Amawulire

Ensawo ya Buganda tewera

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti amakubo Buganda mw’ejja ensimbi gakyali mafunda. Katikkiro okwongera bino abadde mu lukiiko lwa Buganda oluyisiza embalirira y’omwaka gwa 2014/15 ng’eno ya buwumbi 7. Wabula Katikiro agambye nti kwenyamiza okulaba nga Buganda eyakamala emyaka egyisoba mu 1000, terina […]

Sukaali adibye

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Sukaali abalirirwamu ttaani  50,000  nga abadde alina kutundibwa mu ggwanga lya Kenya akyafa tulo lwa miziziko gy’ebyobusuubuzi mu ggwanga eryo. Omu ku basuubuzi basukaali ono okuva mu kkolero lya Madhvani Jim Kabeho agamba sukaali akyabadibiridde abalirirwamu obukadde bwa ddoola 3 bulambirira. Kabeho agamba bannakenya bataddewo […]

Akawuka ka siriimu kanafuwa bunafuyi

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Okunonyereza okukoleddwa kwolese nti akawuka ka mukenenya bwekabaako eddagala kalina engeri gyekanafunawa ekivaako abantu okulowooza nti baba bawonye naye nga ssi bweguba Kino kiddiridde omwana eyalangirirwa okubeera nti awonye siriimu ate okuddamu okumukebera nebasanga akawuka mu musaayi Abanonyereza ku mukenenya bagamba nti kino kirumya omutwe […]

Dembe egabudde ba maama

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Kati nga tusemberera olunaku lwa Eid, abantu abasinga tebagyesunga olw’embeera yaabwe ey’obulamu eteyagaza. Bangi baafuuka balunumma nga era tebalina ssuubi. Mu kino 90.4 Dembe Fm , abakozi b’engato aba BATA wamu ne Hotel Africana basazeewo okuddukirira ba maama n’okusingira ddala abasulirira okuzaala n’ebintu ebikozesebwa mu […]

Uganda eyongedde okwerinda Ebola

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Minisitule y’ebyobulamu eyongedde okunyweeza ensalo za Uganda ne Congo okutangira obulwadde bwa Ebola okutuuka mu Uganda Atwala ebyobulamu mu bitundu bya wansi mu minisitule y’ebyobulamu, Dr. Anthony Mbonye agamba nti era bamaze okulagira abakulira amalwaliro agali ku nsalo ya Uganda ne Congo okubategeeza amangu ddala […]

Omulamuzi alambudde amaka omwafiira omusajja eyatomerwa

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Omulamuzi awulira omusango gw’ettemu oguvunaanibwa  omukyala eyatomera bba n’amutta olwaleero atuuseeko mu maka awali akabenje kano mu maka g’omugenzi e Bugoloobi Omulamuzi Duncan Gaswaga  ng’ali wamu n’abakozi mu kkooti, omwogezi w’amakomera Frank Baine nebannamateeka z’omukyala ono kko n’ab’oludda lw’omusajja abadde agenze kulaba engeria kabenje gyekaliiwo […]

Okuziika abantu mu kirindi- Okunonyereza kutandise

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Poliisi e Kasese etandise okunonyereza ku balumbaganyi abaziikibwa ekirindi oluvanyuma lw’okuttibwa bwebaali balumbye abantu mu kitundu kya Rwenzori. Gyebuvuddeko amaggye gaakakasa ng’abantu abasoba mu 60 bwebaazikibwa ekirindi oluvanyuma lw’ab’enganda zaabwe okulemerewa okuddukira emirambo gyabwe. Omuduumizi wa poliisi mu bugwanjuba bw’eggwanga Thomas Kasimo agamba ssabapoliisi w’eggwanga […]

Abe Makerere bazzeemu okwekalakaasa

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Abayizi b’ettendekero ly’e Makerere bakwanze amyuka Kyansala w’ettendekero ly’eMakerere ekiwandiiko namutayiika nga bawakanya eky’okwongeza ensimbi z’abayizi abapya n’ebitundu 10%. Abayizi bano nga bakulembeddwa abakulira Ivan Bwowe  ekiwandiiko bakumukwanze nga awerekeddwako omubalirizi w’ebitabo mu yunivasite eno. Kati olukiiko olufuga ettendekero lino lusuubirwa okutunula mu kwemulugunya kw’abayizi […]

KCCA teyasasula za bulango- KCCA

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Kampuni y’ebyamawulire gaggadde eya Monitor Publications ekubye mu mbuga z’amateeka ekitongole kya  Kampala capital city authority lwabutasasula nsimbi zabirango byekyayisa mu lupapula lwa Daily Monitor. Monitor eyagala obukadde  660 lwabirango ebyaali eby’empapula 120 ebyayisibwa mu lupapula luno nga 22 March 2013. Nga bayita mu bannamateeka […]

Abaana bakubiddwa laddu

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Abaana 20 bakubiddwa laddu ku ssomero lya Forest high school day and boarding school Essomero lino Lisangibwa Kalwana e Mubende Abaana bano laddu okubakuba ebasanze mu kibiina nga basoma Laddu eno ejjidde mu nkuba eyamaanyi etonnye mu kitundu kino era nga abaana bano baddusiddwa mu […]