Ebyemizannyo
Cranes yakuttunka ne Senegal olwaleero
Bya Ali Mivule Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira batuuse dda mu ggwanga lya Senegal okuttunka ne bananyinimu aba Senegal olunaku lwaleero. Guno gujja kuba muoiira gwakubiri nga begezaamu mu kwetegekera ogwokusunsulamu abanetaba mu za Africa eza 2019 n’eggwanga lya Cape Verde. Ogwasoose baagudde maliri 0-0 ne Ethiopia […]
Kawempe Muslim S.S bebakyampiyoni
Bya Ali Mivule Aba Kawempe Muslim SS beddiza ekikopo kya liigi y’abakyala omulundi ogwokusatu ogwomudiringanwa oluvanyuma lw’okukuba aba UCU Lady Cardinals 4-0 ku kisaawe kye Wankulukuku. Juliet Nalukenge y’ateebye goolo 2 olwo Sharon Naddunga ne Favour Nambatya nebateeba endala. Aba Uganda Martyrs’ High School […]
Kawempe Muslim ne UCU bali ku fayinolo ya liigi
Bya Ali Mivule Ttiimu ya Kawempe Muslim SS yesozze fayinolo zempaka za liigi y’eggwanga ezokusatu ezomuddiringanwa. Kawempe yetakuluzzako aba Olila High Scool 2-0 . Akulembeddemu abateebi Hasfa Nassuna yateebye goolo 2 okuwa Kawempe obuwanguzi . Kati Kawempe yakuzanya aba UCU lady cardinals abaakubye Uganda Martyrs Lubaga […]
Aba Mauritania bakulamula ogwa cranes
Bya Ali Mivule Ekibiina ekifuga omupiira ku ssemazinga wa Africa kilonze badiifiri okuva mu ggwanga lya Mauritania okulamula omupiira wakati wa Uganda Cranes ne Cape verde. Lemghaifry Bouchaab y’agenda okugubeera mu mitambo nga era wakuyambibwako Aderahmane Warr ne Hamedine Diba nga abawuubi b’obutambaala. Ye Match […]
Cranes eraze eryanyi
Bya Ali Mivule Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira eya Uganda Cranes yayongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo bwebaakubye ttiimu ya Kitara 3-1. Omupiira guno gwanyumidde abalabi ku kisaawe kya Buhinga wali mu tawuni ya Fortportal. Emmanuel Okwio yateebye ggoolo 2 olwo Nelson Senkatuka n’ateeba eyokusatu […]
KCCA FC ne Vipers bakuggwa eggayangano
Bya Ali Mivule Olwaleero kabbinkano kenyini mu liigi y’eggwanga nga abakulembedde aba KCCA FC baabika ne Vipers. Omupiira guno ogusuubirwa okubeerako n’obugombe gwakubeera ku kisaawe kya KCCA ekya Phillip Omondi e Lugogo Oluvanyuma lw’okugwa amaliri ne Sc Villa 1-1 e Masaka, omutendesi wa ttiimu ya […]
Hossam Hassan aggya
Bya Ali Mivule Eyaliko emunyenye ya Rgypt mu kucanga akapiira Hossam Hassan asuubirwa mu ggwanga essaawa yonna okuva kati. Hassan nga kati atendeka kiraabu ya Al –Masry ali n’ekibinja ky’abazanyi be abasuubirwa okuzanya KCCA FC mu mpaka za CAF Confederations Cup. Omwogezi wa KCCA […]
Kapiteeni wa Cranes omuggya
Omukwasi wa goolo ya Uganda Dennis Onyango ye kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga the Cranes omuggya. Onyango asikidde Geoffrey Massa eyawumudde ogw’eggwanga oluvanyuma lw’emyaka 12 nga awereza. Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga Micho Sredejovic akakasizza kino n’ategeeza nga Onyango bw’alina obumanyirivu okukulembera bulungi banne. Mukiseera kino […]
Bataano bali lwokaano lwa FIFA
Ekibiina ekiddukanya omupiira mu nsi yonna ekya FIFA kikakasizza nti abantu bataano beebali mu lwokaano lw’anakikulembera omwezi ogujja Ku bano kuliko Omulangira Ali bin al-Hussein, Sheikh Salman bin Ebrahim al-Khalifa, Gianni Infantino, Jerome Champagne n’abalala Abakungu mu FIFA bakulonda omukulu anadda mu bigere bya Sep […]
Miya alabudde ku CHAN
Kapiteeni wa Uganda cranes Farouk Miya alabudde abawagizi obutasuubira obutagerageranya mpaka za CECAFA zebawangula omwaka oguwedde ne za CHAN zebaggulawo olunaku olwaleero. Miya agamba empaka zino zanjawulo nga CECAFA mulimu mawanga ga East Africa gokka sso nga eza Chan babingwa bonna aba Africa mwebali. […]