Ebyemizannyo
CHAN etabuse
Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Africa ekya CAF kyakunyonyola Tiimu y’eggwanga ey’omupiira the Cranes amateeka g’ekikopo kya CHAN mwebetabye wali e Rwanda. Eyakuliddemu ekibinja kya Uganda Hamid Juma agamba bakumanya enteekateeka z’okutendekebwa ssaako n’okutangazibwa ku mateeka amalala. Mungeri yeemu omutendesi wa Cranes Micho Sredojevic agamba tiimu […]
Mark Makumbi afudde
Bannabyamizanyo bali mu kiyongobero oluvanyuma lw’amawulire g’okufa kwa Mark Makumbi. Makumbi amaze ebbanga nga atawanyizibwa obylwadde bwa kookolo Mwanyina abadde amuliko mu ddwaliro Maama Kaye atutegezezza nga Makumbi bw’afudde ku ssaawa nga 3 ez’amakya galeero.
Uganda esenvudde mu ngereka
Omupiira gwa Uganda gwongedde okulinya mu nsengeka z’ekibiina ekiddukanya omupiira mu nsi yonna. Uganda kati ekwata kya 62 mu nsi yonna nga esenvudde ekifo kimu okuva mu kye 63 omwezi oguwedde. Kino kyekifo kyawaggulu Uganda kyeyali etuuseko nga mu Africa eri ekwata kya 12 sso […]
KCCA eyongedde okugula abazannyi
Aba tiimu ya KCCA FC bakyagenda mu maaso n’okugula abazannyi okwongera okunyweeza tiimu Kati aba KCCA basemberedde okuddamu okugula eyali muyizi tasubwa waabwe Herman Wasswa. Wasswa yoomu ku baava mu tiimu eno mu gw’omukaaga gw’omwaka oguwedde Ssinga Wasswa addamu okwegatta ku KCCA, wakukwatagana buto n’omutendesi […]
Guardiola agenda mu Man City
Abadde atendeka tiimu ya Bayern Munich Pep Guardiola alangiridde nti wakulekulira omulimu guno atandise okutendeka mu Bungereza. Gyebuvuddeko ono yategeeza nti yali ssiwakwongerayo bbanga ly’ali mu Bugirimaani nga sizoni eno eweddeko. Guardiola agambye nti ayagala kubeerako mu kibuga ekipya mu Bungereza. Yadde tannaba kussa mikono […]
Omupiira gw’ababaka ba palamenti
Tiimi ya palamenti ya Uganda eyokubaka emezze ginaayo eya Kenya 45-9 mu mpaka za palamenti za East Africa ezigenda mu maaso mu kibuga Kigali ekya Rwanda. Olwaleero ttiimu y’omupiira eya Uganda yakuzanya Kenya mu fayinolo okusobola okweddiza ekikopo kyebawangula omwaka oguwedde. Uganda yesize abazanyi nga […]
Hajji NKambwe ow’emotoka z’empaka afudde
Abantu abenjawulo bakyakungubagira abadde omwogezi wekibiina ekikulembera omuzannyo gwemotoka zempaka Haji Nkambwe afudde enkya ya leero. Ab’ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga nabo bawaddeyo obubaka bwabwe obukubagiza Omugenzi okubiddwa ekirwadde kya puleesa enkya ya leero ku ssaawa bbiri ez’okumakya . Amyuka omukulembeze wekibiina ky’omuzannyo gw’emotoka z’empaka […]
She Cranes ewanduse mu z’ensi yonna
Tiimu ya Uganda ey’okubaka the she Cranes ewanduse mu mpaka z’ensi yonna ez’okubaka eziyindira mu ggwanga lya Australia. Uganda ekubiddwa Jamaica ku goolo 59-47 nga ne Malawi yabakuba mu luzanya olwasooka mu zisooka eziddirira ezakamalirizo. Rachael Nanyonga asuuse goolo 29 sso nga kaputeeni Peace Proscovia […]
She Cranes etuuse- bagiwangudde mu mukwano
Tiimu y’eggwanga ey’omuzanyo gw’okubaka eya She Cranes yatuuse bulungi mu ggwanga lya Australia akawungeezi k’eggulo,gyeyagenze okwetegekera empaka z’ekikopo kyensi yonna eza Netball World cup mu kibuga Sydney. She Cranes kati nga esuzibwa ku Hotel ya Ibis esobodde okuzanyayo omupiira ogw’omukwano n’eggwanga lya New Zealand enkya […]
Empaka z’ebika zitongozebwa leero
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olunaku olwalero wakutongoza empaka z’emipiira gy’ebika bya Buganda. empaka zino zakuggulwamu mu butongole Ssabasaja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda 11 nga 26 omwezi guno mu kisaawe e Wankulukuku nga Enkobe littunka ne Ngabi. Mayiga agambye nti ebika yentabiro y’okwegatta […]