Amawulire

Abatujju tebabatiisa- Kaihura

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

Ssenkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura agamba nti okutiisatiisa abatujju kwebakola tekujja kubakosa era bakole gyaabwe Bino bizze ng’abantu batandise okweralikirira nti okukanga kuno kwandigoba bamusiga nsigo Ng’ayogerako eri bannamwulire, Kaihura agambye nti waliwo akakiiko akassiddwaawo okulawuna ebifo byonna ebiyinza okulumbibwa abatujju Asabye abantu okubeera […]

Crest Foam ssiyakuggulwaawo kati

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

KKampuni y’emifaliso eya Crestfoam tejja kuggulwaawo okutuuka nga bafunye alipoota ku muliro ogwatta abantu mukaaga Minisita w’abakozi Kamanda Bataringaya akyaddeko ku kkolero lino,agambye nti bano basooka kusasula abaviibwaako abaabwe nga tebanaddamu kukola Ono era yenyamidde nti ekkolero eddene nga lino lirina omulyango gumu nga gweguyingira […]

Omukyala alumirizza bba anywa enjaga

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

Omusajja ow’emyaka 31 asibiddwa emyaka 2 lwakusangibwa na njaga Dauda Lutwama amukalize ye mulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti ya City hall Elias Kakooza oluvanyuma lw’obujulizi okulaga nti ddala ono yali atambuza enjaga Omulamuzi era yesigamye ku bujulizi obutwaliddwaawo mukyala wa Lutwama n’abaana nga bagamba nti […]

Okugema abasawo Hepatitis

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

Minisitule y’ebyobulamu etongozezza kawefube w’okugema abasawo bonna mu kawefube w’okulwanyisa ekirwadde kya Hepatitis mu Uganda. Minisita akola ku byobulamu Dr Elioda Tumwesigye agamba nti kino kigendereddwaamu kutangira kirwadde kino kuva ku balwadde kukwata basawo ate abalina okubakolako Tumwesigye agamba nti bannayuganfa abali mu bukadde 16 […]

Enkambi ya Bokoharam ewambiddwa

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

Amaggye ga Nigeria gagamba nti geezizza ekitebe ky’abannalukalala ba Bokoharam mu Kibuga Gwoza Abakambwe bano abawera battiddwa ate abalala bakwatiddwa Amaggye gagamba nti kati gali mu kweruula kifo kino ekyaali kyeddizibwa abakambwe bano Bino bizze nga Nigeria yetegeka kulonda mukulembeze w’eggwanga olunaku lw’enkya

Alidde bbi mu bantu

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

Omusajja avunaanibwa okubba banka akimazeeko omulamuzi bw’ajjeemu empale neyeyambira mu kkooti n’oluvanyuma obubi bwe n’abulya Mu kutya omulamuzi ayimirizza kkooti okumala akabanga. Bino bibadde mu ggwanga lya California ng’omusajja omunaanibwa agambibwa okubaamu Katwe wungu.

Azaaliddwa ne namba 12 mu kyenyi

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

Waliwo omwana azaaliddwa ne nnamba 12 ng’emwetimbye mu kyenyi Omwana ayogerwaako azaalidwa mu ggwanga lya South Africa mu kibuga Johanesburg nga n’abasawo tebannaba kutegeera kivuddeko mbeera eno Ekyewunyisa nti omwana ono ali bulungi ddala nga talina yadde bulwadde

Distulikiti ye Mpigi eyisizza Embalirira ya buwumbi

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

      Disitulikiti y’e Mpigi eyisizza embalirira ya buwumbi 21 n’obukadde 400 . Ensimbi zino okusinga zakuzimba nguudo, okuyamba ku by’enjigiriza n’eby’obulamu. Eby’obulamu biweereddwa obuwumbi 2 n’obukadde 800 nga obukadde 293 zakuddabiriza ddwaliro ly’eNkozi akawaumbi kamu kasasule emisaala gy’abasawo. Eby’enjigiriza biweereddwa obuwumbi 12 nga […]

Kanisa ya Kojja wa Kony yakugalwa

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

Ab’obuyinza mu disitulikiti ye Gulu batiisizza okuggala Kanisa ya muzeeyi  Severino Lukooya nga ono ye taata w’eyali yeyita nabbi  Alice Lakwena, nga era kojja wa ssabayeekera Joseph Kony. Ssentebe wa disitulikiti ye Gulu Ojara Martin Mapenduzi agamba eka nisa eno emanyiddwa nga  ”The new Jerusalem […]

Poliisi ekkiriziganyizza ne DP

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

      Poliisi kyaddaaki ekkiriza ab’ekibiina kya DP okugenda mu maaso n’olukungaana lwabwe lwebasoose okulinyamu eggere. Gyebuvuddeko poliisi esoose kugaana lukungaana luno kugenda mu maaso oluvanyuma lwabamemba abasoba mu 100 okukungaanira wali ku Sharing Hall e Nsambya. Aduumira poliisi ye Kabalagala  Francis Chemusto y’ategezezza […]