Olwali
Ono talya mbizzi asula atudde
Mu ggwanga lya Amerika waliwo omusajja ataddewo likodi y’okulya ebifi by’embizzi mu kaseera akatono. Matt ‘Megatoad’ Stonie alidde ebifi ebinene ddala 182 mu ddakiika 5 zokka. Omusajja ono nga afubutuka mu kibuga Florida nga era ategezezza nga bwekisalidde mu ntamu kubanga awoomerwa nyo enyama y’embizzi.
Etteeka ku Bisiyaga likomewo
Disitulikiti Kadhi w’e Masaka asabye ababaka ba palamenti okwanguya okuzza eteeka ku bisiyaga mu palamenti baddemu okuliyisa. Sheik Swaibu Ndugga agamba yadde nga waliwo abantu b’olubatu abaalisimbira ekkuuli olw’ebigendererwa byabwe, bannayuganda banji baliwagira. Sheik Ndugga agamba nga lizzemu okuyisibwa, lyakutaasa omwana w’omuntu ebikolwa bya Sodomy […]
Buganda yewoze obukadde 500 okumaliriza Masengere
Obwakabaka Bwa Buganda bwewozeeyo obukadde 500 okumaliriza ekizimbe kya Masengere. Zino zeezimu ku kawumbi akalamba aketaagisa okumaliriza omulimu gw’okuzimbe ekizimbe kino . Bino byasanguziddwa Katikiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga bw’abadde aggulawo olukiiko lwa Buganda olw’omwaka guno wali mu Bulange Mengo. Katikiro ategezezza nga […]
Lukwago alumbye Mao- Tuleke tukole kayuyege
Loodi meeya w’ekibuga Kampala Erias Lukwago atabukidde ssenkagale w’ekibiina kya DP Norbert Mao Olw’okuwera ba memba b’ekibiina abaagala okwesimbawo mu 2016 kku bifo ebyenjawulo okunonya akalulu nga ttabamiruka w’ekibiina tannagulwawo. Lukwago agamba kino kimenya mateeka nga era kinyomoola enkola ya demokulasiya mu ggwanga. Nga […]
Olukiiko lw’abalamuzi lugguddewo
Emirimu gyakukosebwa mu kkooti enkulu ne kkooti endala ezokuntikko olw’olukungaana lw’abalamuzi oluggulawo olunaku olwaleero. Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni asuubirwa okuggulawo olukungaana luno nga era lwakugalwawo ku lwokuna. Olukungaana luno lwakutambulira ku mulamwa ogugamba nti omulimu gw’essiga eddamuzi mu kukyuusa abantu ba Uganda. Omwogezi w’essiga […]
Olukiiko lwa Buganda lutudde
Olukiiko lwa Buganda olusokedde dala omwaka guno lutudde olwaleero mu Bulange e mengo. Okusinzira ku mukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Nelson Kawalya olukiiko luno lugenda kukubaganya ebirowoozo ku ngeri endagaano wakati wa Buganda ne gavumenti ya wakati eyazza ebimu ku bintu bwa Buganda gyetereddwa mu nkola. […]
Obubenje bubiri busse 13
Abantu 10 bakakasiddwa okuba nga bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Gulu okudda e Juba. Akabenje kano kagudde wali e Nisitu mu tawuni ye Nimule oluvanyuma lwa baasi ya kampuni ya Bakulu UAS 201N ebadde edda e Juba okutomeragana bwenyi ne taxi ebadde […]
Mulonde Museveni- Nankabirwa
Minisita omubeezi akola ku by’obuvubi Ruth Nankabirwa alabudde abalonzi ku kulonda abantu abagenda okutabangula eggwanga Ono bw’abadde ayogerako eri banna NRM e Kiboga, Nankabirwa agambye nti abantu bangi abagenda okuvaayo nga bagaala okulya obukulu kyokka nga kiri eri abalonzi okubagoba nga bakozesa akalulu. Ono agamba […]
Aba NRM batabukidde Mwesigye
Abamu ku bawagizi ba NRM e Kabale batandise kawefube w’okugoba akulira ekibiina kyaabwe mu disitulikiti eno Hope Mwesigye nga bamulanga kuva ku mugendo. Bano bagamba nti Mwesigye buli ekisalibwaawo ekibiina ekiwakanya omuli n’eky’okusimbawo pulezidenti Museveni nga tavuganyiziddwa mu kibiina. Nga bakulembeddwaamu atwaala obukiikaddyo bwe Kabale, […]
Omusajja asse mukazi we
Poliisi e Kira ekutte omusajja agambibwa okutta mukyala we nga nabe ava ku kaboozi Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti Yazid Kayemba akkirizza nga bw’akubye mukyala we ebikonde ku mutwe n’agwa ku ttaka era ekiddiridde kufa Abafumbo bano babadde n’omwana ono […]