Olwali
Bamusibidde mu keesi
Kakati abantu abagaala abantu baabwe bbo bakyaliwo Waliwo omusajja enzaalwa ya bufaransa agezezzaako okukusa mukyala we okumuyingiza amawanga ga bulaaya. Omusajja ono nga mukyala we nzaalwa ye Russia, amupakidde mu keesi n’akunnumba Abasirikale abalengedde amagulu g’omukyala nga galingiza beebamuyimirizza era okuggulawo, omukyala n’abuukamu
Munaana battiddwa abakwatamundu
Abantu munaana beebattiddwa abakwata mundu bwebalumbye ekifo ky’obulambuzi mu kibuga kya Tunisia ekikulu Tunis Mu bafudde, musanvu balambuzi ate omu munnansi wa Tunisia Bino bibadde ku kifo ky’obulambuzi ekimanyiddwa nga Bardo ekiriraanye ekizimbe kya palamenti Mu kaseera obulumbaganyi buno webubeereddewo, ng’ababaka mu palamenti bagenda mu […]
Mubangule abantu ku TB
Gavumenti esabiddwa okwongera okubangula abantu ku bulwadde bwa TB Kino kijjidde mu kaseera ng’eggwanga lyetegeka okukuza olunaku lw’okukandula amaloboozi ku bulwadde buno ssabbiiti eno Omusawo mu ddwaliro lya Kisenyi Health center Daniel Ssebagala agamba nti abalwadde abasinga beebogeddeko nabo bamanyi kitono ku bulwadde buno Agamba […]
Ebikozesebwa mu kulonda bituuse
Ebigenda okukozesebwa mu kuddamu okulonda e Bugiri bituusiddwa ku kitebe kya disitulikiti ye Bugiri Bino bigenda kukozesebwa mu kulonda ssentebe wa disitulikiti, ne ba kansala b’abakyala abe Busoowa ne Nkaiza Omwogezi w’akakiiko akalondesa Jotham Taremwa agamba nti tebannafuna buzibu bwonna n’akunga abantu okwetaba mu kulonda […]
Abaana banunuddwa okuva ku bayekeera
Poliisi eriko abaana 23 b’enunudde nga bano babadde bagenda kuggattibwa ku bayeekera ba ADF 14 bajjiddwa ku musajja amanyiddwa nga Sheikh Abdul Mbazira’ e Namawojjolo ate abalala basangiddwa wa Hajati Mariam Athuman Nalumagga e Mpooma mukono. Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti Sheikh Mbazira […]
Eyayiira mukyala we Acid alabiseeko mu kkooti
Omusajja agambibwa okuyiira mukyala we acid n’afa omusango gwe gusindikiddwa mu kkooti enkulu ey’eggwanga Omulamuzi wa kkooti ye Nakawa Flavia Nassuna y’asindise Kasim Kakaire mu kkooti enkulu yewozeeko ku misango gy’ettemu Oludda oluwaabi lugamba nti mu mwaka oguwedde, Kakaire yagula abantu abalumba mukyala we Josephine […]
Mukole nnyo ate mujjukire Katonda- Faaza mu kusabira AK
Abavubuka bakubiriziddwa okujjukira Katonda mu buli kyebakola n’okukola enyo mu ensi eno. Buno bwebubadde obubaka bwa Faaza John Mugabo akulembeddemu emisa y’okusabira omwoyo gw’omugenzi Emmanuel Mayanja banji gwebamanyi nga AK47 wali ku ekeleziya y’abakatouliki e Lweza. Faaza omugenzi amunyonyodde nga abadde n’ekitone era omukozi nga […]
Abe Makerere balonda
Abayizi ba zi yunivasite balabuddwa obutakkiriza kukozesebwa bannakigwanyizi ababakumamu omuliro okwekalakaasa. Bw’abadde ayogerako eri abayizi abekalakaasa ku ttendekero lya Busoga University, amyuka ssenkulu w’ettendekero lino Lameka Kibikyo ategezezza nga bwewaliwo amakubo omutali buvuyo agasobolwa okuyitibwamu okugonjoola ensonga. Abayizi ku ttendekero lino bavudde mu mbeera nebekalakaasa […]
Okukakasa abaalondebwa Museveni- Kavuma ali mu lusuubo
Nga okukakasa baminisita ne ssabalamuzi w’eggwanga kukyagenda mu maaso ku palamenti, omubaka w’abavubuka b’obugwanjuba bw’eggwanga Gerald Karuhanga akyafuba okulaba nga amyuka ssabalamuzi w’eggwanga Stephen Kavuma takakasibwa. Nga akulembeddwamu munnamateekawe eyali omulamuzi wa kooti yokuntikko George Kanyeihamba, Karuhanga, galeero akwanze sipiika ekiwandiiko palamenti ereme kukakasa Kavuma […]
Abalina Typhoid beeyongedde
Omuwendo gw’abalwadde b’omusujja gwomubyenda ogwa Typhoid gweyongedde wano mu Kampala. Ab’ebyobulamu okuva ku ddwaliro lya Kisenyi Health center 4 bategezezza nga bwebaafunye abalwadde abasoba mu 400 nga bateberezebwa okubeera ne typhoid. Akulira eby’obulamu mu KCCA Dr. David Sserukka agamba kati abantu abasoba mu 2300 bebalina […]