Amawulire

Abakukusa abantu babazudde- fayiro zaabwe ziwedde

Abakukusa abantu babazudde- fayiro zaabwe ziwedde

Ali Mivule

January 25th, 2016

No comments

File Photo: Abawala abakwakibwa nga bakukusibwa

File Photo: Abawala abakwakibwa nga bakukusibwa

Poliisi emaze okuwereza fayilo z’emisango z’abateberezebwa okukukusa abantu okubatwala mu ggwanga lya Saudi Arabia eri ssabawaabi wa gavumenti.

Mukiseera kino poliisi enywezezza Halima Abdullah nanayini kampuni ya supreme security agency emu ku kampuni ezitwala abantu ebweru okukuba ekyeyo.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga agamba ono akolera omuwarabu Mutab Pasha al Sumeri akabasanya abawala oluvanyuma n’abatunda eri abagala okubakozesa.

Enanga agamba okunonyereza kwebakakola bakizudde nti abawala bannayuganda 40 batwalibwa mu ggwanga lya Saudi Arabia nga era baazuddeyo ne paasipoota 100 oluvanyuma lw’okwaza ofiisi zaabwe.

Poliisi era ekyayigga abakozi ba kampuni eno ababadde bakukusa bannayuganda.