Amawulire

Katikkiro agenda Japadhola ku ttofaali

Ali Mivule

July 22nd, 2014

No comments

Katikkiro listens

Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga asabye obukulembeze bw’ennono obutali bumu okukwatagana mu kulaba nti bukulalukanya abantu ate n’okubakuuma nga bali bumu.

Katikkiro bino abyogedde asisinkanye abakulembeze okuba mu Japadhola okuva e Tororo nga bakulembedddwaamu katikkiro waabwe Jeresol Okecho.

Mayiga agamba nti abakulembeze b’ennono balina omulimu gwa maanyi okukuuma ennono zaabwe ate nga bwebakulakulanya abantu.

Katikkiro Mayiga kati y’alindiriddwa okukyaalira abajapadhola nga 7 omwezi ogujja okusolooza ettofaali