Amawulire

Aba DP bandizira okulonda

Ali Mivule

January 27th, 2015

No comments

Ab’ekibiina kya DP bakutuula omwezi ogujja okusalawo oba beetaba mu kulonda kwa 2016 oba nedda. Kiddiridde bano okuviiramu awo e Busia nga bagamba nti okulonda kwalimu emivuyo SSabawandiisi wa DP Mathis Nsubuga agamba nti ebintu nga bwebiyimiridde kiraga bulungi nti pulezidenti ne gavumenti ssibetegefu kutereeza […]

Entalo z’abasiraamu zittuse- okusaba kubizadde

Ali Mivule

January 27th, 2015

No comments

Abakulembeze b’abayisiraamu mu ggwanga balangiridde okusaba okwa wamu okugendereddwaamu okusaba nti wabeewo obumu Omwogezi w’ekitebe ekikulu eky’obuyisiraamu Hajji Nsereko Mutumba agamba nti okusaba kuno kwakubaawo ku lw’okutaano luno ku kampala mukadde. Mutumba agambye nti abayisiraamu bonna baanirizibwa okwetaba mu kusaba kuno okugenda okutambulira wamu ne […]

Poliisi etandise okuwandiisa

Ali Mivule

January 27th, 2015

No comments

Enkumi n’enkumi z’abavubuka bajumbidde okwendiisa mu poliisi okutandise olunaku olwaleero. Poliisi esoose kuwandiisa ba kadeeti mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo olwo bawandiise am’amadaala aga wansi Ba kadeeti abatunuuliddwa basoba mu 500 era ng’ebisanyizo diguli oba ebbaluwa endala egyefananyirizaako. Wano mu kampala n’ebifo ebiriranyeewo okuli Entebbe ne […]

Sukaali mubi ku mutima

Ali Mivule

January 27th, 2015

No comments

Abakugu bazudde nti omuntu nebw’abeera ne kasukaali akatono mu mubiri naye ng’atandise okulirira,kimussa mu bulabe bw’okulwalira ddala omutima Kino kikwata ku bantu abali wakati w’emyaka 35 ne 55. Kino kiva ku nsonga nti buli Muntu lw’agatta emyaka 10 ku bulamu bwe ayongera okunafuwa Abasawo abatunuulidde […]

Omusaayi tegumala mu ggwanga

Ali Mivule

January 27th, 2015

No comments

Eggwanga lyetaaga yuniti z’omusaayi lukumi buli mwezi okumalawo ebbula ly’omusaayi mu ggwanga Akulira ekitongole ekikola ku kugaa omusaayi ekya Uganda Blood Transfusion services Dr. Dorothy Kyeyune agamba nti ku guno bafuna yuniti 800 zokka Kyeyune agamba nti  omusaayi gwebakungaanya ebitundu 60 ku kikumi baguwa baana […]

Abasawo tebamala

Ali Mivule

January 27th, 2015

No comments

Akakiiko akakola ku byobulamu kagaala minisitule y’ebyobulamu okujjawo natti gyeyassa ku kuwandiisa abasawo mu ggwanga Akulira akakiiko kano Dr. Pius Okong ategeezezza sipiika wa palamenti nti kino kikosezza emirimu kubanga abasawo batono ate nga tebasobola kuwandiisa bapya. Dr. Okong agamba nti amasomero g’abasawo gafulumya abayizi […]

Ongwen alabiseeko mu kkooti

Ali Mivule

January 26th, 2015

No comments

Okuwozesa omu ku basajja ba Kony ab’okuntikko Dominic Ongwen kutandise. Ongwen alabiseeko mu kkooti eno etuula mu kibuga Hague ng’ayambadde essuuti ebaddemu essaati ya blue n’ettaayi. Ekibuuzo kibaddewo nti Ongwen awozesebwa oba nedda. Avunaanibwa misango gya kutemula, okuwamba, n’okweyisa mu ngeri etali ya buntu. Munnamateeka […]

300 bafunye emidaali

Ali Mivule

January 26th, 2015

No comments

Abantu abasoba mu 300 beebawereddwa emidaali ku mikolo gy’amenunula egibadde e Soroti Akulira akakiiko akagaba emidaali Gen. Elly Tumwine y’asomye amannya g’abatoneddwa okubadde ssabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda, Ali Kirunda , Joseph Bigirwa, Katumba Wamala,Julius Odwe, John Michael Ariong, n’aba Madvhani. Ng’ayogerera kuno, pulezidenti Museveni asekeredde […]

AKabenje katuze babiri

Ali Mivule

January 26th, 2015

No comments

Poliisi etandise okunonyereza ku kabenje akaatuze abantu babiri ku luguudo lw’entebbe olunaku lwajjo. Akabenje kano akaagudde e Katabi keetabiddwaamu motoka no UAV 971 T eyakoonye bodaboda eyabadde etisse abantu basatu Ayogerera poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti omu ku bafudde ye dereeva w’emotoka […]

Kkapa eraalidde

Ali Mivule

January 26th, 2015

No comments

Kubamu akafaanyi ng’olabye munne ng’alina w’alaalidde. Bangi baseka nga tebalowooza na kukyakuyamba banaabwe Tewali njawulo ku bisolo nga bwegubadde ku mbwa erabye kkapa ng’eralidde mu kikebe. KKapa eno yabadde eringiza mu kikebe olwo omutwe negulemerayo. Embwa yasoose n’efa enseko kyokka oluvanyuma yadduse n’eduukirira kkapa eno […]