Amawulire

Omulamuzi alambudde amaka omwafiira omusajja eyatomerwa

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

NSenga wife today

Omulamuzi awulira omusango gw’ettemu oguvunaanibwa  omukyala eyatomera bba n’amutta olwaleero atuuseeko mu maka awali akabenje kano mu maka g’omugenzi e Bugoloobi

Omulamuzi Duncan Gaswaga  ng’ali wamu n’abakozi mu kkooti, omwogezi w’amakomera Frank Baine nebannamateeka z’omukyala ono kko n’ab’oludda lw’omusajja abadde agenze kulaba engeria kabenje gyekaliiwo

Ofiisi eyakola ku musnago guno John Bosco Munaku ategeezezza omulamuzi nti omulambop gwa Nsenga gwasangibwa metres 10 okuva ku geeti ate ng’emotoka yali ku mita 12

Kino kitegeeza nti emotoka yayita ku mugenzi

Uwera Nsenga kigambibwa okuba nga yakoona bba mu bugenderevu n’amutta oluvanyuma lw’okufuna obutakkaanya kyokka nga yye agamba nti yakikola mu butanwa

Omukyala ono enkya lw’agenda okwewozaako mu musango guno.