Amawulire

Abagaala enkyukakyuka beyongedde

Abagaala enkyukakyuka beyongedde

Ali Mivule

January 20th, 2016

No comments

File Photo: Mbabazi nga e Mbale

File Photo: Mbabazi nga e Mbale

Omuwendo gw’abantu abagaala enkyukakyuka mu ggwanga gwongedde okulinnya okusinziira ku kunonyereza  okupya okukoleddwa.

Kati bali ebitundu 46 ku kikumi nga beebakasinga obungi mu kunonyereza okuzze kukolebwa

Abasinga okwagala enkyukakyuka kuliko abavubuka, abasomyeeko, abali mu bibuga  n’abasajja kyokka ng’abakyala , abataasoma, n’abali mu byaalo bebasinga okwagala ebintu bisigale nga bwebiri.

Akulira ekibiina ekikoze okunonyereza ekya research world international Dr Patrick Wakida agamba nti ekibiina ekiri mu buyinza obuwagizi bwaakyo businga mu byaalo ate nga mu bibuga, ebintu bikyuuka buli lunaku

Okunonyereza kuno kuddiridde okwasooka okukolebwa ku gw’omunaana omwaka oguwedde ng’abesimbyeewo tebannaba kwewandisa.

Mu biseera ebyo, abantu ebitundu 55 ku kikumi baali bawagira pulezidenti Museveni nga kati basse okutuuka ku 51.

Aba Besigye mu gw’omunaana baali baweza ebitundu 17 ku kikumi kyokka nga kati batuuse ku 32 ku kikumi ate nga yye Mbabazi obuwagizi bwe bukendedde nga yadde luli yalina obuwagizi obuweza ebitundu 13 ku buli kikumi kati asse okutuuka ku bitundu 12

Kino kitegeeza nti obuwagizi bwa pulezidenti Museveni busse n’ebitundu 4 ku kikumi, Besigye yeyongedde obuwagizi bwa bitundu 15 ku kikumi ate Mbabazi abawagizi be bakendedde n’ekitundu kimu ku kikumi mu bbanga lya mwezi gumu.