Amawulire
Owa NRM ali mu maaso
Ebyakava mu kubala obululu e Amuru biraga nti Munna NRM Jane Francus Amongin y’aleebya banne bwebali mu lwokaano Mu gombola ye Atiak, Amongin afunye obululu 1,500 ate ow’abavuganya nga wa FDC Lucy Akello afunye obululu 1,036 Mu gombolola ye Lamogi, mu muluka gwe Jimo, Amongin […]
Omwana eyafudde, Palamenti etudde, omwana aziikiddwa, Musisi akaabye
Akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi akulukusizza amaziga ng’omukyala eyafiiriddwaako omwana, amulombojjera ebintu nga bwebyabadde. Madina Namutebi abadde ne bba basisinkanye Musisi okufuna ebbaluwa omuli obweyamo nti KCCA yakubaliyirira n’okubonereza omuntu eyakoonye omwana waabwe Bakadde b’omwana kati basazeewo nti bagende baziike nga bwebalindiridde ebinaava mu […]
Ettendekero lye Ndejje liggaddwa
Ettendekero lye Ndejje liggaddwa okumala ebbanga eritali ggere. Kiddiridde abayizi okwekalakaasa nga bawakanya eky’okwongeza ebisale. Mu nsimbi ez’ongezeddwa kwekuli ez’okuddamu empappula okuva ku mitwalo 5 okudda ku 10 ate ng’okwewandiisa okukola ebigezo kati bakusasula emitwalo 20 okuva ku mitwalo 10. Abayizi bagamba nti zino nyingi […]
Baasi za kazambi yiino
Baasi esoose obutakozesa mafuta ng’ekozesa kazambi olwaleero etandise okutambuza abantu Baasi eno etuuza abantu 40 ekoleddwa ba yingiya okuva mu Bungereza Abagikoze kyebagaala kwekukendeeza ku mafuta agakozesebwa mu byentambula n’okukendeeza ku motoka ezifulumya erikka
Uganda cranes ekomawo nkya
Tiimu y’eggwanga elya Uganda Cranes akomawo ku butaka olunaku lwenkya Abazannyi bano bakutonnya ku kisaawe ku ssaawa musanvu n’eddakiika 35 Yye kaputeni wa wa tiimu y’eggwanga Andy Mwesigwa tagenda kukomawo ng’azzeeyo butereevu eri tiimu ye eya Kazecstan Tiimu eno jjo yakubiddwa goolo 2 ku bwereere […]
Bagaba akaboozi okufuna ebyenyanja
Ensonga za Mukenenya ku bizinga yyo ekutte wansi ne waggulu Kati nno abakyala abakola ku myaalo kizuuliddwa nti bangi okufuna ku byenyanja bino basooka kwebaka na basajja ababivuba. Bino byatuuddwa ab’ekibiina ky’obwa nnakyeewa ekikola ku bya bavubi ekya Uganda fisheries and fish conservation Association ekikolera […]
Warid yakusasula Obsessions
Kkooti eragidde kkampuni ya Warid okusasula ab’ekibinja ky’abazinyi n’abayimbi ekya obsessions Bano bakuweebwa obukadde 60 olwa warid okukozesa enyimba zaabwe nga tebafunye lukusa Akulira kkooti ekola ku byobusuubuzi David Wangutusi agambye nti Warid yamenye amateeka ku biyiiye liyite Copyright bweyakozesa enyimba za Obsessions ttaano namba […]
Ababaka bawaddeyo obujulizi ku ggaali y’omukka
Ababaka ba palamenti abakulemberamu okwemulugunya ku ngeri ensonga z’okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka gy’ekwatiddwaamu olwaleero balabiseeko mu kakiiko akassibwaawo okunonyereza ku nsonga eno. Ababaka bano okubadde Theodore Sekikubo ne Abdu Katuntu baliko ebiwandiiko byebawaddeyo eri akakiiko kano. Ng’awaayo ebiwandiiko bino, omubaka Sekikubo agambye nti kino bakikoze […]
NRM ebadde temanyi nti bagibanja
Poliisi n’era erinye okulinya eggere mu nteekateeka zabannakisinde kya 4GC abakedde okugenda ku kitebe ky’a minisitule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga okukwanga bekikwatako ekiwandiiko nga babanja omuyambi wa Dr. Kiiza Besigye nga ono ye Sam Mugumya. Poliisi ekedde kusalako luguudo lwa sir Apollo wakati mu kulindirira bannakisinde […]
Banyaguludde Ekelezia
Poliisi ye Butenga mu disitulikiti ye Bukomansimbi eri ku muyiggo gw’ababbi ba nkuyege tetya ssabo abaalumbye e Kanisa ya Kitasa nebabulawo n’ensimbi ezitanamanyibwa muwendo. Bwana Mukulu w’ekigo ky’ekanisa eno Rev. Fr. Aloysius Kamulegeya ategezezza nga ababbi bano bwebaamenye ofiisi y’omuwandiisi nebabbamu ssente ezawereddwawo abagoberezi. Omwogezi […]