Amawulire

Obulwadde obugambibwa okubeera Ebola busse owa Boda

Ali Mivule

July 31st, 2014

No comments

Ekirwadde  ekyefananyiriza  ekya Ebola kisse omuvuzi wa bodaboda mu ddwaliro ly’e Kitgum ennaku 2 nga y’akaweebwa ekitanda  mu ddwaliro lino. Akulira okulondoola endwadde ez’enjawulo mu minisitule y’ebyobulamu , Dr. Issa Makumbi akakasizza okufa kw’omuntu ono wabula n’ategeeza nga bwebakyagenda maaso n’okwekebejja omusaayi gw’omugenzi okwongera okuzuula […]

Muna-uganda akayiseeko

Ali Mivule

July 30th, 2014

No comments

  Okuvaako mu kibuga Glasgow ekya Scotaldn mu mpaka za Common wealth, Winnie Nanyondo ayiseewo okutuuka ku ziddirira ezakamalirizo mu misinde gye Mita 800 Nanyondo akutte kyakubiri mu misinde gino ate nga mugy’abasajja  Ronald Musagala nate ayiseewo. Mu mizannyo gino, Australia y’ekyakulembedde n’emidaali 106

Okwemulugunya ku teeka lye’bisiyaga kutandisse okuwulirwa mu kooti

Ali Mivule

July 30th, 2014

No comments

  Okuwulira omusango gw’ebisiyaga ogwawaabwa bannakyeewa nga beemulugunya ku tteeka eryayisibwa eriwera ebisiyaga kutandise olwaleero mu kkooti etaputa ssemateeka . Bannamateeka abatali bamu nga abakulembeddwaamu Ladislus Rwakafuzi ne Caleb Alaka basabye kkooti okusazaamu etteeka lino kubanga lyayisibwa ababaka ba lubatu . Bano bagamba nti ensonga […]

Ono laavu emulumye n’eyitawo

Ali Mivule

July 30th, 2014

No comments

Abantu bangi bagamba nti ekigambo laavu tekikyalina makulu naye nga baaba abakitegeera bakyaliyo Mu Kibuga London, omusajja atambudde mailo omutwalo mulamba okutuuka ku muwala we gw’abadde ayagala okuwa ekimuli ku mazaalibwa ge Jack Harries atambudde okumala essaawa 28 okusisinkana muganzi we ow’emyaka 19 Omusajja ono […]

Ssabasajja kabaka Mutaka e Mawogola

Ali Mivule

July 30th, 2014

No comments

Ssabasajja kabaka mutaka mu ssaza lye erye Mawogola ng’abaayo essaanyu ly’okulaba ku mutanda libula okubatta Ali wamu ne kamalabyonna Charles Peter Mayiga kko n’abakulu abatali bamu. Omutanda alambudde ebifo ebitali bimu omubadde ne musajja we Fred Joram Mwebaza ayise mu bulimi n’obulunzi okukulakulana Eno katikkiro […]

Ekikere kimize empeta

Ali Mivule

July 30th, 2014

No comments

Ekikere ekimize empeta y’omukyala w’awaka kimalidde wa musawo Omukyala ono abadde akomyeewo ewaka yeeyambudde empeta n’agissa ku meeza era kuno ekikere kwekibadde kitudde Omusajja nanyini kikere kino agambye nti abadde n’ekikere kino kati myaka 10 kyokka nga kibadde tekikola nga ko kikolwa kino. Ekikere kino […]

Ebyokwerinda kasiggu ng’eyasomola ebyaama awoza

Ali Mivule

July 30th, 2014

No comments

Okuwozesa ofiisa wa poliisi eyapasula ebyaama ebyayoleka ssenkaggale wa poliisi kale Kaihura ng’asalira ssabaminista Amama Mbabazi olukwe kugenze mu maaso wakati mu by’okwerinda kasiggu Yadde nga kkooti eyabulijjo, enziji zonna zibaddeko abakuumi abali mu byambalo n’abatalina Kino kirese abantu bangi nga bali mu nkuubo ate […]

Amasimu g’ebicupuli okujjako tulinda tteeka

Ali Mivule

July 30th, 2014

No comments

Akakiiko akakola ku by’empuliziganya mu ggwanga kagaala lukusa olujjako amasimu gonna agebicupuli. Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku bya tekinologiya, omukulu okuva mu kakiiko kano Patrick Mwesigwa agambye nti tebasobola kujjako masimu gano nga tebalina tteeka mwebakolera Ono abadde ayanukula ababaka ba palamenti abeemulugunyizza […]

Omulambo guzuuse

Ali Mivule

July 30th, 2014

No comments

Omulambo gw’omuwala eyabbira ku biyiriro bye Itanda kyaddaaki guzuuliddwa Joan Uwimana Twizere munnamawulire era nga yeeyali ayogerera eddwaliro lye Mulago. Twizere yabbira ku lunaku lwa Ssande bwebaali beekubisa ebifananyi nebakwano be bwebaali bagenze okulambula Omu ku bakwano be Gertrude Tumusiime agamba nti omulambo guno guzuuliddwa […]

Twasasula abatuufu- gavumenti ku ba leerwe

Ali Mivule

July 30th, 2014

No comments

Gavumenti enyonyodde ku bantu abazze basengula okuva ku kkubo ly’eggaali y’omukka. Ekiwandiiko ekibaddeko omukono gwa minisita w’ebyobukuumi,Muruuli Mukasa kiraze nti abantu abawerera ddala 225 beebabadde baliyiririddwa oluvanyuma lw’okulabamu baani abatuufu Minisita wabula agambye nti oluvanyuma abantu bayongera okusenga ku luguudo luno nga balabye abalala basasuddwa […]