Amawulire

Bamusse, omulambo nebagusibira mu nju

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Ebadde ntiisa, abatuuze bwebagudde ku mulambo gwa munnaabwe abadde yabula nga gusibiddwa mu nju ye Omugenzi ategerekese nga Lawrence Mulumba, omutuuze ku kyaalo Kasasa mu gombolola ye Kakuuto, Rakai. Omulambo gwa Mulumba gusangiddwa abatambuze abawulidde ekisu nga bano beebawaabye eri poliisi n’emenya olujji Omusajja ono […]

Eby’omwana Semaganda biranze

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Olukiiko wakati wa KCCA ne bazadde b’omwana eyatomerwa n’afa  terugenze mu maaso olwaleero. Maama w’omwana ono Ryan Semaganda nga ye Madina Namutebi agamba nti babadde balina okusisinkana KCCA olwaleero kyokka nebategeezebwa nti balina olukiiko olw’amangu lwebagendamu. Bano nno baliko endagaano gyebaakola ne KCCA okulaba nti […]

Abavuganya bawanda muliro

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

  Eyaliko senkaggale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye ayagala akulira ekitebe ky’amawulire ekya gavumenti Ofwono Opondo akwatibwe Obuzibu bwonna buva ku bigambo bya Opondo nti abavuganya bangi beetaba mu bikolwa by’ekiyekeera. Opondo ono yagambye nti omuyambi wa Dr Kiiza Besigye Sam Mugumya yabakaksizza nti […]

Abe Lwengo bajjanjabiddwa

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Abantu abasoba mu 500 mu disitulikiti ye Lwengo bajjanjabiddwa mu nkambi y’ebyobulamu ekubiddwa mu nkambi y’amaggye e Kasajjagirwa Mu nkambi eno ebadde ku kisaawe e Kyazanga, abantu bakebereddwa n’okujjanjaba endwadde ezitali zimu ng’omusujja gw’ensiri, senyiga, emitwe, ebifuba, kko n’ekusomesa abakyala n’abaami kun kola z’ekizaala ggumba. […]

Abakyala banyigirizibwa nnyo

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Kizuuliddwa nti kyangu nnyo abakyala abali mu bifo by’obuyinza okulaga obubonero bw’okunyigirizibwa emirimu gyebakola ate okusingako ku basajja Mu basajja, kigambibwa okuba nti eky’okubeera n’obuyinza okugoba oba okuwandiisa abakozi abapya kibayamba okukendeeza ku birowoozo ate ekitali ku bakazi. Eri abakyala, buli lw’agoba omukozi oba okuwandiisa […]

Uganda ekubiddwa mu mbuga lwa basawo

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Gavumenti ya Uganda ekubiddwa mu mbuga z’amateeka lwakusalawo kusindika basawo 250 mu ggwanga lya Trinidad and Tobago. Ettendekero erikola ku by’okunonyereza lyeriwaabye gavumenti nga ligamba nti kyenyamiza okulaba nti wakati mu bbula ly’abasawo mu ggwanga, ate abatono abaliwo gavumenti ekkirizza okubasindika ebweru Atwala emirimu gya […]

Eyasomola ebyaama bya Kaihura akyatoba

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Okuwulira omusango gw’omuserikale wa poliisi agambibwa okusomola ebyama bya mukamawe era ssenkagale wa Poliisi Gen Kale Kayihura kugudde butaka. Omusango guno gubadde gulina okuddamu okuwulirwa oluvanyuma lwa kkooti enkulu okulagira guwulirwe nga bannamawulire bakwaata buli kigenda mu maaso. Waliwo ekibinja ky’abannamawulire abekubira enduulu mu palamenti […]

Abalima ebimuli bya KCCA beediimye

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Abalima mu bimuli bya KCCA bassizza wansi ebikola. Bano nga bali eyo mu  200 okuva mu division 5 wano mu kampala bagumbye ku kitebe kya KCCA basisinkanemu bekikwatako ku nsonga eno. Abamu ku bano abataagadde kwatukirizibwa mannya bategezezza nga bwebakamala emyezi 2 nga tebalaba ku […]

Aba Taxi bazze ku ssaawa ya kwiini

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Abagoba ba Taxi bakedde kudda ku paaka ya clock tower yadde nga KCCA yabafumuula Aba Taxi bano bazze benaanise obujoozi bwa kyenvu obwa NRM nga bagamba nti pulezidenti y’asinga obuyinza era yabakkirizza okudda YYe omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti tebannabakkiriza kukola

Poliisi etabuse ku mwana eyatulugunyizibwa

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Poliisi enyonyoddeko ku by’okukyuusa emisango egivunaanibwa omukozi eyalabikidde mu katambi ng’atulugunya omwana wa mukamawe ow’omwaka ogumu. Jolly Tumuhirwe y’asindikiddwa mu kkomera e Luzira ku misango gy’okutulugunya wansi w’etteeka ly’okutulugunya wabula nga kati poliisi ezzeemu okwetegereza okulaba nga aggulwako emisango emirala. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga […]