Kadaga okugaana ababaka bano okulinnya mu palamenti okutuusa ng’omusango […]

Gavumenti etabukidde abasomesa

Ali Mivule

September 10th, 2013

No comments

Ministry ekola ku byenjigiriza mu ggwanga alagidde abakulira eby’enjigiriza mu district zonna okukola kyonna ekisoboka okulaba nti abasomesa bagenda mu bibiina.   Ekiwandiiko ekifulumiziddwa minisita w’ebyenjigiriza, Jessica Alupo agamba nti abasomesa bonna balina okugenda okukola n’okubaawo okuyingiza abaana mu bibiina.   Alupo asabye abasomesa obutalekerera […]

Okuwandiisa piki

Ali Mivule

September 10th, 2013

No comments

Okuwandiisa abagoba ba pikipiki kugenze mu maaso n’olunaku lwaleero. Ku kitebe kya KCCA ku cityhall, kkampuni eziwera zeeziwandiisizza pik.i Omu ku bawandiisa, Tony Bagala agamba nti babadde bakawandiisaako abantu 100 okuva lwebwakedde era nga basnayufu nti bitabudde bulungi. Ono agamba nti bannanyini kkampuni beebawandisizza piki […]