Amawulire

Abesenza ku kibira bagobeddwa

Ali Mivule

April 27th, 2015

No comments

Ekitongole ky’ebyebibira mu ggwanga kiragidde abatuuze abasoba mu 1000 abesenza ku ttaka ly’ekibira kye Kibaale okulyamuka nga olwokuna wiiki eno terunaggwako. Guno mulundi gwakubiri nga balagirwa okwamuka ettaka lino nga basooka kulagirwa kuvaawo nga August 30, 2014 wabula bannabyabufuzi nebabiyingiramu nebasigalawo. Akulira ekitongole kino mu […]

Aba Sudani balumbye abe Mukono

Ali Mivule

April 27th, 2015

No comments

Abatuuze mu gombolola ye  Goma naddala mu kibuga kye Seeta bali mu kutya olwabasudani  abayitirivu abeyiye mu kabuga nga n’abakulembeze baabwe twebamanyi kigenda mu maaso. Ssentebbe wa LC eyokusatu e Goma Erisa Mukasa Nkoyoyo atutegezezza nti nabo nga abakulembeze babalaba bulabi awatali kunyonyolwa kwonna kuva […]

Sinnaba kubba ku nkalala- Mbabazi

Ali Mivule

April 27th, 2015

No comments

Eyali ssabaminisita w’eggwanga  Amama Mbabazi asambazze ebigambibwa nti ab’enyumba ye bakweese olukalala okuli ba  memba b’ekibiina kya NRM . Mbabazi ne muwalawe Lina Mbabazi bazze babalumiriza okukweka olukalala luno nga kiwalirizza abakulira ekibiina kino okuddamu okuteekateeka olulala. Mbabazi agamba ssemateeka w’ekibiina kya NRM awa obukiiko […]

Aba alshabaab baweddemu- Museveni

Ali Mivule

April 25th, 2015

No comments

Pulezidenti Yoweri Museveni agamba waliwo obwetaavu bw’okwegatta okulwanyisa abatujju ba Alshabaab abatabuse ennaku zino Mu kiwandiiko pulezidenti ky’asindikidde emikutu gy’amawulire, agambye nti akabinja kano okutandika okulumba abantu ba bulijjo kiraga nti tekalina mulamwa Agamba nti kyenyamiza okulaba nti aba alshabaab balumba supamaketi, n’abayizi abatalina musango […]

Mundopeere abalamuzi abalya enguzi-ssabalamuzi

Ali Mivule

April 25th, 2015

No comments

Ssabalamuzi w’eggwanga Bart Katureebe asabye bannayuganda abamanyi abalamuzi abalya enguzi okubamulopeera Katureebe agamba nti awulira abantu bangi nga bagamba nti abalamuzi balya enguzi kyokka nga bw’aba tamanyi mannya talina w’atandikira Katureebe abadde ayanukula okwemulugunya okukoleddwa eyali omulamuzi George Wilson Kanyeihmba agambye nti abalamuzi bangi abaloopeddwa […]

Giggs ayinza okunsikira- Van Gaal

Ali Mivule

April 25th, 2015

No comments

Omutendesi wa tiimu ya Manchester United Louis van Gaal agambye nti eyali omuzanyi wa tiimu eno  Ryan Giggs yayinza okufuuka omusika we. Giggs, 41 yeeyali mu mitambo gy’emipiira ena mu sizoni ewedde oluvanyuma lwa David Moyes okugobwa  mu mwaka oguwedde Van Gaal w’emyaka 63 yassa […]

Bazize amaduuka ga bannansi ba South Africa

Ali Mivule

April 25th, 2015

No comments

Banansi b’eggwanga lya Malawi beesuddemu akambayaya nebagaana okuddamu okugula ebintu mu maduuka gabanansi ba South Africa agasangibwa mu ggwanga lino, olw’ekitta bagwiira ekigenda mu maaso mu ggwanga lino. Maduuka aga ba south Africa gasigadde magala olunaku olwalero. Mu kibuga ekikulu  Blantyre, poliisi eyiriddwa okusobola okukuuma […]

Omusjja gukendedde mu kampala

Ali Mivule

April 25th, 2015

No comments

Abantu abalina omusujja mu kibuga kampala bazze bakendeera okugerageranya nga bwegwaali emyaka etaano emabega Atwala ebyobulamu mu e Nakawa Dr.Christopher Oundo agamba nti abalwadde beebafuna mu malwaliro gaabwe bakendedde okuva ku bitundu 40 ku kikumi okudda ku 25 ku kikumi Dr. Oundo kino akitadde ku […]

Ba ssentebe bazize obugaali

Ali Mivule

April 25th, 2015

No comments

Ba ssentebe ba LC esookerwaako e Wakiso bazize obugaali obwabawereddwa gavumenti okutambuza emirimu gyaabwe nga bagamba nti tebubajaamu Okutuuka ku kino kiddiridde, akulira abakozi e Wakiso, David Naluwayiro okubategeeza nti pulezidenti yabasuubizza nti ba ssentebe bonna bakufuna obugaali basobole okwanguyirwa ku mirimu. Ba ssentebe bano […]

Muddeemu okulima- Muliika

Ali Mivule

April 25th, 2015

No comments

Eyali Katikkiro wa Buganda Daniel Muliika asabye abantu okwettanira eby’obulimu mu kifo ky’okusabirizanga gavumenti . Owek. Muliika agamba nti bannayuganda basobola okwegobako obwaavu ssinga gavumenti ekendeeza ku nsimbi z’essa mu ttiyagaasi n’emmundu n’ezissa mu bulimi naddala obw’amatooke n’emmwanyi Ono era alabudde abantu okwewala eby’obufuzi ebyawula […]