Ebyobulamu

Abasawo abanafu bakugobwa

Ali Mivule

April 23rd, 2015

No comments

Abasawo abanafu tebajja kuba na bifo Mulago ng’eddwaliro lino limaze okulongoosebwa Bino byogeddwa omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr Asuman Lukwago Dr Lukwago agambye nti eddwaliro lino bagaala kuliteeka ku mutindo gw’ensi yonna kyokka nga kino kijja kutuukikako ng’abasawo tebasooba. Bino yabyogedde aggalawo omusomo gw’emyezi […]

Temuvumirira bakyala beyambudde- Okumu

Ali Mivule

April 23rd, 2015

No comments

Abavumirira abakyala abayambulidde ba minisita olw’enkaayana z’ettaka balabuddwa okukikomya. Ssentebe w’akabondo k’ababaka abava mu bitundu bya Acholi  Reagan Okumu agamba abatuuze balina eddembe okwekalakaasa ku nsonga ezibaluma. Wiiki ewedde waliwo bannamukadde abakyala abeyambudde engoye zonna nebasigala buswa mu maaso ga minisita w’ebyettaka Daudi Migereko n’owensonga […]

Enkuba ebagoyezza

Ali Mivule

April 23rd, 2015

No comments

Enkuba eyamwaanyi ebaddemu nekibuyaga eree amaka agawerako gali ku ttaka nga n’ebirime mu nimiro nyingi byononeddwa mu gombolola ye  Kamonkolo subcounty mu disitulikiti ye  Budaka . Ssentebe w’egombolola ye Kamonkoli Edinandi Piringo agamba emiruka ena okuli  Kamonkoli, Nyanza, Kiraka ne  Sekulo gikoseddwa sso nga ebyalo […]

Kadaga afunye amwesimbamu

Ali Mivule

April 23rd, 2015

No comments

Ebya sipiika wa palamenti  Rebecca Kadaga obutasimbibwako Muntu yenna ku kifo ky’omubaka omukyala e Kamuli bigaanye.   Nga waakayita mbale nga ssentebe wa disitulikiti ye Kamuli Salam Musumba ky’ajje asembe Kadaaga okwesimbawo awatali amu amuvuganya waliwo eyesowoddeyo okumusuuza omugaati.   Eyali omukozi w’ekitongole ekiwooza ky’omusolo […]

Teri kujingirira ndagamuntu

Ali Mivule

April 23rd, 2015

No comments

Minisita w’ensonga zomunda w’eggwanga Gen Aronda Nyakairima akakasizza bannayuganda nga endaga Muntu zebaafunye bwezitasobola kujingirirwa. Gen Aronda agamba nti baakitegedeko nga bwewaliwo abantu abamu abaabadde batandise ojingirira ezaabwe ku Nasser road ne Nkrumah okusobola okufuna paasipooti wabula baabaguddemu mu bwangu. Aronda agamba kaadi zino baaziteekako […]

Mukula yegaanye eby’obutesimbawo

Ali Mivule

April 23rd, 2015

No comments

Omubaka wa municipaali ye Soroti Mike Mukula asambazze ebigambibwa nti y’avudde mu lwokaano lw’okuddamu okwesimbawo mu kalulu ka 2016. Mukula y’adda mu by’obufuzi mu 2011 oluvanyuma lw’okumegebwa munna FDC  Willy Ekemu mu 2006. Kigambibwa nti ku leediyo emu e Teso,Mukula y’ategezezza nga bwatagenda kuvuganya ku […]

Aba UPC bakkirizza ssente z’akakiiko

Ali Mivule

April 22nd, 2015

No comments

Akakiiko akalondesa kawadde ebibiina obuwumbi 10 nga ku zino NRM erina kufunako obuwumbi munaana aba DP kyebagamba nti kirimu obutenkanya ng’ensimbi zino era tezimala Yye nno omwogezi wa UPC David Lucima agamba nti beetaga ensimbi zino okwetegekera okulonda kwa wansi kubanga era ensimbi zino zoogerwaako […]

Okubba ettaka:Aba KCCA bayitiddwa

Ali Mivule

April 22nd, 2015

No comments

Akakiiko ka palamenti akanonyereza ku kibba ttaka mu kampala kayise bukubirire atwala eby’okutekeerateekera ekibuga Andrew Kitaka Akakiiko kano kabadde kakamala okuyimiriza okuzimba kwonna ku ttaka okwaali kutudde essomero lya Nabagereka kyokka era nekasaba ab’akakiiko k’ettaka okulaga empappula zonna ezikwata ku ttaka lino. Akakiiko kano akakulirwa […]

Mulwanyise endwadde ezitangirwa

Ali Mivule

April 22nd, 2015

No comments

Minisitule y’ebyobulamu esabiddwa okwongera ensimbi mu kulwanyisa endwadde ebisobola okutangirwa. Omubaka we Buikwe mu bukiikaddyo Dr. Lulume Bayiga ategeezezza nga bwebazudde nti endwadde ng’omusujja gw’ensiri ne Typhoid bwebisobola okutangirwa ssinga wabaawo amakubo amatuufu ag’okuzirwanyisa. Bayiga era agamba nti kiba kirungi ebitundu nebirambulwa era abantu nebasomesebwa […]

Ebigendererwa ebiggya bijja

Ali Mivule

April 22nd, 2015

No comments

Abakulembeze b’amawanga okwetoloola ensi yonna bakusisinkana mu mwezi gw’omwenda omwaka guno okutongoza ebigenderera ebijja okudda mu kifo ky’eby’ekyaasa. Ebigenderera ebiggya byakutuumibwa Sustainable Development Goals era nga byakuba 17. Kati abalwanirira ebyobulamu bagaala ensonga z’ebyobulamu naddala ez’ebyokuzaala by’abakyala n’abaana bissibweeko omulaka. Akulira ekibiina kya White Ribon […]