Emizannyo

Empaka z’amasomero

Ali Mivule

May 6th, 2013

No comments

Empaka zomupiira ogwebigere azamasomero ga siniya eza copa cocacola  zgyidwaako akawuuwo olwaaleero wali e kabala. Amasomero 57 gaamaze dda okutuuka ku somero lya kigezi high school nga omukolo omutongole oguzigulawo gwasaawa munaana ezemisana.   Okusinziira ku mukwanaganya wempaka zino Kennedy Mutenyo ,amasomero gano bwegaatuukiriza ebisaanyizo . Empaka […]

Abavubi battiddwa

Ali Mivule

May 6th, 2013

No comments

Poliisi e Rakai etandise okunonyereza ku bavubi babiri abattiddwa mu kiro ekikesezza olunaku lwaleero. Ronald Sseremba ne William SSebagayi nga bano batuuze be Kasensero basangiddwa nga battiddwa ng’emirambo gyaabwe giseseeyeza ku mazzi. Akulira ekakiiko akatwala enyanja eno, John Kayomba agambye nti bano kirabika balumbiddwa nga […]

Amataba tegannasalako

Ali Mivule

May 6th, 2013

No comments

Abantu abakunukkiriza mu mutwalo omulamba beebakoseddwa amataba mu bitundu bye Kasese. Minister akola ku bigwabitalaze, Musa Ecweru agamba nti bamaze okutuusa obuyambi ku bantu bano abassiddwa mu nkambi ku ssomero lya Kasese primary school. Bbyo ebimotoka biwetiiiye bimaze okutuuka ku ddwaliro lye Kilembe okulijjamu ettaka […]

Bukenya ajja

Ali Mivule

May 3rd, 2013

No comments

Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga POrof Gilbert Bukenya wakwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga.   Mu mboozi eya kafubo naffe ng’asinziira mu maka ge e Kakiri , Prof Bukenya agambye nti wakwesimbawo mu kibiina kye ekya NRM era nga ssinga ayitamu ate yeeyongerayo ku ntebe y’omukulembeze w’eggwanga.   […]

NRM egenda mu kooti

Ali Mivule

May 3rd, 2013

No comments

Ab’ekibiina kya NRM bagenda mu mbuga z’amateeka ku babaka abagobwa u kibiina   Bano balemeddeko nga bagaala ababaka bano bagobwe mu palamenti   Akulira akakiiko akalondesa mu NRM, Dr Ruhakana Rugunda agamba nti ebyasaliddwaawo spiika bimenya amateeka n’okuvvoola okusalawo kw’abantu Rugunda era agamba nti yeewunyizza […]

Goonya erina swagga

Ali Mivule

May 2nd, 2013

No comments

Nebisolo nabyo sebo byaagala ekibuga. Goonya etolose mu kuumiro lyebisolo netandika okutambula ku nguudo zomukkibuga nga bwekoona ku motoka ezibade zisimbye kumabali. Emotoka ezisinga zibaddemu alarm era obwedda bwezikaaba goonya nga ekyamuka anti obweda eraba kipya. Wabula esanyu lyaayo litutte akabanga katono akulira ebyokwerinda mu […]

Emmundu ezadde leenya

Ali Mivule

May 2nd, 2013

No comments

Omwana owemyaaka 5 akubye mwanyina owemyaka 2 amasasi agamutiddewo. Oyinza okwebuuza emundu eno yajijeewa, kyabadde kirabo gyamazaalibwa  okuva eri abazadde. Taata womwana yabadde amanyi aguze bino bibundu ebyokuzanyisa wabula nga mundu yaddala. Olwazze mu kisenge pmuto natandika okuzanya nemutowe nga bweyegezamu nga amukuba amasasi. Ebyavudemu […]

Ababaka baluyiseeko

Ali Mivule

May 2nd, 2013

No comments

Ababaka abagobwa mu kibiina kya NRM gyebuvuddeko baluyiseeko.   Spiika wa palamenti Omukyala Rebecca kadaga olwaleero ategeezezza ng’ababaka bano bwebatasobola kugwa mu palamenti nga NRM bw’ebadde eyagala.   Agambye nti tewali tteeka ligamba nti omubaka bw’agobwa mu kibiina aba alina n’okugobwa mu palamenti. Kadaga era […]

Munaana bafiridde mu mataba

Ali Mivule

May 2nd, 2013

No comments

Omuwendo gw’abantu abafiiridde mu mataba agalumbey ebe Kasese gutuuse ku munaana   Emirambo mukaaga gyegyakanyululwaayo ng’ebiri baginoonya   Abamaggye nabaddukirize aba Redcross beebali mu kuyambako okunyulula emirambo.   Bo aba Redcross  bataddew enkambi abantu abasoba mu 1500 abatalina webegeka luba webagenda okudda

Ssabassajja abakuutidde ku ttaka

Ali Mivule

May 2nd, 2013

No comments

Ssabassajja Kabaka aguddewo omwoleso gw’ettaka n’omulanga eri KCCA okutegaka obulungi ekibuga. Ssabassajja Kabaka era asabye n’ekitongole kya NEMA okufuba okukwatagana nabali mu byettaka okutegeka eibuga ate ng’abantu bakuumue obutonde Ssabassaja era ayagala ministry ekola ku byettaka okukolagana obulungi n’ekitongole kya Buganda eky’ettaka okulaba nti wabaawo […]