Ebyobulamu

Ensimbi mu byobulamu ntono- Bannakyeewa

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

Ebibiina by’obwannakyeewa byagaala gavumenti ensimbi z’ennajja mu mafuta zissibwe mu byobulamu Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku byobulamu , omukungu okuva mu kibiina kya bannakyeewa ekikola ku by’embalirira, David Walakira agambye nti eby’obulamu biri mu nyanga era nga byetaaga okutereeza okulaba nti abantu bongera […]

Kizaala ggumba abulamu

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

Gavumenti yeeyamye okwongera ensimbi mu kutuusa enkola za kizaala ggumba ku bantu. Ekigendererwa kulaba nti abakyala n’abaami bongera okuganyulwa. Kamisona akwataganya minisitule y’ebyobulamu n’abantu ba bulijjo Dr. Anthony Mbonye anyonyodde nti kino kijja kuyamba nnyo okukendeeza ne ku muwendo gw’abakyala abafiira mu sanya kko n’obwaavu […]

Abaana bakugemebwa kokoolo

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

Minisitule y’ebyobulamu mu ggwanga ekakasizza nti omwaka ogujja, yakugema abaana bonna abawala kokoolo wa Nabaana. Abawala abatunuuliddwa beebemyaka ekkumi . Atwala ekiwayi ekikola ku ndwadde ezitasiigibwa mu minisitule eno, Gerald Mutungi agambye nti baafunye ensimbi okuva mu GAVI okuyambako okugema abaana abawala. Ekigendererwa kyakukendeeza mikisa […]

Ttiya gaasi anyoose e Makerere

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu bayizi b’e Makerere okubagumbula omuvanyuma lw’okutanula okukola effujjo nga bekalakaasa. Bano bawakanya eky’abakulira ettendekero lino okwongeza ebisale by’abayizi abapya n’ebitundu 10%. Abayizi bavudde mu mbeera oluvanyuma lw’okulinda ssenkagale wa poliisi Gen Kale Kayihura nga tatuuka olwo nebaagala okulumba palamenti gyebaba […]

Abe Makerere bazzeemu okwekalakaasa

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

Abayizi b’emakerere balumbye ekizimbe ewatuula  abamu ku batwala ettendekero lino ekya Senate nebakyankalanya olukiiko lw’abakulira ettendekero lino ababadde bakuuta amabaluwa g’abayizi abapya nga fiizi zongezeddwa n’ebitundu 10%. Wowulirira bino nga ebikumi n’ebikumi by’abayizi bano bagumbye ku kibangirizi kya Freedom Square nga balaalise okweteeka mu ddene okutuuka […]

Omulambo gwa Keron, mutabani wa Juliana Gutuuse

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

  Omulambo gwa mutabani w’omuyimbi Juliana Kanyomozi gutuuse ku kisaawe Entebbe nga gujjidde ku nyonyi ya Kenya Airways. Gutuukidde Bukoto gyegugenda okukolebwaako ate gwolekera E Bbunga enkya. Balaam Barugahare abaddewo okukwasibwa omulambo guno ate nga yye maama w’omwana Juliana Kanyomozi amaziga gamuyiseemu nga yakatuuka ku […]

Abbye ekiteeteeyi bimukalidde ku matama

Ali Mivule

July 22nd, 2014

No comments

Mu ggwanga lya America, omukyala abadde yeemolera mu kateteyi akabbe essanyu lye teriwangadde poliisi bw’emuyodde Danielle Saxton, 27 akagoye kano akabbye mu dduuka ly’engoye okumpi n’ekibuga mw’abeera ekya Illinois Nga wakayita essaawa ntono, omukyala ono yekubisizza ebifananyi mu kateeteeyi kano n’abissa ku mukutu gwa Fecebook […]

Rodriquez agenze mu Real Madrid

Ali Mivule

July 22nd, 2014

No comments

Wetwogerera nga James Rodriguez amaze okwegatta ku tiimu ya Real-Madrid Ono avudde mu bafaransa aba Monaco. Ono endagaano gy’assizzaako emikono ya myaka mukaaga Ono agenda kusasulwanga obukadde bwa Euro 80 nga ye muzannyo w’okuna okusasulwa obulungi mu nsi yonna okuva ku Gareth Bale Roanldo ne […]

Omukyala eyatta bba akaabidde mu kkooti- saagenderera

Ali Mivule

July 22nd, 2014

No comments

Omukyala eyatta bba Jacqueline Uwera Nsenga,olwaleero yewozezzaako ku misango gino. Ategeezezza omulamuzi Duncan Gaswaaga nti kituufu yatta bba Juvenile Nsenga kyokka nga yakikola mu butanwa Omukyala ono alabise nga taliimu kutya kwonna agambye nti yafumbirwa omugenzi mu mwaka gwa 1994 era nga balina abaana babiri […]

Katikkiro agenda Japadhola ku ttofaali

Ali Mivule

July 22nd, 2014

No comments

Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga asabye obukulembeze bw’ennono obutali bumu okukwatagana mu kulaba nti bukulalukanya abantu ate n’okubakuuma nga bali bumu. Katikkiro bino abyogedde asisinkanye abakulembeze okuba mu Japadhola okuva e Tororo nga bakulembedddwaamu katikkiro waabwe Jeresol Okecho. Mayiga agamba nti abakulembeze b’ennono […]