Amawulire

Katikkiro akuutidde ab’amagombolola

Ali Mivule

January 28th, 2015

No comments

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abaami ba Ssabasajja abajja  ab’amagombolola okwewaayo okukola emirimu gya Ssabasajja nga tebekuluntaza. Katikiro okwogera bino abadde atongoza abaami ba Ssabasajja abajja 172 abalondebwa ku nkomerero ly’omwaka oguwedde. Owek Mayiga agambye nti okuweereza Ssabasajja si mulimu gyabwanakyewa wabula bakolerera […]

Sejusa akooye okulinda okuwummuzibwa- bannamateeka

Ali Mivule

January 28th, 2015

No comments

Bannamateeka ba Gen David Sejusa bagamba nti amaggye galian ekigendererwa okulemesa omuntu waabwe okuwummuzibwa mu maggye Omwezi oguwedde, Sejusa yasaba okuwummula okuva mu maggye era n’ategeeza nga pulezidenti Museveni bweyali amukakasizza nti byonna biri bulungi Munnamateeka wa Ssejusa David Mushabe agambye nti akakiiko akakola ku […]

Yewadde obutwa n’abaana be

Ali Mivule

January 28th, 2015

No comments

Omukyala ow’emyaka 24 yewadde obutwa n’afa  oluvanyuma lw’okufuna obutakkaanya ne bba Ono era obutwa abuwadde n’abaana be abali mu mbeera embi mu kadde kano Gloria Nakeera omutuuze ku kyaalo Nabigasa afudde bamuddusa mu ddwaliro ate ng’abaana be okuli Viola Kiseeka ne Walcot Kiseeka bbo bakyataawa. […]

Abatuuze becwacwanye nebazira omulambo

Ali Mivule

January 28th, 2015

No comments

Abatuuze ku kyaalo Nakasagga-Kyebereka mu gombolola ye Kasambya Mubende bavudde mu mbeera nebazira omulambo gw’omutuuze oluvanyuma lwa mutabani we okumutwala n’afiira mu ssabo. Omugenzi ategerekese nga Jackson Ssonko ow’emyka 50  ng’ono yalumbiddwa ekirwadde ekyawaliriza mutabani we omukulu Valence Nsaba okumutwala ew’omusamize okumuwa obujanjabi era ng’eno […]

FIGO yegasse ku bagaala ekya FIFA

Ali Mivule

January 28th, 2015

No comments

Kafulu w’eggwanga lya Portugal, Luis Figo yegasse ku lukalala lw’abo abagaala okukulembera ekibiina ky’omupiira mu nsi yonna ekya FIFA Ono w’emyaka 42 nga yazanyirako mu Barcelona, , Real Madrid ne Inter Milan yegasse ku David Ginola eyesowolayo edda okuvuganya Sepp Blatter. Abakaka kuliko Omulangira Ali […]

Kkapa ezuukidde

Ali Mivule

January 28th, 2015

No comments

Mu Florida kkapa eyatomerwa emmotoka n’efa amazeeko abantu eby’ewungula bw’efubutuse mu ntaana nga nnamu nnyo Ebadde amaze ennaku ttaano mu ntaana. KKapa eno emanyiddwa nga Bart yasangibwa mu kitaba ky’omusaayi wiiki emu emabega era okugituusa mu ddwaliro abasawo nebategeeza nga bweyali efydde Okulabikako, kkapa eno […]

Ebifo ebikebera endwadde bitono nnyo

Ali Mivule

January 28th, 2015

No comments

Minisitule y’ebyobulamu yakwongera ku bifo ebikeberebwaamu endwadde ezitali zimu. Kino kiddiridde okwemulugunya nti ebifo bino bitono ddala ekikereeya obujjanjabi kubanga okukeberebwa kuba tekunnakolebwa Kamisona akola ku kuziyiza endwadde, Alex Opio agamba nti bandyagadde okubeera n’ekifo ekikeberebwaamu endwadde mu buli disitulikiti kyokka nga tekisoboka Dr Opio […]

Ekyuuma ky’abe mbuto kituuse

Ali Mivule

January 28th, 2015

No comments

Eddwaliro lye Mulago lyakufuna ekyuuma ekinakola ku ndwadde ezitali  zimu ezikwata ku by’okuzaala by’abakyala. Akulira eddwaliro lino Dr. Byarugaba Bateerana agamba nti mu kuddabiriza eddwaliro lye Mulago okugenda mu maaso, essira lissiddwa ku nsonga za kuzaala bya bakyala. Dr.Bateerana agamba nti ebyuuma ebisinga ebiri mu […]

Abadde ayagala okwegatta ku poliisi efudde, abe Karamoja beekalakasizza

Ali Mivule

January 28th, 2015

No comments

Poliisi ye Fort Portal etandise okunonyereza ku nfa y’omukulu w’essomero erimu okuva e Bundibugyo eyatondose nga akola duyiro w’okugesezebwa okuyingira poliisi. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Rwenzori Bakari Muga Bashir ategezezza nga omugenzi Steven Bwampu bweyatondose n’afa oluvanyuma lw’okudduka nga y’abadde abuukabuuka ne banne […]

Enkyukakyuka mu budde ya ddala

Ali Mivule

January 27th, 2015

No comments

Akulira olukiiko lw’ekibiina ky’amawanga amagatte Sam Kuteesa agamba nti keekadde amawanga gonna gakwatagane okulwanyisa enkyukakyuuka mu budde Ng’ayogerera mu kibangirizi kya CHOGM mw’asimbye omuti, Kuteesa agambye enkyukakyuuka mu mbeera y’obudde ekutte wansi ne waggulu nga buli omu kimukakatako okugirwanyisa. Ono agamba nti keekadde amawanga okukitegeera […]