Amawulire

Omukyala agudde mu mwaala n’agwa

Ali Mivule

November 20th, 2014

No comments

Abasuubuzi be Kyengera ku lw’e Masaka baguddemu ekyekango oluvanyuma lwamunaabwe okugwa mu mwala n’afa. Omukyaala ono ategerekeseko erya Nabukeera y’abadde adda ewaka  ekiro ne munne ku bodaboda ebkuba n’ebasalako boda n’eremerera omugoba waayo nebagwa mu mwala amazzi negabatwala. Munne yazuuliddwa amangu ddala wabula  ye Nbaukeera […]

Aba China babayodde

Ali Mivule

November 20th, 2014

No comments

Waliwo banansi b’eggwanga lya China 45 abakwatiddwa lwakuyingira ggwanga mu bukyamu. Bano bazingiddwako mu bitundu by’e Munyonyo gyebabadde bakolera kampuni ya Bettinga eya  Lee and GAO united traders and Investments. Amyuka omwogezi wa minisitule y’ensonga z’omunda w’eggwanga  Benjamin Katana agamba bano baakwatiddwa oluvanyuma lw’okutemezebwako poliisi. […]

Cranes ewaze, abawagizi bagobeddwa, olukalala olutandika luluno

Ali Mivule

November 19th, 2014

No comments

Omutendesi wa Uganda Cranes Micho amaze okulangirira tiimu egenda okwambalagana ne Guinea mu mupiira gw’okufa n’okuwona eri Uganda. Uganda yetaaga akabonero kamu okuyitawo oba okuwangula. Mu bagenda okusooka ku kisaawe kwekuli Denis Onyango,Isaac Isinde, Godfrey Walusimbi,Savio  Kabugo, Andy Mwesigwa, Baba Kizito,Kizito Luwaga, Tonny Mawejje, Farouk […]

Omwana eyattiddwa, Musisi yetonze

Ali Mivule

November 19th, 2014

No comments

Bazadde b’omwana eyafootoddwa ku KCCA olunaku lwajjo bagaanye okuziika omwana okutuuka nga baliyiriddwa. Bino babituseeko mu kafubo kebabaddemu ne KCCA ku ofiisi zaabwe mu kampala Kati bategereganye nti omulambo guno guddizibwe e Mulago okutuusa nga batuuse ku kukkaanya Olukiiko luno lwetabiddwaamu maama w’omwana Madina Namutebi […]

Abatembeeyi bakusasula eziwera

Ali Mivule

November 19th, 2014

No comments

Abatembeeyi  abawerera  ddala  amakumi  abiri  gabamyuuse oluvanyuma  lw’omulamuzi  okukabatema  nti  bakusasula  emitwalo 45 buli  omu  olw’ekutembeeyeza ebintu ku nguudo mu bukyaamu. Bano  nga  bakulembeddwamu  Barbara  Zalwango  basimbiddwa mu  maaso  g’omulamuzi  Erias  Kakooza  ku  City  Hall . Balina okusasula ensimbi zino oba okusibwa emyezi mukaaga Bano  […]

Gwebaayiridde Acid afudde

Ali Mivule

November 19th, 2014

No comments

Omukyala eyayiiriddwa acid ng’ali ne bba afudde Rose Namuddu eyali ne bba n’omwana waabwe owa wiiki babalumbira ku luguudo lwa Northern Bypass nga bava mu kyaalo okutuuma omwana erinnya. Yye bba Kassimu Kakaire iakyaali mu mbeera mbi nga bweguli ne ku mwana Yyo poliisi yakakwata […]

Eyawambye abaana akkirizza omusango

Ali Mivule

November 19th, 2014

No comments

Omukyala ow’emyaka 21 eyakwatiddwa ku byekuusa ku kubba abaana basatu okuva ku ssomero lya City Parents School agguddwaako emisango n’asindikibwa e Luzira Jamilah Nabatanzi agguddwaako emisango esatu nga gyekuusa ku kuwamba abantu bw’abadde mu maaso g’omulamuzi Morris Ezera Oburu. Abaana abawambiddwa kuliko Rebecca Wamboka, Rachael […]

Nkumba yunivasite eggaddwa

Ali Mivule

November 19th, 2014

No comments

Yunivasite ye Nkumba  egaddwa ekiseera ekitali kigere oluvanyuma lw’ennaku 3 nga abayizi bekalakaasa olw’ebisale bya fiizi okwonngezebwa. Abakulira ettendekero lino baayongezza ensimbi z’okuddamu okutuula ebigezo okuva ku siringisi 100,ooo okutuuka ku 200,000 sso nga omuntu kati bwasubwa okukola olupapula lwonna asasula 100,000 okuva ku mitwalo […]

Luzinda akoze sitatimenti

Ali Mivule

November 19th, 2014

No comments

Omuyimbi Desire Luzinda kyaddaaki akoze sitatimenti ku poliisi Luzinda atuuse ku poliisi ku ssaawa mukaaga ayiseewo butereevu okutuuka mu ofiisi w’omwogezi wa Poliisi gy’asisinkanye abalina okumusoya ebibuuzo okumala ebbanga Mu sitatimenti Luzinda gy’akoze agusalidde muganzi we omu Nigeria gw’agamba nti yeeyafulumya ebifananyi bino nga naye […]

Ono tatya biduduma

Ali Mivule

November 19th, 2014

No comments

Kubamu akafananyi ng’obadde onywa akatunda ko , abasajja abampadde obukokoolo nebayingirawo nga tobamanyi ate mu kiro. Manyi bangi bafukamira ate abalala banoonya awalala aw’okuddukira. Ssi bwegubadde ku musajja enzaalwa ye Russia asigadde ng’anywa akatunda ke yadde alumbiddwa ka bakanyama 35 Omusajja ono abadde mu kafo […]