Amawulire

11 bafudde ekiziyiro

Ali Mivule

November 21st, 2014

No comments

Abantu 11 beebafudde ekiziyiro mu kanyigo akabadde mu kusaba okutegekeddwa mu kisaawe mu ggwanga lya Zimbabwe Abantu bana beebafiiriddewo ate omusanvu nebafiira mu ddwaliro Abafudde beebamu ku babadde bafuluma ekisaawe oluvanyuma lw’omusumba w’erinnya Walter Magaya okumaliriza okuliisa abantu ekigambo. BBo nno abeerabiddeko n’agaabwe bafusalidde poliisi […]

Dereeva eyasse omwana asindikiddwa e Luzira

Ali Mivule

November 21st, 2014

No comments

Dereeva eyasse omwana ku KCCA asimbiddwa mu kooti n’aggulwaako emisango gy’okuvugisa ekimama Baguma Anuali alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kooti ya Buganda Road Araali Muhirwa Kigambibwa nti Baguma ku lunaku olw’okubiri nga tasoose kwetegereza kiki ekyaali emabega we yafotoola omwana eyali mu mipiira gy’emotoka awasimbwa […]

Obukubagano mu maka bungi muzukuuke

Ali Mivule

November 21st, 2014

No comments

Abalwanirira edembe ly’abakyala bagala government eyongere amaanyi mu kulwanyisa okutulugunya abakyala nga bwelwanyisa endwadde zinamuzisa ezirumba eggwanga. Okusaba kuno kujidde mu kiseera nga uganda yetegekera okujukira ennaku 16 ezokulwanyisa obutabanguko mu maka. Akulira emirimu mu kitongole kya Center for Domestic Violence Prevention Deus Kiwanuka agambye […]

Owa FDC awangudde mu Amuru- abavuganya balabudde

Ali Mivule

November 21st, 2014

No comments

Ababaka ba parliament bawadde endowooza ezenjawulo ku kalulu k’omubaka omukyala akikirira district ye Amuru akawanguddwa ab’oludda oluvuganya government. Munna FDC Lucy Akello yawangudde n’obululu 7,420 ate muna NRM Frances Okilli Amongin nafuna obululu 6,701 Omubaka wa Butambala Muwanga Kivumbi agambye nti kano kabonero akenkukunala akala […]

Kaliisoliiso atabukidde ssabawolereza

Ali Mivule

November 21st, 2014

No comments

Mu mbeera etali yabulijjo, kalisoliso wa government omukyala Irene Mulyagonja okutte mu mbuga z’amateeka Ssabawolereza wa government Peter Nyombi anyonyole ku mivuyo egyetobese mu kuzimba oluguudo lwa Mukono- Katosi. Bwabadde ayogera eri banamawulire Irene Mulyagonja agambye nti Peter Nyombi yalaga dda kyekubiira bweyasaba Kampuni yaba […]

Ekikulekule e Buyindi

Ali Mivule

November 21st, 2014

No comments

Mu ggwanga lya Buyindi, waliwo omwana azaaliddwa ng’alina embiriizi munaana Omwana ono alina emikono ena, n’amagulu ana Abantu batandise okwekulungulula okugenda okulaba ku mwana w’ekika kino abangi gwebagambye nti akakasa nti mu butuufu katonda atonda Embeera eno kigambibwa okuba ng’eva ku balongo okwegattira mu lubuto […]

Abakadde enjaga ebakubye

Ali Mivule

November 21st, 2014

No comments

Akatambi akalaga bannamukadde basatu nga banywa enjaga mu bubba katunda nga keeki eyokya Abantu abasoba mu bukadde 11 beebakalaba akatambi kano akakwatiddwa mu Washington ekya America. Abakadde bano abasatu nga bonna bakyala balabwaakko nga bagabana omusokoto gw’enjaga nga bwebazannya ne matatu Wabula oluvanyuma lw’eddakiika nga […]

Omupakasi asobezza ku muwala wa mukamawe

Ali Mivule

November 21st, 2014

No comments

Poliisi ku kyalo  Kyabi mu disitulikiti ye Ssembabule ekutte omupakasi asobezza ku muwala wa mukamawe. Omupakasi ono wa myaka  30 era  asobezza ku wa myaka 10. Kigambibwa nti ssedduvuutu ono y’alabiriza bazadde b’omwana nga  tebaliiwo n’amweganzikako. Bazadde b’omwana ono okulabuka basoose kulaba mwanawaabwe nga alumizibwa […]

Museveni akudalidde Abamuvuganya e Serere

Ali Mivule

November 21st, 2014

No comments

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asabye banna NRM abaagala okwesimbawo mu bitundu bye Serere obuttakiriza bavuganya gavumenti kubawangula. Museveni etegezezza abatuuze nga ab’oludda oluvuganya gavumenti omuli n’omubaka waabwe omukyala Alice Alaso bwebakunganya obukunganya ensimbi nga mu palamenti mpaawo kyebayinza kubayamba. Museveni ategezezza nga ab’eserere bwebalimbibwa […]

Amataba gasse 2 wano mu Kampala

Ali Mivule

November 21st, 2014

No comments

  Enkuba ekedde okutonnya amakya galeero erese abantu 2 bafu. Bano bagudde mu myala egibooze oluvanyuma lw’enkuba okutonya nga engobe mu ggulu. Abafudde kuliko  ategerekese nga Nakato omutuuze we Nabweru ssaako n’omulala ow’emyaka 15 naye ategerekeseko erya Faizal nga ono yye mutuuze wa Kyebando Central […]