Amawulire

Abakukusa abantu babazudde- fayiro zaabwe ziwedde

Abakukusa abantu babazudde- fayiro zaabwe ziwedde

Ali Mivule

January 25th, 2016

No comments

Poliisi emaze okuwereza fayilo z’emisango z’abateberezebwa okukukusa abantu okubatwala mu ggwanga lya Saudi Arabia eri ssabawaabi wa gavumenti. Mukiseera kino poliisi enywezezza Halima Abdullah nanayini kampuni ya supreme security agency emu ku kampuni ezitwala abantu ebweru okukuba ekyeyo. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga […]

Omuzira gugoyezza aba NewYork

Omuzira gugoyezza aba NewYork

Ali Mivule

January 25th, 2016

No comments

Ekkoligo ly’obutayingira kibuga Newyork likomye nga abaayo bakyagenda mu maaso n’okusena omuzira ogwabisse ebitundu by’ekibuga ebisinga. Ekibuga New York nga kyekisinga okubeeramu abantu abangi kyabuutikiddwa omuzira ogukyaludde okulabikako okuva mu mwaka gwa 1869. Meeya w’ekibuga kino Bill de Blasio agamba abantu 28 bafudde olwobutiti nga […]

Abeesimbyeewo batuyaana

Abeesimbyeewo batuyaana

Ali Mivule

January 25th, 2016

No comments

Ng’ebula ennaku 24 zokka bannayuganda basuule akalulu okulonda abakulembeze abaggya, abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga bakyasaggula buli kasonda okugonza emyoyo gy’abalonzi. Akutte bendera ya FDC ku ntebe y’omukulembeze w’eggwanga Dr Kiiza Besigye yatandise dda okuwenja akalulu mu disitulikiti ye Gomba ng’ayimiridde mu bubuga bwe Mamba, Kifumba […]

Aba Bbomu bazzeemu

Aba Bbomu bazzeemu

Ali Mivule

January 25th, 2016

No comments

Bannamateka abali ku musango gw’abantu  13 abateberezebwa okutega bbomu ezatta abasoba mu 70 mu Kampala mu 2010 olwaleero lwebasubirwa okuwaayo okuwoza kwabwe okusembayo. Bannamateeka b’abavunaanwa nga bakulembeddwamu  Caleb Alaka  bebagenda okusooka okuwaayo ebyabwe olwo abagavumenti abagkulembeddwamu Susan Okalany baddeko. Ku bavunaanwa kuliko bannayuganda 5, bannakenya […]

Abagaala enkyukakyuka beyongedde

Abagaala enkyukakyuka beyongedde

Ali Mivule

January 20th, 2016

No comments

Omuwendo gw’abantu abagaala enkyukakyuka mu ggwanga gwongedde okulinnya okusinziira ku kunonyereza  okupya okukoleddwa. Kati bali ebitundu 46 ku kikumi nga beebakasinga obungi mu kunonyereza okuzze kukolebwa Abasinga okwagala enkyukakyuka kuliko abavubuka, abasomyeeko, abali mu bibuga  n’abasajja kyokka ng’abakyala , abataasoma, n’abali mu byaalo bebasinga okwagala […]

Kato Lubwama ne Lukyamuzi balabuddwa

Kato Lubwama ne Lukyamuzi balabuddwa

Ali Mivule

January 20th, 2016

No comments

Akakiiko akalondesa kalabudde abesimbyeewo okukiikirira abantu be Rubaga mu bukiikaddyo ku kukozesa olulimi oluvuma. Jon Ken Lukyamuzi ne Kato Lubwama baayitiddwa akakiiko akalondesa ku nsonga y’okwevuma. Ng’awayaamu naffe oluvanyuma lw’okuva mu Lukiiko luno, omubaka John Ken Lukyamuzi agambye nti yeeyawaaba mu kakiiko akalondesa ng’akooye Kato […]

Okuwozesa Ongwen kwakubeera ku TV

Okuwozesa Ongwen kwakubeera ku TV

Ali Mivule

January 20th, 2016

No comments

Okuwozesa eyali aduumira abayekeera ba LRA Dominic Ongwen kwakulagibwa butereevu ku ntimbe za TV mu byaalo ebyakosebwa olutalo lw’obukiikakkono bw’eggwanga. Omukulu mu kkooti y’ensi yonna okuva mu Kenya ne Uganda Maria Mabity Kamara agambye nti kino kyakukolebwa mu Kampala, Gulu ne Soroti naddala ku byaalo […]

Mbabazi yanukudde abakulembezza Museveni

Mbabazi yanukudde abakulembezza Museveni

Ali Mivule

January 20th, 2016

No comments

Munnakisinde kya G0-Forward Amama Mbabazi ategezezza nga eby’okunonyereza ani aleebya mu lwokaano lwa pulezidenti bwekutalaga birowoozo byabantu kale nga abantu tebasanye kukumalirako biseera. Nga ayogerako nebannamawulire ku Lake View Hotel e Masaka, Mbaabzi agambye nti Uganda ggwanga elikyakula kale nga tebasobola kwesigama ku kunonyereza kuno. […]

Museveni akyaleebya abavuganya

Museveni akyaleebya abavuganya

Ali Mivule

January 20th, 2016

No comments

Okunonyereza okuggya kulaze nga obuwagizi bwa pulezidenti Museveni bwebukendedde yadde nga akyakulembedde kati ali ku 51% Okusinziira ku bakola okunonyereza mu nsi yonna aba Research World munna FDC Dr Kiiza Besigye ali mu kyakubiri n’ebitundu  32% sso nga Mbabazi kati ali ku  12%. Dr Abed […]

Abayizi abalala batikkiddwa

Abayizi abalala batikkiddwa

Ali Mivule

January 20th, 2016

No comments

Abayizi abatikiddwa ku ttendekero ekkulu e Makerere basoomozeddwa okufuba okulaba nga batuukiriza ebirubirirwa byabwe . Ku lunaku olwokubiri olw’okutikira, ssenkulu w’ettendekero lino Dr Ezra Suruma ategezezza nga ensi kati bwejudde okuvuganya kale nga abatikiddwa basanye okwewala okutuukiriza ebinabayamba okwekulakulanya. Wabula ateegezezza nga bwekijja okusoboka singa […]