Ebyemizannyo

FIFA tejja kwetonda

Ali Mivule

February 25th, 2015

No comments

Ekibiina ky’omupiira mu nsi yonna ekya FIFA kigamba nti ssikyakusasula Muntu yenna oba kiraabu etali nsanyufu olw’empaka z’ekikopo ky’ensi yonna okussibwa mu mwezi gwa November ne December 2022 Aba FIFA era bagamba nti ssibakwetondera Muntu yenna akoseddwa enkyukakyuka zonna mu mpaka zeezimu FIFA yasazeewo omupiira […]

UMEME yakwongera okusiga

Ali Mivule

February 25th, 2015

No comments

Gavumenti eteekateeka kwongera ku nsimbi z’okubunyisa amasanyalaze mu ggwanga. Kino kigendereddwamu kwongera ku muwendo gw’abantu abalina amasanyalaze okuva ku 15% okutuuka ku 100% mu myaka 25 egiggya. Nga aggulawo olukungaana lw’abaguza ekitongole kya UMEME ebikozesebwa ne ba kontulakita, minisita omubeezi ow’ebyamasanyalaze Simon Djang  ategezezza ng […]

Okusomesa ku Typhoid kugenda mu maaso

Ali Mivule

February 25th, 2015

No comments

Abakulembeze b’abagoba ba Taxi mu ggwanga beegasse ku KCCA ne minisitule y’ebyobulamu okutandika okusomesa abantu ku ngeri y’okwewalamu omusujja gw’omu byenda guyite Typhoid Kino kizze wakati mu bigambibwa nti bangi ku bafuna obulwadde buno bagenda mu basawo b’ekinnansi okufuna obujjanjabi mu kifo ky’okugenda mu malwaliro […]

Banka y’eggwanga enalondoola “mobile money”

Ali Mivule

February 25th, 2015

No comments

Banka enkulu ey’eggwanga yakutandika okulondoola enkola ya Mobayilo mane Kino kiddiridde alipoota okulaga nti abantu abasoba mu bukadde omunaana beebakozesa enkola ya mobailo mane. Mu ngeri yeemu era kino kigenda kukolebwa okusobola okukoma ku bagezi ababadde batandise okukozesa enkola eno okunyaga abantu. Akulira banka y’eggwanga […]

Munnamawulire akaabizza abali mu kkooti

Ali Mivule

February 25th, 2015

No comments

Munnamawulire Andrew Lwanga ayunguse amaziga mu kaguli nga anyumya nga bukyanga eyali aduumira poliisi ya Old Kampala amukuba ku mutwe obulamu bwe bwakyuuka. Lwanga alumiriza  Joram Mwesigye  okumutuusaako obuvune nga akola omulimu gwe. Lwanga ajidde ku miggo, awadde obujulizi  nga Mwesigye bweyamukuba n’alekerawo okutegeera ebyaali […]

Omubaka Sseggona akwatiddwa

Ali Mivule

February 25th, 2015

No comments

Omubaka wa Busiro mu buvanjuba Medard Lubega ssegona akwatiddwa . Akwatiddwa nga ayogerako  eri abatuuze bokukyaalo  Nabaziza e Kyengera  abakedde okwekumamu ogutaaka nga bawakanya eky’abantu abatandise okuyiwa ettaka mu kitoogo kyomukitundu kino. Munnamateeka we era omuloodi wa Kampala Erias Lukwago agamba nti Segona abadde agezaako […]

Katikkiro alambuzza Obuganda amasiro nate- Bitambula

Ali Mivule

February 25th, 2015

No comments

Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga alambuzza Obuganda omulimu ku masiro wegutuuse Basookedde ku ge Wamala ne badda e Kasubi era ng’eno yonna emirimu gizzeemu okutambula Katikkiro ategeezezza nga bwebaali besiba olw’ebyetaagisa ebitali bimu ebitabaddeemu kyokka nga kati buli kimu kitambula Katikkiro agambye nti […]

Bbomu endala mu Nigeria

Ali Mivule

February 24th, 2015

No comments

Bbomu ebalukidde wakati mu bantu ababadde balinze baasi mu ggwanga lya Nigeria esse abantu abasoba mu 12 Omulumiramwoyo agambibwa okuba nga yesibye bbomu yeeyabaludde n’atta abawera Abali mu ddwaliro awatwaliddwa abafu n’abalumiziddwa bagamba nti babadde bakabalako emirambo 13 kyokka ng’abantu abali mu 30 balumiziddwa

Emisinde gy’omutolontoko gizze

Ali Mivule

February 24th, 2015

No comments

Empaka z’omutolontoko ezituumiddwa Ibanda Marathon zitongozeddwa omugagga Patrick Bitatule Emisinde gino gyakubeera Ibanda nga 28 omwezi guno era nga gyakwetabwaamu kkampuni ezitali zimu Ensimbi ezinaava mu misinde gino zakugenda eri okulwanyisa abamenyi b’amateeka

Choclate azza obuto azze

Ali Mivule

February 24th, 2015

No comments

Bannasayansi mu Bungereza bakoze ka Choclate nga bw’okalya odda buto. Ka choclate kano kakutandika okutundibwa omwezi ogujja Ka choclate kano omuntu bw’akalya olususu olubadde lutandise okuyiika lujja lwekwata era nerutereera