Amawulire

Sejjusa bumukeredde

Ali Mivule

September 17th, 2013

No comments

Palamenti   emaze n’egaana okwongerayo oluwumula lwa general David sejjusa nga ono amaze ebbanga ng’ali mu luwumula mu gwanga elya Bungereza. Omukubiriza w’olukiiko olukulu olw’eggwanga Rebecca Alitwala Kadaga agamba nti akizudde nga Sejjusa tali ku mirimo mitongole nga bweyasaba ,kale nga amwagala mu palamenti obutasukka […]

Temuddamu kuzimba Nakivubo

Ali Mivule

September 17th, 2013

No comments

Ekitongole kya Kampala capital city authority kiyimiriza bunambiro okuzimba kwonna ku kisaawe kye Nakivubo. Kcca egamba abali emabega w’omulimu ,baava dda  kupulaani  y’okuzimba ekisenge nga bwebakkiriziganya nga kati bali mu kuzimba midaala ekitali mu pulaani. Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti bazze nga balabula […]

Ekimotoka kikutte omuliro

Ali Mivule

September 17th, 2013

No comments

Poliisi etandise okunonyereza ku kabenje akafiiriddemu abantu 4 mu kibuga kye Kabale . Fuso eyabadde efumuuka obuweewo kigambibwa nti yalemeredde omugoba waayo neyevulungula enfunda n’oluvanyuma n’ekwata omuliro. Omuduumizi wa poliisi mu bitundu bye Kabale Olivia Wabwire  ,agamba fuso eno eyabadde esabaaza abasalamala nalinnye ku waya […]

Eby’abasomesa tebinnaba kutereera

Ali Mivule

September 17th, 2013

No comments

Abasomesa abeekalakaasa gavumenti ebatuunulidde n’eriiso ejjojji. Minisitule ey’ebyenjigiriza  egamba nti etandise okwwebuuza ku muwi w’amagezi aowa gavumenti ku ky’abasomesa abagaanye okulinnya mu bibiina. Minisita akola ku byenjigiriza, Jessica Alupo agamba nti bakuddamu okuyisa mu tteeka elikwata ku nneyisa y’abasomesa okulaba oba obutasomesa okumala ennaku eziwera […]

Tewali ssente- Museveni eri abasomesa

Ali Mivule

September 16th, 2013

No comments

Pulezidenti museveni ayanukudde abasomesa n’abategeeza nga bwewatali ssente. Pulezidenti agambye nti abasomesa baddeyo okusomesa ng’ensonga zaabwe zakutunulwaamu omwaka ogujja Bino pulezidenti abyogedde asisinkanye ababaka okuva mu kibiina kya NRM mu maka ge Entebbe. Agambye nti batunuulidde bitongole biyinza kuvaamu nsimbi ng’amasanyalaze n’enguudo sso ssi ate […]

Abasuubuzi bafunye paaka

Ali Mivule

September 16th, 2013

No comments

Ekitongole  kya KCCA kiwadde olukusa abaddukanya akatale ka USAFI okubeerawo ne paaka ya taxi. Kino kigendereddwaamu kuyamba mu kukendeeza omugotteko. Omwogezi we kitongole kya KCCA Peter Kawujju agamba nti bawadde aba USAFI  ekiseera kya myezi 12 nga baddukanya paaka ya taxi nga yakukozesebwa emmotoka ezikozessa […]

Ekisaawe kye Nakivubo tekiri ku pulaani

Ali Mivule

September 16th, 2013

No comments

Kampala capital city authority akanze nga bw’egenda okuyimiriza eby’okuddabiiriza ekisaawe kye Nakivubo. Kino kiddiridde ebigambibwa nti abakiddabiriza bavudde dda ku pulaani Ab’ekisaawe kino bakkirizibwa okuzimba ekikomera kyokka nga KCCa egamba nti bano bali mu kuzimba maduuka Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti agambye nti […]

Omubbi akubiddwa amasasi

Ali Mivule

September 16th, 2013

No comments

Omusajja omu agambibwa okubeera omubbi akubiddwa amasasi agamuttiddewo . Ono abadde ne banne mukaaga e Ntinda. Abamu ku bano baali bakozi mu kkampuni y’amasimu eya MTN nga babadde bamenya muterekebwa byuuma. Omwogezi wa poliisi mu kampla n’emiriraano, Ibin Senkumbi agamba nti abazigu bano babadde n’emmundu […]

Amasomero gakuggulawo k’abe lubaale oba Katonda

Ali Mivule

September 12th, 2013

No comments

Gavumenti egaanye ebyokutiisibwatisibwa abasomesa era newera nga amasomero bwegajja okuggulawo k’abe lubaale oba katonda. Minisita w’ebyenjigiriza  Jessica Alupo agamba tewali agenda bateekako kazito kubakozesa nsobi era bakuggulawo amasomero gonna ku bbalaza. Alupo wabula era yewunya lwaki ate abasomesa ababadde bateesa ne gavumenti babijjemu enta ku […]

Kadaga atabuse

Ali Mivule

September 12th, 2013

No comments

Speaker wa parliament Rebeca alitwala Kadaaga ,avudde mu mbeera n’agaana ba minister bonna kko n’abakulira obukiiko bwa palamenti  okuddamu okumala gafuluma eggwanga. Kino kivudde ku babaka bano kulemerera kukola alipoota ku  mbalirira  y’omwaka guno . Sipiika Kadaga okuva mu mbeera kiddiridde ennaku mwebalina okuleetera alipoota […]