Amawulire

ababadde bakecula abakyala bakwatiddwa

Ali Mivule

November 26th, 2014

No comments

Poliisi mu disitulikiti ye  Bukwo eriko abakazi  3 b’ekutte nga bakomola abawala mu bitundu byabwe eby’ekyama ekintu ekikontana n’amateeka g’eggwanga. Aduumira poliisi mu kitundu kino Alfred Baluku akakasizza okukwatibwa kw’abasatu bano oluvanyuma lw’okutyem,ezebwako abalwanyisa obuzzi bw’emisango mu kitundu kino abaatendekebwa okubaguliza ku poliisi ku misango […]

Eyawamba abaana atuyaana

Ali Mivule

November 26th, 2014

No comments

Omukazi avunaanibwa okuwamba abaana b’eyali muganzi we asabye kkooti emuwewulire ku kibonerezo ky’egenda okumusalira. Jamilah Nabatanzi  ow’emyaka 21 y’alajanidde omulamuzi wa kkooti ya Mwanga  Morris Ezra Obura oluvanyuma lw’okukkiriza omusango guno. Oludda oluwaabi lurumiriza nga  Nabatanzi  bweyawamba abaana 3 nga 17 November omwaka guno okuva […]

Omusajja asse mukyala we

Ali Mivule

November 26th, 2014

No comments

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo  Nabaiza  e Kyengera oluvanyuma lw’omusajja okugwa mukyaalawe mu bulago n’amutuga n’agezaako n’okutta omwana waabwe atemera mu myezi nga 2 naye gw’abadde ayimbyemu akagwa. Kabongo nga mukongo y’atuze mukyala we oluvanyuma lwa landiloodi okubalagira okwamuka ennyumba ye mu kiro ekikeesezza olwaleero […]

Ttiyagaasi ku ssaawa ya kwiini

Ali Mivule

November 26th, 2014

No comments

Poliisi ekubye omukka ogubalala mu bagoba ba taxi ababadde baggye emmotoka zaabwe okuva mu paaka ya USAFI okuzizza ku siteegi ya Kisansa. Abakoseddwa bebakwata olw’eMuyenga ne Kabalagala abakedde okuggya emmotoka zaabwe mu USAFI nga bekwaasa  balabidde ku banaabwe abe Gaba nabo abazzeeyo mu paaka yaabwe […]

Poliisi etabuse ku bakozi,

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Poliisi egenda kutandika okwetegereza kkampuni zonna ezigaba abakozi b’awaka Bino biddiridde akatambi k’omukozi we waka eyalabiddwaako ng’atulugunya omwana n’atuuka n’okumutambulira ku mugongo Jolly Tumuhirwe eyasoose okukaka omwana okulya yamukasuse wansi olwo n’atandika okumukubisa tooki nga tannamuwalampa ku mugongo kumulinnyako, ekikola ekyalese buli omu ng’asanyaladde. Akulira […]

bano hockey bamuzannye bali buswa

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Kati bw’oba olowooza nti abatalina nsonyi baweddeyo, ate n’owulira bino. Mu kitundu kya Nottingham mu Bungereza, tiimu nnamba ey’omuzannyo gwa Hockey eyingidde mu kisaawe ng’ri bukunya Eno era ekwataganye n’endala nga nayo eri buswa Bano basoose kwekubisa bifananyi era nebasimbula nga teri yadde eyebwaalabwaala. Abavubuka […]

Enseneene zaaze

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Bannakampala ennaku zino ekibali ku mumwa nseneene Zeyongedde obungi nga kati mu katale ke Nakasero ekikopo ekitali kikongole kigula wakati we 2000ne 2500  ate nga ekikongole kiri wakati wa 6000 na 8000. Ate yyo mu Owino ekikopo ekitali kikongole kya 1000 nga enkongole kiri wakati […]

Museveni yepenye abavuganya ne bannakyeewa

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Pulezidenti Museveni yepenye okukubaganya ebirowoozo ku kawefube w’okusaba nti okulonda kube kwa mazima na bwenkanya Teri era mukulu yenna kuva mu gavumenti yeetabye ku mukolo guno yadde nga pulezidenti yakakasizza nti y’ajja okuggulawo. Munnawulire wa pulezidenti Museveni Tamale Mirundi agamba nti mukama we abadde n’eby’okukola […]

Teri kutunda nyanja- bannabutonde baboggodde

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Enteekateeka za gavumenti okutundako ekitundu kye Nyanja Nalubaale eri bamusiga nsigo zijjeemu bannakyeewa omwaasi. Minisita omubeezi akola ku by’obuvubi, Ruth Nankabiriwa yakakasizza nti bamalirizza enteekateeka z’okutundako enyanja okuleeta ensimbi mu ggwanika ly’eggwanga Nankabirwa agamba nti omugagga yenna anatwala enyanja wakuyiiya by’ayinza okukolerako omuli okulimira mu […]

Eby’eggaali birimu kigoye

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Bannayuganda bandikwata emisolo egiwera okuwa kkampuni egenda okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka Bino byogeddwa ababaka okubadde Theodore Ssekikuubo, Wilfred Niwagaba, Abdu Katuntu ne Barnabas Tinkasimire nga balabiseeko mu kakiiko akanonyereza ku mivuyo egyetobese mu kuzimba oluguudo luno. Ababaka bano bagamba nti engeri kkampuni y’aba China gyeyawebwaamu […]