Amawulire

Enteseganya ku Lukwago zitandise

Ali Mivule

February 24th, 2015

No comments

Olukiiko oluludde nga lulindirirwa wakati wa ssabaminista n’akulira oluvuganya mu palamenti  ku nsonga za loodimeeya kyaddaaki lutandise Gavumenti ekiikiriddwa ssabaminisita Dr Ruhakana Rugunda, Minisita wa kampala Frank Tumwebaze n’amyuka ssabawolereza Fred Ruhindi ne and Government chief whip Lumumba Kasule. Oludda oluvuganya lukulembeddwaamu akulira abavuganya Wafula […]

Senkaggale wa DP Mao awummudde

Ali Mivule

February 24th, 2015

No comments

Mu kibiina kya DP ebyobufuzi bitandise okunyuma oluvanyuma lwa Loodimeeya Erias Lukwago okutegeeza nga bw’awagira kakuyege nga ttabamiruka tannatuuka era ng’ono atandise n’okulingizaako mu ntebe y’omukulembeze w’ekibiina Olwaleero, akulira ekibiina kino Nobert Mao alangiridde nga bw’asazeewo okugoberera amateeka g’abasawo awummulemu ebyobufuzi by’ekibiina kyokka nga agenze […]

Ebyapa mu ntobazi byakusazibwaamu

Ali Mivule

February 24th, 2015

No comments

Gavumenti yakusazaamu ebyapa omutwalo gumu mu kasanvu ebiri mu ntobazi Kiddiridde akakiiko k aba minisita akassibwaawo okulambula entobazi okumaliriza okuzirambula. Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’obutonde bw’ensi, minisita akola ku by’obutonde, Ephraim Kamuntu agambye nti kino kigenda kukolebwa ku ttaka lya gavumenti n’erya […]

Sejusa abanja musaala

Ali Mivule

February 24th, 2015

No comments

Eyali omukwanaganya w’ekitongole ekikessi mu ggwanga  David Sejusa abanja musaala. Nga ayita mu bannamateekabe  Michael Mabikke ne David Mushabe, Sejusa agamba kati myaka 2 nga takomba ku musaala nga ate akyaali mujaasi kale nga alina okusasulwa. Nga ayogerako eri bannamawulire , Mabikke ategezezza nga bwebagenda […]

Agambibwa okubba bamusse

Ali Mivule

February 24th, 2015

No comments

Abatuuze be Bukulula mu disitulikiti ye Kalungu bakkakanye ku musajja ateberezebwa okubeera omubbi wa bodaboda nebamukuba mizibu egimujje mu budde n’oluvanyuma omulambo gwe nebagukumako omuliro. Daniel Ssenfuka omutuuze wokukyaalo  Nsalu y’atiddwa abatuuze oluvanyuma  lw’okulumbibwa mu makage nebamuwalula okutuuka ku kyaalo Katungulu nga eno gyebamutidde nebamukumako […]

Omulwadde afiiridde ku ddwaliro

Ali Mivule

February 24th, 2015

No comments

Entiisa ebuutikidde abatuuze be Kasese oluvanyuma lw’omulwadde ow’emyaka 60 okutondoka n’afiira ku lubalaza lw’eddwaliro oluvanyuma lw’okusanga nga liggale emisana ttuku. Ab’enganda z’omugenzi bazze bamusitulidde ku katanda k’abalwadde okuva mu kyaalo kye Buhathiro mu nsozi ze  Ihandiro wabula nebasanga nga eddwaliro ligaddwa ku ssaawa 9 ez’emisana. […]

Asudde omwana mu kabuyonjo

Ali Mivule

February 24th, 2015

No comments

Poliisi ye  Tororo eriko omukazi gwekutte nga bamutebereza okutuga omwanawe ow’enaku 4 n’amusuula mu kabuyonjo. Kigambibwa nti Winnie Margaret Muliro omutuuze wokukyaalo  Amagoro B Central mu municipaali ye  Tororo yayambiddwako nyina ne mulerwa okutta omwana ono. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Bukedi Micheal Odongo […]

Abalina omusujja mu lubuto beyongedde

Ali Mivule

February 24th, 2015

No comments

Abantu abateberezebwa okubeera n’omusujja  gwomubyenda bakyeyiwa mu ddwaliro lyomu Kisenyi okufuna obujanjabi. Enkambi eyateereddwawo minisitule minisitule y’eby’obulamu yonna ekibyeko abalwadde abalinda okujanjabibwa. Omusasi waffe Shamim Nateebwa atutegezezza nga abaswo abakola ku balwadde bano bwebatayatukirizza muwendo gw’abalwadde bebakafuna. Abavuzi ba taxi nabo gyebakedde okulambula ku banaabwe […]

Gwebayiira Acid afudde

Ali Mivule

February 24th, 2015

No comments

Poliisi e Mulago ewaliriziddwa okuggalira omulwadde Kassimu Kakaire  oluvanyuma lw’abemikwano n’enganda z’omugenzi Josephine Namanda  okumulumba. Omusajja ono yeeyali bba w’omugenzi Josephine Namanda ng’ono bamulumiriza okuyiira mukyala we Acid n’ekigendererwa ky’okwezza emaali yaabwe Bino byonna bibaddewo oluvanyuma lw’omukyala ono okufa bwezibadde ziwera nga ssaawa musanvu ezaalero. […]

Enviiri zibizadde

Ali Mivule

February 23rd, 2015

No comments

Wandikoze ki ssinga omuntu akusala bubi enviiri oba katugambe okukusiba Kati mu ggwanga lya America, omusajja gwebasaze obubi enviiri avudde mu mbeera n’ayasayaasa saaluuno yonna mw’alaze Allan Becker tasiimye bwebamusaze nviiri mu ngeri gy’atayagala  kyokka ng’ate bamusaba ssente Ono olumaze n’atambula era poliisi egenze okutuuka […]