Amawulire

Ensawo ya Buganda tewera

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Katikkiro t monitor

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti amakubo Buganda mw’ejja ensimbi gakyali mafunda.

Katikkiro okwongera bino abadde mu lukiiko lwa Buganda oluyisiza embalirira y’omwaka gwa 2014/15 ng’eno ya buwumbi 7.

Wabula Katikiro agambye nti kwenyamiza okulaba nga Buganda eyakamala emyaka egyisoba mu 1000, terina makubo galeeta nsimbi gamala songa yetaaga okukola emirimu mingi omuli okulwanyisa obwavu, okusimba amasomero wamu n’okutumbula embeera z’abantu.

Mu ngeri ye Katikkiro alaze obwenyamivu olwokusika omuguwa okuli mu bika ebyenjawulo mu bwakabaka.

Kamalabyona agambye nti abakulu b’ebika balina okukozesa kooti ya kisekwa okumalawo endoliro zino.