Amawulire

Gavumenti eyongedde okulumiriza Kiyingi

Ali Mivule

February 26th, 2015

No comments

Waliwo abasiraamu abalala 11 bano bagguddwaako misango gya butujju Bano bakwatibwa omwezi oguwedde nga kigambibwa nti beebaluka olukwe olutta Sheik Mustafa Bahinga e bwebajja ne Sheik Daktoor  Muwaya e Mayuge. Ssabawaabi agamba nti abavunaaniddwa baali bakolagana butereevu ne Dr Aggrey Kiyingi okutondawo ekibinja ky’abayekeera ekya […]

Obusajja bwe bubuze

Ali Mivule

February 26th, 2015

No comments

Omusajja asanze omuwala omubalagavu mu sawuna n’amunywegeera agenze okuzuukuka ng’ebitundu bye eby’ekyama tabirabako. Kigambibwa okuba nti omuwala gw’anywegedde  abadde alina eddogo eritutte ebitundu bye ebyekyama n’abiguza abasawuzi Bino bibadde mu kibuga kya Russia ekikulu Moscow ng’omusajja ono kati asiiba akaaba

Ebikoofira bya Piki bizze

Ali Mivule

February 26th, 2015

No comments

Ebifookira ebyambalwa abatudde mu pikpiki ebibalirirwaamu obukadde 100 byebigenda okugabwa okwetotoola mu ggwanga lyonna mu kawefube w’okulwanyisa obubenje Kawefube ono akulembeddwaamu ab’;ekibiina ekirwanyisa obubenje bwa piki nga omwaka guno bakugaba ebikofiira 2500 Ng’ayogerera ku mukolo gw’okutongoza okugaba ebikoofira bino, akulira ekibiina kino, Barbra Mwanje agambye […]

Ebisanikira by’ebinnya bizze

Ali Mivule

February 26th, 2015

No comments

Ekitongole kya KCCA kitongozezza ebisanikira by’ebinnya bya kazambi ebiggya oluvanyuma lw’ebikadde kyenkana byonna okubbibwa Akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi y’akoze omukolo guno ku luguudo lwa Yusuf Lule ne ku lw’omukaaga mu kibangirizi kya bannamakolero. AMyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba agamba nti ebisanikira ebikadde […]

Mafaabi yegaanye okubba ettaka

Ali Mivule

February 26th, 2015

No comments

Omubaka we Budadiri mu bugwanjuba Nandala Mafabi awakanyizza ebigambibwa nti abba ettaka mu municipaali ye Mbale Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’emirimu, Mafaabi agambye nti kituufu alina ettaka eriwera e Mbale kyokka nga lyonna yalifuna mu makubo matuufu. Ono ategeezezza nti tanyagangako ttaka […]

Katikkiro akunze obuganda

Ali Mivule

February 26th, 2015

No comments

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olunaku olwaleero asisinkanye abakulembeze okuva mu bwa Kyabazinga bwa Busoga nga bakulembeddwmu Katukiro. Katikiro agambye nti Obusoga bulina okukolagana ne Buganda mu kutumbula embeera  z’abantu naddala mu kutumbula eby’obulamu, ebyenjigiriza wamu n’okulwanyisa obutabanguko mu maka. Mayiga era agambye nti […]

E Jjinja lumubetense

Ali Mivule

February 26th, 2015

No comments

Omusajja ow’emyaka 50 abetenteddwa ejinja erimusanze wansi mu mpuku gy’abadde awumulidde . Enjego eno ebadde ku lusozi lwa Kadam mu disitulikiti ye Nakapiripirit nga eno omugenzi Lokori Chogar ekiyinja gyekimusanze. Aduumira poliisi ye Nakapiripirit  Cox Apamaku ategezezza nga bwebasobodde okutaasa abaana beyagenze nabo naye omugenzi […]

South Korea etteeka ku benzi livuddewo

Ali Mivule

February 26th, 2015

No comments

Abenzi mu ggwanga lya South Korea bali mu kujaganya oluvanyuma lwa kkooti etaputa ssemateeka okujjawo etteeka eribakwato era nga kati baakwenda kyeere awatali abakuba ku Mukono. Kkooti eno ejjeewo etteeka lino erimaze kumpi emyaka 60  nga era omuntu abadde asibwa emyaka 2. Abalamuzi 9 abatuula […]

atemyeteemye mukyala we

Ali Mivule

February 26th, 2015

No comments

  Poliisi mu disitulikiti ye Luuka eri ku muyiggo gw’omusajja ow’emyaka 37 eyakidde  mukyaalawe n’amutematema n’ejambiya.   Omukwate ategerekese nga  Grace Tenywa, omutuuze ku kyaalo  Nakiswiga nga ono poliisi egamba y’asanjaze mukyaalawe Nangobi Zabinah. Omuvunaanwa ono alina abakyaala 2 nga buli omu abeera mu makaage […]

Kkapa ewuga

Ali Mivule

February 25th, 2015

No comments

Wali olabye ku kkapa ewuga Kakati mu ggwanga lya Turkey waliwo ka kkapa akatawoomeddwa kukuba dduba nga kasula katudde Ka Kkapa kano akayitibwa Ruby buli omu abadde amanyi nti kanabbira kyokka nga mu bukkakkamu kalengejjera ku ngulu nga konna bwekazibiriza obuuso mu ngei y’okunyumirwa