Amawulire

Omwana asangiddwa nga mufu

Ali Mivule

February 2nd, 2015

No comments

Ku kyaalo Tekulu mu minicipaali ye Lira, waliwo omwana w’ekibiina ekisooka asangiddwa nga mufu wajjo Omwana ono abadde yeebase mu kayumba okuliraana essundiro la Gapco kilomita nga 70 okuva ku nju yaabwe Mwanyina w’omugenzi Monica Akao agambye nti mutabani we yavudde ewaka ssaawa nga emu […]

Omulambo e Namugongo- attiddwa banyina

Ali Mivule

February 2nd, 2015

No comments

Abatuuze be Kyaliwajjala Namugongo baguddemu entiisa bwebasanze omu ku munaabwe ng’agalamidde mu kitaba ky’omusaayi nga mufu wajjo Omukyala ono abadde n’ebiwundu ebya maanyi ku mubiri gwe gwonna. Kiteberezebwa nti omukyala ono atemeddwatemeddwa banyina ng’obuzibu bwonna nkayaana za ttaka Atwala poliisi ye Kiira Peter Nkulega agamba […]

Palamenti eddamu nkya

Ali Mivule

February 2nd, 2015

No comments

Palamenti ya yuganda olunaku olw’enkya lw’etegese okuddamu okukakkalabya emirimo gyaayo, ng’eva mu luwummula lw’emazeemu ebbanga okuviira ddala mu December. Agavaayo galaga nga  palamenti  egenda okutandikira mu ky’okuteesa ku bbago erirambika okuwandiisa abantu n’eryo erissaawo ebibonerezo ebikakali eri abalya enguzi Ng’ayogerako eri bannamawulire , omwogezi wa […]

Abatembeeyi bakubiddwa mizibu

Ali Mivule

February 2nd, 2015

No comments

Poliisi ye  Butenga mu disitulikiti ye  Bukomansimbi eri ku muyiggo gw’omusuubuzi akubye abatembeeyi katono abatte  lwakukyama mu maka ge okuguza ku b’enyumba ye ebintu. Abatembeeyi okuli Brian Matovu 30 ne  David Mbazira 25  baddusiddwa mu ddwaliro lya Butenga Health Center nga bali bubi oluvanyuma lw’okuwuttulwa […]

Gavumenti evudde mu Ongwen

Ali Mivule

February 2nd, 2015

No comments

Gavumenti esuubizza kkooti y’ensi yonna obuyambi bwebetaaga mu kuwulira omusango gw’eyali omuyeekera wa Kony nga ono ye Dominic Ongwen. Nga ayogerako ne bannamawulire ku ssengejjero ly’amawulire wano mu Kampala, ssabawolereza wa gavumenti  Peter Nyombi ategezezza  nga bweyaweerezza edda ebbaluwa eri kkooti y’ensi yonna okulaga obumalirizu […]

Muntu akkirizza nti ekibiina tekirina ssente

Ali Mivule

February 2nd, 2015

No comments

Ssenkagale w’ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu akkirizza nga ekibiina kye bwekitubidde mu katuubagiro k’ebyensimbi. Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe  ky’ekibiina wali e Najjanankumbi Muntu ategezezza nga bwebatasobola kutalaaga ggwanga kumanyisa bantu ku bigendererwa by’ekibiina lwabbula lya nsimbi. Omusango agutadde ku gavumenti kulemererwa […]

Lukwago alumbye gavumenti ku masomero agatundibwa

Ali Mivule

February 2nd, 2015

No comments

Omuloodi wa Kampala Erias Lukwago ateeredde gavumenti akaka olw’okulemererwa okukuuma amasomero okuva eri bamusiga nsimbi abesomye okugasayawo beddize ettaka kwegatuula bazimbewo ebizimbe . Bw’abadde ayiseeko  ku ssomero lya Nakivubo Blue Primary School, Lukwago ategezezza nga bwekitali kyabwenkanya gavumenti kuwaayo masomero gano nga tenateekeratekera wakuzza baana […]