Amawulire

Bannayugand 69% bakkiririza mu NRM

Ali Mivule

March 20th, 2015

No comments

images

Kizuliddwa nga bannayuganda  69% bwebali abamativu n’engeri gavumenti ya NRM gyekuttemu ensonga za demokulasiya.

Bino bifulumidde mu alipoota ekunganyiziddwa ab’ekibiina kya  International Republic Institute ku ndowooza za bannayuganda eri ebibiina by’obufuzi ssaako n’ebitongole bya gavumenti n’empeereza y’emirimu okutwaliza awamu.

Okunonyereza kuno kwakolebwa mu  2014 wansi w’ekitongole kya Amerika ekigabi ky’obuyambi ekya  USAID nga era kulaga nga bannayuganda abasinga bwebali abamativu n’empereza ya gavumenti.

Bw’abadde afulumya alipoota eno eno wano mu Kampala, Prof. Robert Mattes okuva mu yunivasite ya  Cape Town ategezezza nga abasinga ku bannayuganda bwebaasonze ku by’enfuna by’eggwanga okutebenkera, empeereza enungi naddala nga bafuna amazi amayonjo, obuzzi bw’emisango okukendeera ssako n’ebyenjigiriza ebilongoose wansi wa gavumenti eriko kati.

Wabula alipoota yeemu eraze nga gavumenti bwekyalemeddwa obuli  bwanguzi.

Wabula ye omu munnakibiina ky’obwanakyewa abavumirira obuli bw’enguzi Bishop Zac Niringiye ategezezza nga alipoota eno bw’esobodde okusiba bannayuganda bbule nga eyita mu pokopoko waayo.