Amawulire

Museveni akyaleebya abavuganya

Museveni akyaleebya abavuganya

Ali Mivule

January 20th, 2016

No comments

File Photo: Museveni ,Mbabazi ne Besigye

File Photo: Museveni ,Mbabazi ne Besigye

Okunonyereza okuggya kulaze nga obuwagizi bwa pulezidenti Museveni bwebukendedde yadde nga akyakulembedde kati ali ku 51%

Okusinziira ku bakola okunonyereza mu nsi yonna aba Research World munna FDC Dr Kiiza Besigye ali mu kyakubiri n’ebitundu  32% sso nga Mbabazi kati ali ku  12%.

Dr Abed Bwanika ne  Gen Benon Biraaro bebaddako n’ekitundu 1% .

Okunonyereza kuno kwakoleddwa wakati w’ennaku z’omwezi 15th Dec- ne  5th January mu disitulikiti  89 naddala ez’omukyalo.

Bano baayogedde n’abalonzi abewandiisa 2,685 nga era  51% bakyala sso nga 41 % baami.

Okusinga bamufuna mpola bebakozeeko okunonyereza kuno nga era 49% baagala nkyukakyuka mu bukulembeze sso nga 46 tebagyetaaga.

Akulira ekibiina kya Research World international Patrick Wakida ategezezza nga absinga bwebatekakasa ku nsonga y’okuwaayo obuyinza mu mirembe.

Wabula ye amyuka omwogezi wa NRM Ofwono Oponso ayambalidde abaakoze okunonyereza kuno n’ategeza nga bwebakyusizza  ebyavudde mu kunonyereza kuno nga baagala bannayuganda balowooze nti wakubaawo okuddamu okulonda okwa vvunula bibya.

 

Opondo agamba bano tebetawanya, pulezidenti Museveni wakuwangula  n’ebitundu 73% okusinziira ku bbo okunonyereza kwebakoze okwomunda.

 

Wabula ategezezza nga ebimu ku bili mu kunonyereza kuno bwebili ebituufu nga bbo nga aba NRM bakwetereza okulaba nga abavubuka bongera okubegattako n’abayivu.