Amawulire

FDC eyagala Gen kayihura anonyerezebweko.

Ivan Ssenabulya

January 22nd, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba. Ekibiina  ekya FDC kyagala okunonyereza okwamangu kukolebwe  okuzuuula enkolagana ya Boda-boda 2010  ne ssabapolice Gen kale kaihura. Bano webaviirideyo nga Abdul Kitata  afuuse amawulire agali mubuli kasonda ka gwanga, oluvanyuma lwamagye okumukwata nga kigambibwa nti yandiba nga y’abadde aduumira amagye ge gwanga. […]

Katikiro avumiridde eky’okusambirira edembe ly’obuntu okususe.

Ivan Ssenabulya

January 22nd, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba. Katikiro wa Buganda Charlse Peter mayega nate avumiridde emizze egy’okusambirira edembe ly’obantu, kko n’obutawangana kitiibwa okususse mu ugada, nga kuno okusinga kukolebwa ebitongole ebikuuma dembe. Katikiro bino abyogerededde wano e Bulange e mengo mu Lukiiko lwa Buganda olutudde leero. Mukwogera katikiro agambye […]

Aba CMI balumbye office za bodaboda 2010 e Bukesa.

Ivan Ssenabulya

January 22nd, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa.   Wano e   Bukesa – Nakulabye agavaayo galaga nga ekitongole ekiketera amaggye  ge gwanga ekya CMI nate kizeemu okulumba office zaba bodaboda 2010 e nadala ezosangibwa wano e Bukesa, era nebakwata abantu abawerako. Kinajukirwa nti kino ekiwendo ky’atandikidde wakaliga era akulira ekibiina […]

Eyasobya ku mwana police yemutaasiza.

Ivan Ssenabulya

January 19th, 2018

No comments

Bya Abubaker Kirunda. Police eriko omusajja eyeyita omusawo ow’ekinansi gwetaasidiza okutibwa abatuuze abakambwe , nga ono bamulanga kusobya ku mwana wa myaka etaano gyokka. Omusawo ono kigambibwa nti abadde yaweebwa akaana kano okukasawula, kyoka mukwogera ye agamba nti emizimu gyamulinyeeko negimulagira okukakabasanya eomwana ono. Kati […]

Eyasobya ku mulwadde akwatiddwa.

Ivan Ssenabulya

January 19th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba. Police mu district ye Kapchorwa eriko omusajja gw’ekutte nga  ono kigambibwa nti aliko omukyala gweyasobyako mu mwaka oguwede era okuva olwo abadde aliira ku nsiko. Omusajja ono Yeko George nga musawo ,kigambibwa nti nga akyakolera mu kwen district gyeyalina akalwaliro aka kwenne […]

Amateeka ku batunda enyama gafulumye.

Ivan Ssenabulya

January 19th, 2018

No comments

Bya Ndaye moses . Ekitongole ekya KCCA kiriko amateeka amakambwe  gekifulumizza , nga gano gegalina okugonderwa bonna abatunda enyama mu kampala wano. Bwabadde ayogerako ne banamawulire, minister omubeezi owa kampala Benn Namugwanya  agambye nti kaakano buli atunda enyama alina okubeera ne fridge , songa mungeri […]

Kalisoliiso wa gavumenti waakukolagana ne banka.

Ivan Ssenabulya

January 19th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba E kitongole ekya kalisoliiso kitegeezeza nga bwekigenda okukolagane ne   banka ez’enjawulo butereevu okusobola okulondoola ensimbi ezitambuzibwa eziyinza okuba ez’obulabe eri egwanga. Twogedeko n’akulira ekitongole kino Justice Irene Mulyagonja n’agamba nti babade bakolagana n’ekitongole ekya Financial intelligence authority okubega banka zino , wabula […]

Uganda yakutukiza ekibonerezo eky’okuteeka ku kalabba.

Ivan Ssenabulya

January 18th, 2018

No comments

Bya Damali Mukhaye. Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni  ategeezeza nga bwagenda okutandika okuteeka  omukono kubiragiro eby’okuteeka abantu ku kalabba, nadala abaludde nga bali  kibonerezi kino ate nga sibetegefu kukyusa mupisa zaabwe. Bwabadde ayogerako eri abaserikale abafulumizddwa leero e Luzira, president agambye nti aludde nga talagira […]

Embwa zirumbye abatuuze be Lwabenge mu Kalungu.

Ivan Ssenabulya

January 18th, 2018

No comments

Bya Malik Fahad Abatuuze be Lwabange  mu kalungu  district wetwogerera nga bali mu kusatira, nga kino kidiridde  embwa enkambwe okulumba ekitundu kino Ebimu ku byalo ebisinze okukosebwa  kuliko Kigaju, ne Bugomola  nga bino byona bisangibwa mu gombolola ye Lwabenge. Tutegeezedwa nti embwa zino zitambulira mu […]

Abaana abato abanywa omwenge beeyongedde.

Ivan Ssenabulya

January 18th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa. Ekitongole ekya Muvubuka weyogerera ekya straight talk foundation kitegeezeza nga bwewetagawo amateeka agagenda okukoma ku nkozesa y’omwenge wano mu uganda. Twogedeko n’akulira straight talk foundation -Suzan Ajok n’agamba nti mu uganda abantu abakozesa omwenge  bakola ebitundu nga 71.6% , kyoka nga bano […]