Olwali

Omupoliisi atabukidde ow’emmotoka

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

Abakulu mu poliisi ya China basabiddwa obutagoba mupoliisi eyalabiddwaako mu bifananyi nga yeeyambudde essaati okulwanagana n’omugoba w’emmotoka. Jiang Hu akwatiddwa ku lutambi nga yeezoba n’omusajja gweyawadde tikiti ya paakingi kyokka n’agaana okusasula Mu mbeera ng’eno wandisuubidde abantu okunyiiga kyokka ng’abantu bano kati basaba nti omupoliisi […]

Ow’obugaali abivuddemu

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

Omuvuzi w’obugaali omukyala Wendy Huvenahel alangiridde nga bw’avudde mu mpaka za Common wealth eziggyiddwaako akawuuwo olunaku lwaleero Wendy ow’emyaka 39 yawanagula silver mu Beijing china mu mwaka gwa 2008 kyokka nga mu kadde kano yafuna obuvune ku mugongo. Omukyala ono era yawangulako Gold mu mpaka […]

Obululu bw’emipiira gy’ebika

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

Obululu bwempaka zebika bya’Baganda ezwomwaka guno bukwatidwa olunaku lwa’leero e’Nakivubo. Mamba Gabunga wamu nebazukulu bamutesasira ebe’Ngo bebagenda okuggulawo ezomwaka guno mukisaawe e’Nakivubo. Ebika 41 byebikakasizza okwetaba mumpaka zomwaka guno era akakiiko akategesi kalindiride olunaku wakati wa 16th ne 23rd omwezi ogujja Beene bwanasiima okuggulawo emipiira […]

Omubaka wa palamenti attiddwa

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

Mu ggwanga lya Somalia Maziga nga waliwo omuyimbi nakinku era omubaka wa palamenti akubiddwa amasasi agamuttiddewo. Saado Ali Warsame attiddwa abakwatammundu abayise mu kibuga ekikulu Mogadishu nga bawandagaza amasasi. Tekinnakakasibwa ani akoze obulumbaganyi buno kyokka ng’aba kabinja ka Alshabab beebazze batta abayimbi ne bannabyabufuzi

Nsenga talina byabugagga byeyaleka-Kooti ewunikiridde

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

Omusirikale eyakulemberamu okunonyereza ku mukyala eyatomera bba n’amutta yejjerezza omukyala ono omusango. Godfrey Musana agamba nti omukyala ono teyalina kigendererwa kitta bba era ng’emmotoka yamuwabakon’atomera geeti n’omusajja we Mu kkooti eno olwaleero kitegerekese nti omugenzi Juvenile Nsenga teyalina byabugagga biri awo okujjako enju mwebaali basula […]

Kagina ennyuse ekitongole ekiwooza

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

Akulira ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority alangiridde nti akoma okuwereeza ekitongole kino mu mwezi gw’ekkumi. Allen Kagina agamba nti tayagala kugenda mu maaso na kuwereeza kitongole kino yadde nga tayogedde oba alagawa. Omukulu ono bino abyogedde asisinkanye bakulu banne mu kakiiko ka palamenti akakola […]

Abaziikibwa mu kirindi bakebejjebwa nkya

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

Abasawo abakugu mu kwekebejja emirambo okuva mu ddwaliro e Mulago basuubirwa e Bundibuggyo olunaku lw’enkya okwekebejja emirambo egiri mu ntaano y’ekirindi Kiddiridde abatuuze okugwa ku ntaano ezaazikibwaamu abantu ekirindi za mirundi esatu nga zino zirimu abantu abali wakati we 10 ne 15 Ebikwata ku bantu […]

Bunkenke e Hoima

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

Bukyaali bunkenke e Hoima oluvanyuma lw’obukubagano obwabadde mu kitundu kino olunaku lwajjo Poliisi ekyayiiriddwa ku kyaalo Lenju ng’eno enyumba eziwerera ddala mu 20 zatekeddwa omuliro ng’abalimi balwanagana n’abalunzi mu kitundu kino. Abalunzi aba Bahuma n’abalimi aba Alur nga balwanira ttaka ng’abaimi bagamba nti ente zirya […]

Ettendekero lye Makerere ssiryakwongeza bisale

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

Ettendekero ekkulu erye Makerere lipondose neriyimiriza eby’okwongeza ebisale by’abayizi. Bino bituukiddwaako mu Lukiiko lwa mangu okutuuziddwa amyuka ssenkulu Professor Dumba Ssentamu,aduumira poliisi, gen Kale Kaihura atwala ebyenjigiriza Dr. Mohammed Kiggundu n’akulira abayizi Ivan Bwowe. Olukiiko olulala lwakutuula ku lunaku lw’okutaano okwongera okukubaganya ebirowoozo ku nsonga […]

Temwooza nkoko- basawo

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

Obadde okimanyi nti okwooza enkoko ngogenda okugifumba kyabulabe. Abantu balina ensonga za njawulo ezibakozesa kino ng’abamu bakikola kuyonja nkolo eno, abalala kujjako buwuka ate abalala bakikola kubanga bakula bakiraba Abasawo abakugu mu by’emmere wansi w’ekibiina kya FSA bagamba nti enkoko zibaako obuwuka nga busobola okusigala […]