Amawulire

Okulonda e Bugiri gwa mu gwakusatu

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Akakiiko akalondesa kalangiridde olunaku lwa nga 19 omwezi gw’okusatu ng’ogw’okulonderako ssentebe wa disitulikiti ye Bugiri omuggya Ekifo kino kyafuuka kikalu oluvanyuma lwa ssentebe Marijani Azalwa okusingisibwa omusango gw’okukuba munne bwebaali besimbyeewo David Mulengeni mu kulonda kwa 2011. Akulira akakiiko akalondesa Eng. Badru Kigundu agamba nti […]

Abazigu balumbye abantu- babatemyetemye

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Abantu abatannaba kutegerekeka balumbya abantu bana ab’omumaka agamu nebamatemateema n’enju yaabwe nebagiteekera omuliro. Kenneth Kalongo, Geoffrey Ntezimana, Margret Tusimire ne maama waabwe  Molly Kyomugasho beebaddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvanyuma lw’okulumbibwa misana ttuku Bino bibadde ku kyaalo Yibale mu gombolola ye , Ntuusi ng’amaka […]

Etteeka ku masimu lijje

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Waliwo munnayuganda addukidde mu palamenti ng’ayagala esseewo etteeka erinayamba abakozesa amasimu obutabbibwa. Justus Amanya agamba nti kkampuni z’amasimu zafuuse nzibi zenyini nga zisala n’ensimbi ku masimu agatayiseemu okwo kw’ossa n’emikutu egisakaala Bw’abadde asisinkana sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga, Amanya agambye nti n’akakiiko kenyini akakola ku […]

Aba dereeva bakwatiddwa lwakulwaana

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Abakulembe ba badereeva mu paaka enkadde babiri bagguddwaako emisango nebasindikibwa e Luzira lwakukuba ba dereeva banaabwe Ku basibiddwa kuliko Michael Ssekiziyivu akulira eby’okwerinda aka TAPSCOM era ng’ono mukwasisa mateeka mu KCCA. Basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Pamela Ocaya emisango nebagyegaana Oludda oluwaabi lugamba nti […]

Alwanaganye ne poliisi atiddwa

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

  E Rakai waliwo omusajja akubiddwa amasasi agamutiddewo bw’abadde alwanagana n’abaserikale ba poliisi ababadde bagenze okumukwata. Bernard Kasumba y’atiddwa oluvanyuma lwa lwa poliisi okumuzingako akwatibwe lwakulumba muwalala wa muliraanwa we n’ejambiya n’amutematema era nga kati ye Phionah Namaganda ali muddwaliro mu mbeera mbi. Kusumba abadde […]

Abakozi ba Speke Hotel bediimye

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Poliisi eyiiriddwa okwetolola Hotel ya Speke wano mu Kampala oluvanyuma lw’abakozi okukeera okwediima nga bawakanya embeera embi gyebakoleramu. Poliisi ekulembeddwamu aduumira poliisi mu massekati ga Kampala Henry Kintu nga era agamba nti bafuba kulaba nga abakozi bano abasoba mu 100 teboonona kintu kyonna n’obutakola ffujjo […]

Abasiraamu besunga Juma ebagatta

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Eby’okwerinda binywezeddwa ku muzikiti gwa Old Kampala nga ebiwayi by’abasiraamu ebyenjawulo byetegekera swala ya Juma egendereddwamu okugatta abasiraamu bonna. Swala ya Juma yakukulemberwamu Mufti wa Uganda Sheikh Ramadan Mubajje . Mubatalutumidde mwana kwekuli ssentebe wa disitulikiti ye Luwero Haji Abdul Naduli akubirizza abasiraamu bonna okwerabira […]

Omulala abadde ayagala okwegatta ku poliisi afudde

Ali Mivule

January 29th, 2015

No comments

Abadde alina ekirooto ekyegatta ku poliisi takituukirizza bw’afudde ng’ali mu lugendo wlw’ekirooto kye Bonaventure Ayetetse yoomu ku bakeera okugenda okwewandiisa okwegatta ku poliisi ku lw’okusatu era yali akola dduyiro n’agwa eri. Ono yaddusibwa mu ddwaliro gy’afiridde olunaku lwaleero Omwogezi wa poliisi mu bukiikaddyo Noah Serunjogi […]

Abasoba mu mitwalo 15 tebafunye bifo

Ali Mivule

January 29th, 2015

No comments

Abayizi abasoba mu mitwalo kkumi n’etaano beebatafunye masomero gebasaaba mu siniya esooka. Kino kivudde ku kubeera nti obubonero bwaabwe bubi oba ng’amasomero gebaasaba gajjuzza Bino byebimu ku biri mu kusunsula abayizi okugenda mu maaso wali ku Kampala international yunivasite e Kansanga Amasomero agasinga gasigadde ku […]

Tumwebaze tannawummuzibwa ku bwa minisita-Gavumenti

Ali Mivule

January 29th, 2015

No comments

Gavumenti esabuludde engambo ezibadde ziyitingana nti minisita akola ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga Frank Tumwebaze yawummuziddwa Mu kiwandiiko ekifulumiziddwaawo , minisita akola ku byobukuumi Muruuli Mukasa agambye nti Tumwebaze yagenze mu kuwummulako era teri amunonyerezaako Kiddiridde emikutu egitali gimu okutegeeza nga Tumwebaze bweyawummuziddwa ku bwa minisita […]