Amawulire

KKampuni z’ennyonyi endala ziyimiriziddwa

Ali Mivule

July 30th, 2014

No comments

Ekitongole ekikola ku by’ennyonyi ekya Civil aviation authority kyongedde okuyimiriza kkampuni endala ezisabaaza abantu Obuzibu era buvudde ku butatuukagana na mutindo nga bwegwaali ne Air Uganda. Amyuka akulira ekitongole kino David Mpango agamba nti kkampuni zino zikugiddwa okuddamu okusabaaza abantu okusukka Uganda kubanga tezituugana na […]

Okunywa omwenge mu bakuliridde kutta obwongo

Ali Mivule

July 30th, 2014

No comments

Okunywa omwenge mu bantu abatandise okukulirira kutta obwongo bw’omuntu n’afuna ekizibu ky’okwerabirarabira Okunonyereza okukoleddwa mu America ku bakyala n’abaami ab’emyaka 50 ne 60 kulaga nti abo abanywa omwenge babadde batandise okwerabirarabira Abanonyereza bano bagamba ntie kyamangu kirina okukolebwa okutaasa abantu abagwa mu kkowe lino kubanga […]

Okulya ebibala n’ebivavava kiwangaaza

Ali Mivule

July 30th, 2014

No comments

Okunonyereza okuggya okukoleddwa kulaga nti ssinga omuntu alya ebibabala n’ebivavava okumala ennaku ttaano ez’omuddiringanwa, kimuyamba okwekuuma nga mulamu n’obutagejja nnyo kyokka nga ssinga omuntu alya nnyo tekikola nga bwekirina kuba Okunonyereza kuno kukoleddwa mu mawanga agatali gamu 16 kulaga nti endya bw’eti ekendeeza obulabe bw’omuntu […]

Eteeka ku kondomu mu loogi lijje

Ali Mivule

July 30th, 2014

No comments

Ab’obuyinza e Masaka bagaala tteeka erinaakola ku bannanyini ma loogi abatalina bupiira bugalimpitawa Bandowooza nti loogi zino zandibadde zisasula engassi ya mitwalo kkumi nga kw’otadde n’okusibwa Amyuka SSentebe wa disitulikiti ye Masaka,Jamil Miwanda agamba nti kino kyekyokka ekiggya okuyamba okukendeeza ku siriimu atambula nga ttabu […]

Okunyiiga kulwaaza

Ali Mivule

July 30th, 2014

No comments

Obadde okimanyi nti okunyiganyiiga bulwadde. Omusawo  w’emitwe mu ddwaliro ekkulu e Mulago, Dr Samuel Mugamba agamba nti abantu abanyiiga amangu babeera n’obuzibu mu mbeera zaabwe era kibakoseza ddala. Dr Mugamba agamba nti omuntu okunyiiga kimuviirako okusiba emisuwa , okulumwa omutwe n’omutima okukuba ennyo eky’obulabe ennyo […]

Temuvunaana bayamba bali mu buzibu- Redcross

Ali Mivule

July 30th, 2014

No comments

Ekibiina ekiddukirize ekya Uganda Red Cross Society kyagaala palamenti ereete etteeka eriwa abantu ebbeetu okuyamba abo ababa bakoseddwa mu bubenje Mu kadde kano, abantu beesamba okuyamba banaabwe beebasanga mu buzibu olw’ensonga nti gwebasangawo atera okukwatibwa okuwa obujuliz Aba Redcross bagamba nti kino kigaana abantu bangi […]

Eddagala erigema omusujja gw’ensiri lijja

Ali Mivule

July 30th, 2014

No comments

Abakugu okuva mu nsi yonna abanonyereza ku ddagala erigema omusujja gw’ensiri basemberedde okutuuka ku buwanguzi nga bagamba nti omwaka 2015 wegunaatukira, eddagala lino lyandiba nga litandise okukozesebwa Bano bagamba nti byebakagezesaako biraga nti ku buli baana 1000 beebawa eddagala erigema omusujja guno, 800 ku bbo […]

Embuutu zivuga e Mawogola

Ali Mivule

July 30th, 2014

No comments

Embuutu z’ezivuga mu ssaza lya ssabasajja e Mawogola nga abaayo basuubira omutanda essaawa yonna. Ssabasajja yasiima okukuliza amatikira ge ag’omulundi 21 mu ssaza lye lino nga era abaayo baasimbye dda ebiyitirirwa okumwaniriza mu ssanyu. Beene asuubirwa okulambula emirimu egyenjawulo mu ssembabule mu magombolola 5 mu […]

Sembabula awuumye ngabetekegera omutanda

Ali Mivule

July 29th, 2014

No comments

Embutu n’emiriza bibutikidde essasa lya Ssabasajja erye Mawogola wakati mu kwetegekera okukyala kwa Ssabasajja mu ssaza lino. Ssabasajja yasiima okukuza amatikira ge ag’omulundi  ogwa 21 mu ssaza lye Mawogola nga 31 omwezi guno era n’essira litekeddwa ku kutumbula ebyobulamu mu ssaza lino. Ssabasajja asubirwa okuyingira […]

Bukenya awakanyiza ebyokuwebwa akasiimo

Ali Mivule

July 29th, 2014

No comments

Ababaka ba paliyamenti abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga z’abakozi ba gavumenti, batabukidde abakungu okuva mu minisitule ekola kunsonga z’abakozi  era nebabalagira okuzaayo ekiwandiiko kyebabadde bareese, ng’entabwe evudde kumivuyo degyisangiddwa mu mirimu gyabwe. Ababaka bano bakulembeddwamu omubaka Florence Kintu ne Betty Nambooze. Ekisinze okutabula ababaka […]