Amawulire

Namwandu wa Kasiwukira bamumye okweyimirirwa

Ali Mivule

March 20th, 2015

No comments

kasiwukira widow

Kkooti eganye Namwandu wa kasiiwukira nga ono ye Sarah Nabikolo okweyimirirwa.

Omulamuzi wa kkooti enkulu  Jane Elizabeth Alividza ategezezza nga abaleteddwa okweyimirira mukyala kasiiwukira bwebatabekakasa bulungi nga singa namwandu abulawo bayinza obutasobola kusasula nsimbi za kakalu ka kkooti.

Namwandu Nabikolo abadde eleese ousumba  Francis Katongole  okuva mu kanisa ya  Christian Bible church nga omu ku bagenda okumweyimirira wabula omulamuzi n’ategeeza nga ono bwebatategeera bulungi gyajja ssente ze nga taleese nabbaluwa kuva ku kyalo ewali kanisa ye.

Namwandu kati addiziddwa ku alimanda e Luzira.