Amawulire

Sejusa atuuse ne mu UPC

Ali Mivule

April 29th, 2015

No comments

Eyali akulira bambega b’amaggye Gen David Ssejusa asabye wabeewo okusonyiwagana n’okwegatta emirembe bwegiba nga gyakubukala mu ggwanga Sejusa bw’abadde ali ku kitebe kya UPC agambye nti gavumenti z’edda n’eriko zikoze ebikolobero biyitirivu kyokka nga kikyaamu okuwolera eggwanga Ono era yetonze olw’ebikolebero ebyakolebwa amaggye mu biseera […]

Gavumenti yewozezzaako ku nkyukakyuka mu mateeka g’okulonda

Ali Mivule

April 29th, 2015

No comments

Amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi avuddeyo n’awolereza gavumenti ku nkyukakyuka mu mateeka g’ebyokulonda ezaaleteddwa Ono agumizza abantu nti akakiiko akalondesa kakwetengerera ng’era bwekyeyolese mu nongosereza ezaleeteddwa Ssinga ebbago lino liyita, akakiiko akalondesa kakukyusibwa erinnya kyokka ng’era okulonda abakaliko kwakukolebwa omukulembeze w’eggwanga Ng’ayogerako eri bannamawulire, […]

Obukyafu bususse

Ali Mivule

April 29th, 2015

No comments

Ekitebe ky’eby’obulamu ku disitulikiti ye Mukono balabudde ku bukyafu obuli luno naddala mu byalo ekitaddewo obweralikirivu abantu okubuuka n’ebirwadde. Kino kyava ku lutalo lwokulwanyisa omusujja gwa Typhoid olwali ennyo mu bitundu  byekibuga neberabira abomubyalo nabo okusomesebwa ku kabi akava mu bukyafu. Bw’abadde ayogerako ne banamawulire […]

Eddwaliro lirongooseddwa

Ali Mivule

April 29th, 2015

No comments

Kyadaaki eddwaliro lye Magola health centre III in mu disitulikiti ye Tororo liddabiriziddwa Ng’ayogerera ku mikolo gy’okuggulawo eddwaliro lino, minisita akola ku by’obujjanjabi ebisookerwaako Sarah Opendi alabudde abasawo ku kusika mu bantu ensimbi okubakolako Opendi agambye nti eno y’ensong esinga okugoba abantu mu malwaliro nebaddukira […]

Aba DP babirwaniddemu e Masaka

Ali Mivule

April 29th, 2015

No comments

E Masaka Obuvuyo bwenyongedde okweyoleka mu kulonda kw’ekibiina kya DP nga balonda abakulembeze baabwe abokubyalo. Ebifo ebisinze okukosebwa kuliko amagombolola ye   Nyendo /Ssenyange ne  Bukoto East  n’ewalala. Bannakibiina kya DP bagamba nti okulonda kuno mulimu okugulirira abalonzi, okuleeta abalonzi okuva mu bifo ebirala nebalondera mu […]

Lubega bamusuuzizza paaka ya baasi z’abaganda

Ali Mivule

April 29th, 2015

No comments

Kkooti etaputa ssemateeka egobye omusuusbuzi omututumufu Drake Lubega mu paaka ya baasi eya Qualicel Bus Terminal n’eragira munne bwebabadde bagugulana mu kkooti Charles Muhangi addemu okuddukanya paaka eno. Abalamuzi abasatu okuli Remmy Kasule, Faith Mwonda ne  Richard Buteera bonna bakkiriziganyizza nga Lubega bw’abadde addukanya paaka […]

Ttiyagaasi anyoose e Mityana

Ali Mivule

April 29th, 2015

No comments

Poliisi ekakkanya obujagalalo e Mubende eyitiddwa bukubirire okukkakanya abasubuuzi abakolera mu katale ka Simons Food Mart ababadde beekalakaasa . Bano bawakanya abatwala eby’obulamu mu kibuga Mubende okuwamba obuyumba bwaabwe mwebakoleranga bagamba nti ekifo kikyafu era nga bakolerawo mu bumenyi bwamateeka Kino kitanudde abasubuuzi  nebalumba ekitebe […]

Okukebera enkalala kwongezeddwaayo

Ali Mivule

April 29th, 2015

No comments

Akakiiko k’ebyokulonda kongezzaayo nsalesale w’abantu okwekebera ku nkalala z’abalonzi ne nnaku 5 mu kulongoosa enkalala zino okugenda mu maaso. Nsalesale w’okulongosa enkalala z’abalonzi abadde aggwanga olunaku lwenkya wabula nga kati kwakugenda mu maaso okutuusa nga 4 omwezi ogujja. Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda  Eng. Badru Kiggundu ategezezza […]

Omu ku bebayiridde asidi afudde

Ali Mivule

April 29th, 2015

No comments

Omu ku bantu 6 ab’enyumba emu abaayiriddwa asidi afudde. Omukaaga bano  banyumba emu e wabiyinja mu gombolola ye masuulita .   Afudde yemwami Henry ssozi nga bbo abalala okuli mukyalawe Agnes Kigongo bakyali mu ddwaliro ekkulu e Mulago bali bubi.   Omukaaga bano olunaku lweggulo […]

Kabaka w’abasongora afudde

Ali Mivule

April 29th, 2015

No comments

N’okutuusa kati abantu mu bukama bw’abasongola bakyakungubaga oluvanyuma lw’Omukulembeze waabwe ow’enono  Rwidi Ivan Bwebale IV okufa. Omugenzi y’afudde ekiro ssaawa ssatu n’ekitundu ku ddwaliro lya Kadic e Bukoto gyeyatwalibwa nga ali bubi. Okusooka omugenzi y’atwalibwa mu ddwaliro e Nsambya gy’abadde okumala wiiki 3 okutuusa lweyatwaliddwa […]