Amawulire

Tekyaali Dipulooma Makerere

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Ettendekero ekkulu erye Makerere lukulekera awo okugaba dipulooma mu masomo mukaaga Omukulu mu ttendekero lino Vincent Ssembatya, agambye nti basazeewo okuyimiriza dipulooma okukendeeza ku nsimbi ezissibwa mu kuddukanya ettendekro okusobola okusobola okussa essira ku masomo ga diguli Ono agambye nti babadde bassa ensimbi nyingi mu […]

Enyonyi egudde abasoba mu 150 bandiba abafu

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Enyonyi ebadde ekubyeeko abantu 144 eremedde omugoba waayo n’egwa. Enyonyi eno eya bagirimaani egudde mu nsozi z’omuzira ezisangibwa mu Bufaransa Enyonyi eno ebadde edda Barcelona ng’eriko abagiddukanya mukaaga Omukulembeze w’eggwanga lya Bufaransa Francois Hollande agambye nti tebannategeera kivuddeko kabenje kano kyokka nga wekabadde balina okutya […]

Bamukyaaye lwa bifananyi

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

  Omu ku bannabyabufuzi mu ggwanga lya Ukraine akyaaye mukyala we lwa bifananyi by’amuwerezza okumusikiriza Karen yekubisizza ebifananyi nga yeemolera ku motoka ye era n’ebimu n’abissa ku kitimba Omusajja ono ensonga azituusizza mu kkooti ng’ayagala babawuule nga mukyala we amulanga kumuswaza

Gwebakubye empiso okufuna akabina afudde

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Omukyala agenze okumukuba empiso egezza akabina omulundi ogw’okuna afudde bufi Reid ow’emyaka 34 ng’abadde mutuuze mu Dallas Texas agenze mu saluuni bulijjo mw’alaga okwongera ku kabina ke Bannyini saluuni eno olulabye nga bitabuse nebadduka kyokka nga babbye essimu ye ne wallet ye.

Okunonyereza ku bya Kasiwukira kugenda mu maaso

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Poliisi ekyagenda mu maaso n’okunonyereza ebisingawo ku kuttibwa kw’omugagga Eria ssebunya eyali amanyiddwa nga Kasiwukira. Bino byogeddwa munnamateeka wa gavumenti Ruth Kabahuma mu musango namwandu w’omugenzi Sarah Nabikolo mw’avunaanibwa okutta bba. Nabikolo avunaanibwa wamu n’omupoliisi Ashraf Dedeni ne mulamu we Sandra Nankungu bwebalabiseeko mu maaso […]

Ebola agenda mu gwa munaana

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Obulwadde bwa Ebola mu bugwanjuba bw’eggwanga bujja kuba butuuliddwa ku nfeete mu mwezi gw’omunaana wegunaatukira Akulira omukago gw’amawanga amagatte ku bulwadde bwa Ebola Ismail Ahmed y’ategeezezza bw’ati. Ono azzeemu okukkiriza nga bwebasooka okugayaala ekyayongera obuzibu. Obulwadde buno bwakatta abantu abasoba mu mutwalo omulamba.

Omuceere tegugejja kasita ogufumba bulungi

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Bannasayansi bazudde engeri omuceere gyeguyinza okutegekebwaamu omuntu n’agulya ate negutamugezza Bano bagamba nti omuceere guno bwegufumbibwa nga gulimu butto w’ebinazi omuntu n’agussa mu firiigi okumala essaawa mukaaga nga tannagulya guba guwedde ebiriisa ebigezza Abanonyereza bano okuva mu Srilanka bagamba nti omuceere omutegeke bweguti gukendeeza obulabe […]

Bannamawulire bakwatiddwa lwakwogera na Mbabazi

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Bannamawulire 3 bakwatiddwa amaggye ga  Special Forces command  lwakwogera ne mukyala Mbabazi nga ono ye  Jackeline Mbabazi nga tebafunye lukusa. Bano kuliko ab’olupapula lwa Daily Monitor okuli Fred Musisi, ne Dominique Bukenya  n’owa NTV  Sheila Nduhukire. Bino bibadde wali ku imperial Royale hotel ewategekeddwa olukungaana […]

Katemba ku DP- baganganye mu malaka

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Katemba yeyolekedde ku kitebe kya  DP oluvanyuma lw’omu ku bakulembeze b’ekibiina kino okulumba abakulembeze ku kyayise okuddukanya ekibiina mu ngeri ya gadibe ngalye. Eyali ssentebe wa LC3 wano e Kampala Charles Musoke Sserunjogi  nga era ye muwandiisi w’ekibiina alumbye ekitebe ky’ekibiina nga awakanya ebyavudde mu […]

Hotloaf eggaddwa

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Ab’ekitongole kya KCCA bagadde edduuka ly’emigaati erya Hotloaf  wali ku Duster Street. Edduuka lino liggaddwa lwakutunda migaati ne keeki enfu Abasirikale ba KCCA bazinzeeko ekifo kino nebatandika okukungaanya byonna byebakola nga bwebasuula mu biveera Wabula bbo abantu ababaddewo basabye abasirikale emigaati gino okugiwa abaana b’okunguudo […]