Amawulire

BBomu ebasattizza

Ali Mivule

March 23rd, 2015

No comments

Ka bbomu akabalukidde okumpi n’ekkomera lye Gulu kalumizza abasibe babiri n’okukosa omwana ow’emyaka 15 abadde ayitawo Bino bibadde ku kisaawe kya Kawunda nga kino kiriraanye ekkomera mu munucipaali ye Gulu Abalumiziddwa baddusiddwa mu ddwaliro e Gulu okuyambibwa AKabenje kano wekabeereddewo ng’abasibe bali mu kukima mazzi […]

Namwandu wa Kasiwukira bamumye okweyimirirwa

Ali Mivule

March 20th, 2015

No comments

Kkooti eganye Namwandu wa kasiiwukira nga ono ye Sarah Nabikolo okweyimirirwa. Omulamuzi wa kkooti enkulu  Jane Elizabeth Alividza ategezezza nga abaleteddwa okweyimirira mukyala kasiiwukira bwebatabekakasa bulungi nga singa namwandu abulawo bayinza obutasobola kusasula nsimbi za kakalu ka kkooti. Namwandu Nabikolo abadde eleese ousumba  Francis Katongole  […]

Kiyingi ne Jamil Mukulu betagibwa mu kkooti

Ali Mivule

March 20th, 2015

No comments

  Kkooti eyisizza ebibaluwa bibakuntumye eri omusawo  munnayuganda abeera mu ggwanga lya Australia  Dr. Aggrey Kiyingi n’akulira abayeekera ba  ADF  Sheikh Jamil Mukulu. Ebibaluwa bino biyisiddwa omulamuzi wa kkooti e Jinja  Imran Kintu bw’ategezezza nga bano bwebalina kyebamanyi ku ttemu erizze likolebwa mu bitundu bye […]

Abbi babbye fayilo z’emisango mu kkooti

Ali Mivule

March 20th, 2015

No comments

  Emirimu gisanyaladde ku kkooti ye Buwama oluvanyuma lw’ababbi okuyingirira kkooti eno nebabbamu fayilo z’emisango n’ebyuma bikalimagezi byebatuusizzako engalo. Kkooti eno eriranye ekifo ekisanyukirwamu ekya  Buwama Community Centre nga era abazigu bakozesezza akakisa k’endongo eyabadde esindogoma obutediza nebamenya. Omulamuzi w’eddala erisooka owa kkooti eno  Naomi […]

Bannayugand 69% bakkiririza mu NRM

Ali Mivule

March 20th, 2015

No comments

Kizuliddwa nga bannayuganda  69% bwebali abamativu n’engeri gavumenti ya NRM gyekuttemu ensonga za demokulasiya. Bino bifulumidde mu alipoota ekunganyiziddwa ab’ekibiina kya  International Republic Institute ku ndowooza za bannayuganda eri ebibiina by’obufuzi ssaako n’ebitongole bya gavumenti n’empeereza y’emirimu okutwaliza awamu. Okunonyereza kuno kwakolebwa mu  2014 wansi […]

Uganda ne Amerika bakwataganye okulwanyisa obutujju

Ali Mivule

March 20th, 2015

No comments

  Gavumenti ye Uganda n’eya Amerika batandise okukolera awamu okuvaayo ne pulaani enayamba okulwanyisa obutujju. Kino kiddiridde ensisinkano wakati wa ssabaminisita w’eggwanga  Dr. Ruhakana Rugunda n’akola ku by’okwerinda by’abantu babulijjo mu Amerika ssaako n’okulwanirira eddembe ly’obuntu Sarah Sewall. Ensisinkano eno ebadde ku ofiisi ya ssabaminisita […]

Museveni awadde amabugo ga bukadde 10 eri okuziika kwa AK 47

Ali Mivule

March 19th, 2015

No comments

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akubagizza ab’enyumba ya Gerald Mayanja n’obukadde 10 olw’okufiirwa omuyimbi AK47. Ensimbi zino zitikkiddwa minisita omubeezi owa Technologiya Nyombi Tembo mu kuziiika omugenzi ku kyalo  Busaato -Kalangaalo mu disitulikiti ye Mityana. Tembo agambye nti eggwanga lifiriddwa omuyimbi abadde eky’okulabirako eri abavubuka […]

Abatujju tebagenderera kutta bannayunga

Ali Mivule

March 19th, 2015

No comments

Omu kubasajja abeetaba mu kutega bbomu ezatta abantu mu mwaka 2010 alumirizza banne bwebakola ekikola kino Mohmood Mugisha bw’abadde asimbidddwa mu kkooti agambye nti basooka kutendekebwa abakambwe ba Alshabaab mu Somalia era ng’eno ategeezezza nga bwebaliiyo n’abavunaanibwa bana. Ku b’asonzeemu kwekuli Habib Sulaiman Njoroge, Hussein […]

Ba Imaam basisinkanye Musisi

Ali Mivule

March 19th, 2015

No comments

Ba Imaam abasoba mu 600 basisinkanye akulira abakozi mu Kibuga Jeniffer Musisi  okubaganya ebilowoozo engeri yokulakulanyamu abasiramu Akualira abakozi mu  kibuga Jennifer Musisi  asabye ba imam abeegattira mu kibina kyabwe ekya Islamic Preachers and Imams  okukozessa emiwaatwa egiriwo benyigire mu byenkulakulana . Wano Musisi  awadde […]

Etteeka ku kukozesa abagwiira lizze

Ali Mivule

March 19th, 2015

No comments

Palamenti mu ggwanga lya Tanzania eyisizza etteeka ekkakkali ku bantu abagwiira abakolerayo Kkampuni kati kizikakatako okusooka okukozesa abaana enzaliranwa nga tebannalowooza ku bagwiira Ababaka bagamba nti tekikola makulu omugwiira okuvuga baasi ate nga n’omuzaliranwa egisobola kyokka n’ammibwa omulimu