Amawulire

Abavubi battiddwa

Ali Mivule

May 6th, 2013

No comments

fishermen killed

Poliisi e Rakai etandise okunonyereza ku bavubi babiri abattiddwa mu kiro ekikesezza olunaku lwaleero.

Ronald Sseremba ne William SSebagayi nga bano batuuze be Kasensero basangiddwa nga battiddwa ng’emirambo gyaabwe giseseeyeza ku mazzi.

Akulira ekakiiko akatwala enyanja eno, John Kayomba agambye nti bano kirabika balumbiddwa nga badda ewaka.

Akulira poliisi enonyereza ku buzzi bw’emisnago mu district eno Rose Nabakooza agamba nti emirambo gino gisangiddwaako ebiwundu ku mutwe ne ku mugongo.